Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

4. Tewali Kwagala

4. Tewali Kwagala

4. Tewali Kwagala

‘Abantu baliba tebaagala ba mu maka gaabwe.’​—2 TIMOSEEWO 3:1-3, God’s Word Bible

● Omukyala ayitibwa Chris omukozi mu kibiina ekiyamba okumalawo okutulugunyizibwa mu maka ekiri mu mambuka g’ensi eyitibwa Wales agamba nti, “Waliwo omukyala omu gwe nzijukira eyajja gye tuli ng’akubiddwa bubi nnyo era nnali sikyasobola kutegeera nti ye mukyala eyajjako wano. Abakyala abalala bakosebwa nnyo mu nneewulira ne kiba nti baba tebaagala na kukutunuulira mu maaso.”

OBUKAKAFU OBULIWO BULAGA KI? Mu nsi emu mu Afirika, omukazi 1 ku buli bakazi 3 yasobezebwako ng’akyali mwana muto. Okunoonyereza okwakolebwa mu nsi y’emu kwalaga nti abasajja abasoba mu kimu kya kusatu baali bakitwala nti kikkirizibwa okukuba bakyala baabwe. Kyokka, abakyala si be bokka abatulugunyizibwa mu maka. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ya Canada, abasajja nga 3 ku buli basajja 10 baali bakubiddwako oba bavumiddwako bakyala baabwe.

ABATAKKIRIZIGANYA NA BUKAKAFU BUNO BATERA KWOGERA KI? Bulijjo wabaddewo okutulugunyizibwa mu maka. Lwa kuba nti leero, okulwanyisa ebikolwa ng’ebyo kussiddwako nnyo essira okusinga bwe kyali mu biseera ebyayita.

ENDOWOOZA EYO NTUUFU? Kyo kituufu nti okulwanyisa ebikolwa eby’okutulugunyizibwa mu maka kweyongedde okussibwako essira mu myaka egiyise. Naye okussa essira ku kulwanyisa ebikolwa ng’ebyo kisobodde okukendeeza omuwendo gw’abantu abatulugunyizibwa mu maka? Nedda, si bwe kiri. Mu kifo ky’ekyo, abantu beeyongedde bweyongezi obutaagala ba mu maka gaabwe.

GGWE OLOWOOZA OTYA? Obunnabbi obuli mu 2 Timoseewo 3:1-3 butuukiriziddwa? Okiraba nti abantu bangi tebaagala ba mu maka gaabwe?

Obunnabbi obw’okutaano obutuukirizibwa leero bukwata ku nsi eno kwe tuli. Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eno.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]

“Okutulugunyizibwa mu maka kye kimu ku bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka abantu bye batatera kuloopa. Okutwalira awamu omukyala asooka kukubibwa mwami we emirundi 35 nga tannagenda kuwaaba ku poliisi.”​—OMUKYALA OMWOGEZI W’EKIBIINA KYA WALES DOMESTIC ABUSE HELPLINE.