Lwaki Katonda Aleka Obubi n’Okubonaabona Okubaawo?
Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda
Lwaki Katonda Aleka Obubi n’Okubonaabona Okubaawo?
Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.
1. Obubi bwatandika butya?
Obubi bwatandika okubaawo ku nsi Sitaani lwe yasooka okulimba. Sitaani teyatondebwa nga mubi. Yali malayika atuukiridde, naye “teyanywerera mu mazima.” (Yokaana 8:44) Yayagala bamusinze ate nga Katonda yekka y’agwanidde okusinzibwa. Sitaani yalimba Kaawa, omukazi eyasooka, era n’amukkirizisa okumugondera mu kifo ky’okugondera Katonda. Adamu yeegatta ku Kaawa mu kujeemera Katonda. Okusalawo kwa Adamu kwavaamu okubonaabona n’okufa.—Soma Olubereberye 3:1-6, 17-19.
Sitaani bwe yasendasenda Kaawa okujeemera Katonda, yatandikawo obujeemu eri obufuzi bwa Katonda. Abantu abasinga obungi beegasse ku Sitaani mu kugaana Katonda okuba Omufuzi waabwe. Bwe kityo, Sitaani yafuuka “omufuzi w’ensi.”—Soma Yokaana 14:30; Okubikkulirwa 12:9.
2. Ebitonde bya Katonda byaliko ekikyamu?
Abantu ne bamalayika Katonda be yatonda baali batuukiridde era nga basobola bulungi okumugondera. (Ekyamateeka 32:4, 5) Katonda yatutonda nga tulina eddembe ery’okwesalirawo okukola ekirungi oba ekibi. Eddembe eryo litusobozesa okulaga nti twagala Katonda.—Soma Yakobo 1:13-15; 1 Yokaana 5:3.
3. Lwaki Katonda aleka okubonaabona okubaawo?
Okumala akaseera, Yakuwa akyalesewo abo abajeemera obufuzi bwe. Lwaki? Okulaga nti abantu ne bwe bafuba batya okwefuga awatali Katonda tebasobola kuganyulwa. (Yeremiya 10:23) Oluvannyuma lw’emyaka 6,000 egy’ebyafaayo by’omuntu, kimaze okweyoleka nti Katonda y’agwanidde okufuga. Abafuzi b’ensi balemereddwa okumalawo entalo, obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, n’endwadde.—Soma Omubuulizi 7:29; 8:9; Abaruumi 9:17.
Ku luuyi olulala, abo abakkiriza Katonda okuba Omufuzi waabwe baganyulwa. (Isaaya 48:17, 18) Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuzikiriza gavumenti z’abantu zonna. Abo bokka abasalawo okufugibwa Katonda be bajja okusigala ku nsi.—Isaaya 2:3, 4; 11:9; soma Danyeri 2:44.
4. Obugumiikiriza bwa Katonda butusobozesa kuba na kakisa ki?
Sitaani yagamba nti tewali ayinza kunywerera ku Katonda. Obugumiikiriza bwa Katonda ffenna butusobozesa okulaga obanga twagala okufugibwa Katonda oba okufugibwa abantu. Engeri gye tweyisaamu y’eraga oyo gwe tulonzeewo okutufuga.—Soma Yobu 1:8-11; Engero 27:11.
5. Tuyinza tutya okulaga nti Katonda ye Mufuzi waffe?
Tulaga nti Katonda ye Mufuzi waffe nga tunoonya era nga twenyigira mu kusinza okw’amazima okwesigamiziddwa ku Kigambo kye, Bayibuli. (Yokaana 4:23) Ate era nga twewala okwenyigira mu by’obufuzi ne mu ntalo, nga Yesu bwe yakola.—Soma Yokaana 17:14.
Sitaani akozesa amaanyi ge okutumbula ebikolwa eby’obugwenyufu, era eby’akabi. Bwe twewala ebikolwa ng’ebyo, abamu ku mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutusekerera oba okutuziyiza okukola ekituufu. (1 Peetero 4:3, 4) N’olwekyo tuba tulina okusalawo. Tunaakolagana n’abantu abaagala Katonda? Tunaagondera amateeka ge ag’omuganyulo? Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti Sitaani yalimba bwe yagamba nti tewali ayinza kugondera Katonda.—Soma 1 Abakkolinso 6:9, 10; 15:33.
Okumanya ebisingawo, laba essuula 11 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Adamu yasalawo bubi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Ebyo bye tusalawo biraga obanga twagala Katonda okuba Omufuzi waffe