Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Abaana Bye Basaanidde Okuyiga?

Biki Abaana Bye Basaanidde Okuyiga?

Biki Abaana Bye Basaanidde Okuyiga?

“Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu.”​—2 TIMOSEEWO 3:16.

ABAANA beetaaga okuyigirizibwa amazima agakwata ku Katonda. Amazima ago bayinza kugasanga wa? Mu Bayibuli, ekitabo ky’eddiini ekisinga okuweebwa ekitiibwa mu nsi yonna.

Bayibuli eringa ebbaluwa okuva eri Katonda. Mu bbaluwa eyo, Katonda atutegeeza engeri ze era awa abaana be bonna, abato n’abakulu, obulagirizi obukwata ku mpisa. Weetegereze ezimu ku njigiriza za Bayibuli n’eby’okuyiga ebisobola okuganyula n’abaana abato.

Ng’ebyokulabirako ebyo bwe biraga, eby’okuyiga ebiri mu Bayibuli bisobola okuyamba abaana okukula nga balaga okusiima, nga ba kisa, era nga bawa abalala ekitiibwa. Naye, ebintu bino ani asaanidde okubiyigiriza abaana?

Biki Katonda by’ayagala tumumanyeko?

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”​—Zabbuli 83:18.

Eky’okuyiga: Katonda si maanyi bwanyi, wabula wa ddala era alina erinnya.

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Mukama akebera emitima gyonna, era ategeera okufumiitiriza kwonna okw’ebirowoozo: bw’onoomunoonyanga, anaalabikanga gy’oli.”​—1 Ebyomumirembe 28:9.

Eky’okuyiga: Yakuwa Katonda atufaako ffenna, nga mw’otwalidde n’abaana abato. (Zabbuli 10:14; 146:9) Ayagala tuyige ebimukwatako.

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: ‘Mulekwa temumubonyaabonyanga. Bw’onoomubonyaabonyanga n’akatono, bw’anankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaaba kwe.’​—Okuva 22:22-24.

Eky’okuyiga: N’okusaba kw’abaana abato Yakuwa akuwuliriza. Tusobola okwogera ne Katonda obutayosa ne tumubuulira ebituli ku mutima.

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.”​—Zabbuli 78:41.

Eky’okuyiga: Ebyo bye twogera ne bye tukola bisobola okunyiiza Yakuwa oba okumusanyusa, n’olwekyo tusaanidde okulowooza ku ebyo bye tuba tugenda okwogera oba okukola.

Tusaanidde kuyisa tutya abo abatali ba langi yaffe oba ggwanga lyaffe?

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.”​—Ebikolwa 10:34, 35.

Eky’okuyiga: Okuva bwe kiri nti Katonda akkiriza abantu aba buli ngeri, tetusaanidde kusosola balala olw’okuba langi yaabwe oba endabika yaabwe ey’oku maaso ya njawulo ku yaffe.

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Bulijjo [mubenga] beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe, nga mu kikola n’obukkakkamu era nga mumussaamu ekitiibwa.”​—1 Peetero 3:15.

Eky’okuyiga: Bwe tuba tukubaganya ebirowoozo ku bikwata ku ddiini, tusaanidde okwogera mu ngeri eraga nti twekakasa, kyokka nga tukikola mu ngeri ey’ekisa. Ate era, abantu abalina enzikiriza ezaawukana ku zaffe nabo tusaanidde okubawa ekitiibwa.

Ab’omu maka gaffe tusaanidde kubayisa tutya?

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu buli kimu, kubanga kino kye kisanyusa mu Mukama waffe.”​—Abakkolosaayi 3:20.

Eky’okuyiga: Abaana abawulize tebakoma ku kulaga nti baagala abazadde baabwe naye era balaga nti baagala okusanyusa Katonda.

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”​—Abakkolosaayi 3:13.

Eky’okuyiga: Oluusi, abantu abalala nga mw’otwalidde n’ab’omu maka gaffe, bayinza okutunyiiza. Naye bwe tuba twagala Katonda atusonyiwe, tulina okuyiga okusonyiwa abalala.​—Matayo 6:14, 15.

Lwaki tusaanidde okuba ab’amazima era ab’ekisa?

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: ‘Mweyambule obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne.’​—Abeefeso 4:25.

Eky’okuyiga: Bwe twogera amazima, tuba tukoppa Katonda era ekyo kimusanyusa. Bwe tuyiga omuze ogw’okulimba, tufuuka ng’omulabe wa Katonda, Omulyolyomi, era “kitaawe w’obulimba.”​—Yokaana 8:44; Tito 1:2.

Ekyo Bayibuli ky’eyigiriza: “Yisa abalala nga bw’oyagala bakuyise.”​—Matayo 7:12, “Contemporary English Version.”

Eky’okuyiga: Tusaanidde okufaayo ku nneewulira, endowooza, n’ebyetaago by’ab’omu maka gaffe awamu n’eby’abo abali mu kitundu mwe tubeera. Bwe tulaga nti ‘tulumirirwa abalala,’ nabo bajja kutuyisa mu ngeri ey’ekisa.​—1 Peetero 3:8; Lukka 6:38.