Katonda atwala eggwanga erimu okuba nga lye lisinga amalala?
Abasomi Baffe Babuuza . . .
Katonda atwala eggwanga erimu okuba nga lye lisinga amalala?
▪ Nedda. Bayibuli ekyoleka kaati nti: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola eby’obutuukirivu amukkiriza.”—Ebikolwa 10:34, 35.
Endowooza ya Katonda ku nsonga eyo ya waggulu nnyo ku y’abantu abatatuukiridde. Abantu bangi balowooza nti eggwanga erimu (nga lye lyabwe) lisinga amalala. Obusosoze ng’obwo bulaga endowooza ya Charles Darwin, eyawandiika ng’agamba nti: ‘Ekiseera kijja kutuuka amawanga agakulaakulanye kumpi gabe ng’agasanyizaawo agakyakula era gabe ng’agazze mu kifo kyago.’ Eky’ennaku, bangi batulugunyiziddwa abo abakitwala nti amawanga gaabwe ge gasinga amalala.
Omuntu asaanidde okukitwala nti eggwanga lye lye lisinga amalala? Ng’ekyokulabirako, waliwo bannasayansi kye bazudde ekiraga nti amawanga agamu gasinga amalala? Nedda. Profesa wa Yunivasite ya Oxford ayitibwa Bryan Sykes agamba nti bannasayansi tebalina kye bazudde kikakasa nti abantu ab’eggwanga erimu baatondebwa nga ba njawulo ku b’amawanga amalala. Awa ekyokulabirako ng’agamba nti obutoffaali bw’omubiri obw’Abayonaani si bwa njawulo ku bw’Abayitale. Ate era annyonnyola nti obutoffaali bw’abantu obw’omubiri si bwa njawulo olw’okuba bava mu nsi ez’enjawulo. Ffenna tuli kye kimu.
Ebyo bannasayansi bye bazudde bikwatagana bulungi n’ebyo bye tusoma mu Byawandiikibwa. Bayibuli eyigiriza nti Katonda yatonda omusajja omu n’omukazi omu, abantu abalala bonna mwe baava. (Olubereberye 3:20; Ebikolwa 17:26) N’olwekyo, mu maaso ga Katonda, ffenna tuli ggwanga limu lyokka.
Langi y’omuntu oba endabika ye ey’oku maaso Yakuwa si ky’atwala ng’ekikulu. Wabula, ky’atwala ng’ekisinga obukulu gwe mutima gwaffe ogw’akabonero, oba ekyo kye tuli munda. Agamba nti: “Abantu batunuulira bya kungulu, naye nze ntunuulira kiri mu mutima.” (1 Samwiri 16:7, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Ekyo bwe tukijjukira, kisobola okutuzzaamu nnyo amaanyi. Mu ngeri ki?
Ka tube nga tuli ba ggwanga ki, bangi ku ffe tetuli bamativu na ndabika yaffe ey’okungulu, kyokka ng’ate tetulina kya maanyi kye tuyinza kukola kugikyusa. Wadde kiri kityo, tusobola okulongoosa ekyo ekisinga obukulu—ebirowoozo n’enneewulira y’omu mutima gwaffe. (Abakkolosaayi 3:9-11) Bwe tuba abeesimbu, muli tuyinza okuwulira nti waliwo kye tusinza ab’amawanga amalala oba bo kye batusinza. Okuva bwe kiri nti enneewulira ezo zombi tezikwatagana na ndowooza ya Katonda, tusaanidde okufuba ennyo okweggyamu enneewulira ng’ezo mu mitima gyaffe.—Zabbuli 139:23, 24.
Bwe tufuba okuba n’endowooza ya Yakuwa ku ngeri gy’atutwalamu n’engeri gy’atwalamu abalala, tusobola okuba abakakafu nti ajja kutuyamba. Ekigambo kye kigamba nti: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Ebyomumirembe 16:9) Bw’atyo bw’akola eri abantu bonna ka babe nga ba ggwanga ki.