Amaka Go Gayinza Gatya Okufuna Essanyu?
Yiga Okuva Mu Kigambo Kya Katonda
Amaka Go Gayinza Gatya Okufuna Essanyu?
Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.
1. Lwaki okufumbiriganwa mu mateeka kireeta essanyu mu maka?
Yakuwa, Katonda omusanyufu, ye yatandikawo obufumbo. Okufumbiriganwa mu mateeka kireeta essanyu kubanga tekikoma bukomi ku kusobozesa bafumbo kubeera wamu, naye era kibasobozesa okukuliza abaana baabwe mu mbeera ennungi. Katonda atwala atya obufumbo? Ayagala bubeere bwa lubeerera, era nga buwandiisiddwa mu mateeka. (Lukka 2:1-5) Katonda ayagala buli mufumbo abeera mwesigwa eri munne. (Abebbulaniya 13:4) Yakuwa takkiriza Bakristaayo kugattululwa na kuyingira bufumbo bulala okuggyako ng’omu ku bo ayenze.—Soma Matayo 19:3-6, 9.
2. Omwami n’omukyala buli omu asaanidde kuyisa atya munne?
Yakuwa yatonda abasajja n’abakazi nga ba kukolera wamu. (Olubereberye 2:18) Ng’omutwe gw’amaka, omwami asaanidde okuwoma omutwe mu kulabirira ab’omu maka ge mu by’omubiri n’okubayigiriza ebikwata ku Katonda. Asaanidde okuba nga mwetegefu okwefiiriza era ng’ayagala nnyo mukyala we. Abaami n’abakyala basaanidde okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. Okuva bwe kiri nti abaami n’abakyala tebatuukiridde, okusonyiwagana kintu kikulu nnyo ekijja okubasobozesa okufuna essanyu mu bufumbo.—Soma Abeefeso 4:31, 32; 5:22-25, 33; 1 Peetero 3:7.
3. Osaanidde okwawukana ne munno olw’obufumbo bwammwe obutabaamu ssanyu?
Bwe mufuna obutategeeragana, buli omu afube okuyisa munne mu ngeri ey’okwagala. (1 Abakkolinso 13:4, 5) Ekigambo kya Katonda tekikubiriza bafumbo kwawukana ng’engeri y’okugonjoolamu ebizibu byabwe. Kyokka, mu mbeera enzibu ennyo, Omukristaayo y’alina okwesalirawo oba nga kya magezi okwawukana oba nedda.—Soma 1 Abakkolinso 7:10-13.
4. Abaana, kiki Katonda ky’abaagaliza?
Yakuwa ayagala mubeera basanyufu. Abawa amagezi agasingayo obulungi ku ngeri gye muyinza okunyumirwamu ekiseera kyammwe eky’obuvubuka. Ayagala muganyulwe mu magezi ne mu bumanyirivu bw’abazadde bammwe. (Abakkolosaayi 3:20) Yakuwa asiima nnyo kyonna kye muba mukoze okumutendereza.—Soma Omubuulizi 11:9–12:1; Matayo 19:13-15; 21:15, 16.
5. Abazadde, abaana bammwe basobola batya okufuna essanyu?
Musaanidde okufuba ennyo okufunira abaana eby’okulya, aw’okusula, n’eby’okwambala. (1 Timoseewo 5:8) Ate era, abaana bammwe bwe baba ab’okufuna essanyu, kibeetaagisa okubayigiriza okwagala Katonda n’okumukoppa. (Abeefeso 6:4) Bwe weeyisa mu ngeri eraga nti oyagala Katonda, abaana bo nabo bajja kukola kye kimu. Bw’obatendeka ng’okozesa amagezi agali mu Kigambo kya Katonda, kijja kubayamba okweyisa mu ngeri Katonda gy’ayagala.—Soma Ekyamateeka 6:4-7; Engero 22:6.
Abaana baganyulwa nnyo bw’obazzaamu amaanyi era n’obasiima. Ate era beetaaga okuwabulwa n’okukangavvulwa. Okubatendeka mu ngeri eyo kibayamba obuteeyisa mu ngeri eneebaleetera ebizibu ne babulwa essanyu. (Engero 22:15) Kyokka, si kirungi kubakangavvula mu ngeri ya bukambwe.—Soma Abakkolosaayi 3:21.
Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebitabo bingi ebitegekeddwa okuyamba naddala abazadde n’abaana. Ebitabo bino byesigamiziddwa ku Bayibuli.—Soma Zabbuli 19:7, 11.
Okumanya ebisingawo, laba essuula 14 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.