Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensi eno eneewonawo mu mwaka gwa 2012?

Ensi eno eneewonawo mu mwaka gwa 2012?

Abasomi Baffe Babuuza . . .

Ensi eno eneewonawo mu mwaka gwa 2012?

▪ Okusinziira ku mawulire ga BBC, “Abantu bangi nnyo abakkiriza nti ensi ejja kusaanawo beeyiwa ku kyalo ekimu mu Bufalansa . . . Bagamba nti ensi ejja kusaanawo nga 21 Ddesemba 2012, era ng’emyaka 5,125 egya kalenda y’Abamaya ey’edda we gijja okuggwerako.”

Wadde nga bannaddiini, abo abeeyita bannasayansi, n’abalaguzi ab’omu kyasa ekya 21 bagamba nti ensi egenda kusaanawo, ekituufu kiri nti, ensi ejja kubeerawo ekiseera kiwanvu nnyo. Tejja kusaanawo mu mwaka 2012. Mu butuufu, ensi eno kwe tuli ejja kubeerawo emirembe gyonna.

Bayibuli etugamba nti: “Omulembe gugenda, omulembe omulala gujja, kyokka yo ensi ebeerawo ennaku zonna.” (Omubuulizi 1:4, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Ate era, lowooza ku makulu g’ebigambo ebiri mu Isaaya 45:18 awagamba nti: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu; . . . eyabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu; nti Nze Mukama; so tewali mulala.”

Taata ayagala ennyo omwana we yandimaze essaawa nnyingi ng’amukolera eky’okuzanyisa ekinaamusanyusa, naye ate n’akyonoona oluvannyuma lw’ekiseera kitono ng’amaze okukimuwa? Ekyo kiba kikolwa kya ttima. Mu ngeri y’emu, Katonda yatonda ensi abantu basobole okugyeyagalirako. Katonda yagamba abafumbo abaasooka, Adamu ne Kaawa nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.” Oluvannyuma, “Katonda n’alaba nga byonna bye yali akoze birungi nnyo.” (Olubereberye 1:27, 28, 31, NW) Katonda takyusanga kigendererwa kye eri ensi; tajja kukkiriza ezikirizibwe. Ng’ayogera ku ebyo byonna bye yasuubiza, Yakuwa yakiggumiza nti: “Ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”​—Isaaya 55:11.

Kyokka, Yakuwa ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18.) Mu Kigambo kye, asuubiza nti: “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.”​—Engero 2:21, 22.

Kino kinaabaawo ddi? Tewali muntu yenna amanyi. Yesu yagamba nti: “Eby’olunaku olwo oba ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange.” (Makko 13:32) Abajulirwa ba Yakuwa tebagezaako kuteebereza lunaku Katonda lw’anaazikiririzaako ababi. Wadde nga balaba ‘akabonero’ akalaga nti enkomerero enaatera okujja, era nga bakkiriza nti tuli mu kiseera Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’oluvannyuma,’ tebasobola kumanya lunaku lwennyini “enkomerero” lw’enejja. (Makko 13:4-8, 33; 2 Timoseewo 3:1) Ekyo bakirekera Kitaabwe ow’omu ggulu n’Omwana we.

Ng’enkomerero tennatuuka, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, ng’eno ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuga ensi era egifuule olusuku lwa Katonda omunaabeera emirembe. Ensi eyo ‘Abatuukirivu gye balisikira, era gye balibeeramu emirembe gyonna.’​—Zabbuli 37:29.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Image Science and Analysis Laboratory, NASA-Johnson Space Center