Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Tusaanidde Okugoberera Emitindo gya Bayibuli?

Lwaki Tusaanidde Okugoberera Emitindo gya Bayibuli?

Lwaki Tusaanidde Okugoberera Emitindo gya Bayibuli?

Ebyo Bayibuli by’eyogera ku by’okwetaba byava dda ku mulembe era etukugira nnyo? Nedda. Okwawukana ku ekyo, ebyo Bayibuli by’eyogera ku by’okwetaba bisobola okutuyamba okwewala:

Endwadde ez’obukaba

Embuto ze tuteeyagalidde

Ebizibu eby’amaanyi ebiva mu kusasika kw’obufumbo

Okulumizibwa omuntu waffe ow’omunda

Okuwulira nti tetukyali ba mugaso oluvannyuma lw’okukozesebwa abo abaagala okukussa okwegomba kwabwe

Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, * ayagala tunyumirwe era tuganyulwe mu birabo by’atuwa. Katonda ‘y’akuyigiriza okukugasa.’ (Isaaya 48:17) Omuntu agoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli obukwata ku by’okwetaba aganyulwa mu ngeri zino:

Asiimibwa Katonda

Aba n’emirembe mu birowoozo

Enkolagana gy’alina n’ab’omu maka ge yeeyongera okunywera

Aba n’erinnya eddungi

Aba awulira nga wa mugaso

Ate watya, singa oli omu ku abo abatagoberera mitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa mu kiseera kino? Kisoboka okukyusa enneeyisa yo? Katonda anaakuvunaana olw’engeri gy’obadde weeyisaamu emabega?

Lowooza ku kino: Abamu ku abo abaali mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka baaliko abakaba, abenzi, abalyi b’ebisiyaga. Baasalawo okukyusa enneeyisa yaabwe, Katonda yabasonyiwa era baafuna emiganyulo mingi. (1 Abakkolinso 6:9-11) Leero, enkumi n’enkumi z’abantu okwetooloola ensi yonna basazeewo okukola kye kimu. Balese obulamu obw’ekigwenyufu era bafunye emikisa mingi olw’okugoberera emitindo gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri Sarah eyayogeddwako mu kitundu ekisooka gye yaganyulwamu.

“Nnafunirawo Obuweerero”

Sarah yakizuula nti empisa ze ez’obugwenyufu tezaamuleetera ddembe na bumativu bye yali anoonya. Agamba nti: “Muli nnali mpulira ng’omuntu wange ow’omunda ayonooneddwa. Nnawulira obuswavu era nnali mweraliikirivu nti nnyinza okufuna olubuto oba obulwadde obw’akabi ennyo. Nnali nkyalina okukkiriza nti Katonda gyali, era nnali nkimanyi nti engeri gye nnali nneeyisaamu yali emunakuwaza. Muli nnali mpulira nga siri mulongoofu, era ekyo kyanneeraliikirizanga nnyo.”

Oluvannyuma, Sarah yafuna amaanyi okukyusa enneeyisa ye. Yagenda eri bazadde be Abajulirwa ba Yakuwa okufuna obuyambi. Ate era yasaba abakadde Abakristaayo mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri okumpi ne w’abeera bamuyambe. Sarah agamba nti: “Nnasanyuka nnyo era nneewuunya nnyo olw’ekisa n’okwagala bazadde bange n’abakadde b’omu kibiina bye bandaga. Nnafunirawo obuweerero.”

Mu kiseera kino Sarah alina abaana babiri. Agamba nti, “Abaana bange mbabuulira kaati ebikwata ku kusalawo okubi kwe nnakola. Njagala bamanye engeri okugaana okugoberera emitindo gya Bayibuli gye kyakosaamu obulamu bwange. Ekiruubirirwa kyange kwe kubayamba okusiima emiganyulo omuntu gy’afuna mu mubiri, mu birowoozo, ne mu nneewulira, bw’agoberera emitindo gya Katonda egikwata ku by’okwetaba. Ndi mukakafu nti Katonda atuwa emitindo gy’empisa gye tulina okugoberera kubanga tayagala tufune bizibu.”

Naawe osobola okufuna emiganyulo egiva mu kugoberera obulagirizi bwa Katonda. Bayibuli egamba nti: “Okuyigiriza kwa Mukama kwa butuukirivu, okusanyusa omutima: ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso. . . . Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.”​—Zabbuli 19:8, 11. *

[Obugambo obuli wansi]

^ Yakuwa linnya lya Katonda nga bwe kiragibwa mu Bayibuli.

^ Okuyiga ebisingawo, tuukirira omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo. Oba oyinza okubawandiikira ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 4 oba okugenda ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti ogwa www.watchtower.org.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]

Abo abagaana okugoberera emitindo gya Bayibuli kibaleetera ennyiike etagambika

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula  9]

Abo abagoberera emitindo gya Bayibuli baba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era enkolagana yaabwe n’ab’omu maka gaabwe yeeyongera okunywera