Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nnali Njagala Kubeera nga Muwala wa Yefusa

Nnali Njagala Kubeera nga Muwala wa Yefusa

Nnali Njagala Kubeera nga Muwala wa Yefusa

Byayogerwa Joanna Soans

Nga nkyali mutiini, nnali njagala nnyo okubeera nga muwala wa Yefusa. Ka nnyinnyonnyole kye nnali ndowooza okukola n’engeri gye nnafuuka nga ye.

MU 1956, gwe gwali omulundi gwange ogwasooka okugenda ku lumu ku nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ennene mu kibuga Bombay (kati ekiyitibwa Mumbai), ekya Buyindi. Ebyo ebyayigirizibwa ebikwata ku muwala wa Yefusa byankwatako nnyo, era byakyusa obulamu bwange.

Oboolyawo wali osomyeko mu Bayibuli ebikwata ku muwala wa Yefusa. Mu myaka gye egy’obutiini, yakkiriza obutafumbirwa. Kino kyasobozesa kitaawe okutuukiriza obweyamo bwe. Bwe kityo, yaweereza mu nnyumba ya Yakuwa oba mu Weema obulamu bwe bwonna ng’ali bwannamunigina.​—Ekyabalamuzi 11:28-40.

Nnayagala nnyo okubeera nga muwala wa Yefusa. Naye nnayolekagana n’ekizibu eky’amaanyi kubanga mu kiseera ekyo, obutafumbirwa kyali kikontanira ddala n’obuwangwa bwaffe mu Buyindi.

Ebikwata ku Maka Mmwe Nnakulira

Nze nnali omwana ow’okutaano ku baana omukaaga ab’omwami ayitibwa Banjamin n’omukyala Marcelina Soans ab’omu kibuga ekiyitibwa Udipi, ekiri ku lubalama lw’oguyanja oguli ebugwanjuba bwa Buyindi. Tulu lwe lulimi lwaffe oluzaaliranwa, era lwogerwa abantu ng’obukadde bubiri. Naye nga bwe kiri eri abantu abasinga obungi mu kibuga Udipi, ku ssomero twayigirizibwanga mu lulimi oluyitibwa Kannada.

Okufumbirwa n’okuzaala abaana kitwalibwa nga kintu kikulu nnyo mu kitundu kino. Nnakula siwuliddeeko bigambo mu lulimi lwange Olutulu ebitegeeza “obwannamunigina,” “ekiwuubaalo,” oba “okuwuubaala olw’okubeera ewala n’ab’eŋŋanda zo.” Embeera ezo ziringa ezitaali mu kitundu ekyo. Ng’ekyokulabirako, twabeeranga mu maka gamu ne bajjajja, bakojja, bassenga, awamu n’abaana baabwe.

Mu buwangwa bwaffe, abaana batwalibwa okuba ab’oludda lw’omukyala. Olunyiriri lw’obuzaale luyitira mu ye, era abaana abawala bafuna omugabo ogusinga obunene ku by’obusika. Mu bitundu ebimu olulimi Olutulu gye lwogerwa, omuwala yeeyongera okubeera ne nnyina oluvannyuma lw’okufumbirwa, era omwami we y’ajja gy’ali.

Okuva bwe kiri nti ab’omu maka gaffe baali basomi ba Bayibuli, ebintu ebimu byali bya njawulo. Buli lwa ggulo, jjajja omusajja ye yatukulemberanga mu kusinza kw’amaka, ng’asaba era ng’asoma Bayibuli ey’olulimi Olutulu mu ddoboozi ery’omwanguka. Buli lwe yabikkulanga Bayibuli ye eyali ekaddiye okutusomera, yabanga ng’abikkudde akasanduuko omuli amajolobero. Twanyumirwanga nnyo! Ebigambo ebiri Zabbuli 23:1, NW ebigamba nti: “Yakuwa ye musumba wange; seetaagenga,” byankwatako nnyo. Byandeetera okwebuuza nti, ‘Yakuwa y’ani, era lwaki ayitibwa omusumba?’

“Ekifu” Kinva ku Maaso

Olw’obuzibu bw’eby’enfuna obwaliwo oluvannyuma lwa Ssematalo ow’okubiri, twasengukira mu kibuga Bombay, ekyesudde mayiro ezisukka mu 550. Nga tuli eyo, mu 1945, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baakyalira taata ne bamuwa akatabo akeesigamiziddwa ku Bayibuli. Taata yasoma akatabo kano, yakkiriza obubaka obwakalimu, era bye yayiga yatandika okubibuulirako abantu abaali boogera olulimi Olukannada. Emyaka gya 1950 we gyatuukira, akabinja k’abantu abaali bayiga Bayibuli kaali kakulaakulanye nga kafuuse ekibiina ky’olulimi Olukannada ekyasookera ddala mu kibuga Bombay.

Taata ne Maama baatuyigiriza okubeera abanyiikivu mu kusoma Bayibuli n’okugiyigiriza abalala. Buli lunaku, baafubanga okusabirako wamu naffe n’okutuyigiriza. (Ekyamateeka 6:6, 7; 2 Timoseewo 3:14-16) Lumu bwe nnali nsoma Bayibuli, nnali ng’omuntu ekifu gwe kivudde ku maaso. Nnayiga nti Yakuwa ageraageranyizibwa ku musumba olw’okuba awa abaweereza be obulagirizi, abaliisa, era abakuuma.​—Zabbuli 23:1-6; 83:18.

Yakuwa Ankutte ku Mukono

Nnabatizibwa nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olunene olulungi ennyo olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu Bombay mu 1956. Nga wayiseewo emyezi mukaaga, nnagoberera ekyokulabirako kya mwannyinazze omukulu ayitibwa Prabhakar ne nfuuka omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Wadde nga nnali njagala nnyo okubuulirako abalala amazima agali mu Bayibuli, ebigambo byambulanga buli lwe nnagezangako okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yange. Nnananaagiranga era n’eddoboozi lyange lyakankananga. Nneekubagizanga nti: ‘Siyinza kukola mulimu guno okuggyako nga Yakuwa annyambye!’

Yakuwa yampa obuyambi ng’ayitira mu baminsani abayitibwa Homer ne Ruth McKay abaava e Canada. Baatendekebwa mu 1947 mu ssomero lya Giriyadi ery’Abajulirwa ba Yakuwa eriri mu New York, Amerika. Bannyamba nnyo nga naakafuuka omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Bulijjo Ruth yeegezangamu nange ku ngeri gye tuyinza okubuuliramu nnyumba ku nnyumba. Yali amanyi bulungi engeri gy’ayinza okunnyambamu obutatya. Bwe nabanga ntidde, yankwatanga ku mukono, era yaŋŋambanga nti: “Teweeraliikirira, mukwano. Ka tugezeeko ennyumba eddako.” Engeri gye yayogerangamu yanzizangamu amaanyi.

Lumu, nnategeezebwa nti Elizabeth Chakranarayan, omukyala omukulu era ng’alina obumanyirivu mu kuyigiriza Bayibuli, gwe nnali ŋŋenda okubuuliranga naye. Nnasooka kwebuuza nti: ‘Nnaasobola okubeera n’omukyala ono? Nga mukulu nnyo ku nze!’ Naye oluvannyuma nnakiraba nti ye muntu yennyini gwe nnali neetaaga.

“Tetuli Ffekka”

Twasooka kusindikibwa mu kibuga Aurangabad, ekyesudde mayiro nga 250 ebuvanjuba bwa Bombay. Ffe Bajulirwa ba Yakuwa ffekka abaali mu kibuga ekyo ekyalimu abantu nga akakadde kamu. Ng’oggyeko ekyo, nnalina okuyiga olulimi oluyitibwa Marathi, olwali lusinga okukozesebwa mu kibuga ekyo.

Oluusi nnawuubaalanga era nnakaabanga ng’omwana atalina nnyina. Naye eddoboozi ly’ekizadde Elizabeth lye yakozesanga lyanzizangamu nnyo amaanyi. Yaŋŋambanga nti: “Oluusi tuyinza okuwuubaala, naye tetuli ffekka. Wadde nga mikwano gyo n’abomu maka go bakuli wala, Yakuwa abeera naawe buli kiseera. Mufuule mukwano gwo, tojja kuwuubaala.” Amagezi ge yampa nkyagatwala nga ga muwendo.

Lwe twabanga n’essente entono ez’entambula, twatambuzanga bigere kumpi mayiro 12 buli lunaku nga tuyita mu nfuufu ne mu bisooto, mu bbugumu ne mu bunnyogovu. Mu kiseera ky’ekyeya, ebbugumu lyabanga lingi nnyo okutuukira ddala ku diguli 104. Mu kiseera ky’enkuba, ekitundu kye twabuulirangamu kyabangamu ebisooto okumala emyezi egiwerako. Kyokka, obuwangwa bw’abantu bwatuzibuwaliranga nnyo n’okusinga embeera y’obudde.

Abakazi tebaayogeranga na basajja mu lujjudde okuggyako nga babalinako oluganda, era abakazi tebaateranga kuyigiriza basajja. Ekyo kyatuleetera okusekererwa n’okuvumibwa. Mu myezi omukaaga egyasooka, twabanga babiri ffekka mu nkuŋŋaana z’okuyiga Bayibuli buli wiiki. Ekiseera kyatuuka, abantu abaagala okuyiga ebikwata ku Katonda ne batwegattako era oluvannyuma lw’ekiseera kitono, twafuuka akabinja akatonotono. Abamu ku bo baatwegattako mu mulimu gw’okubuulira.

“Fuba Okwongera ku Bumanyirivu bw’Olina”

Nga wayise emyaka ng’ebiri n’ekitundu, twaddamu okusindikibwa e Bombay. Elizabeth yeeyongera mu maaso n’omulimu gw’okubuulira, nze ne nsabibwa okuyambako taata, era nga mu kiseera ekyo ye yekka eyali avvuunula ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli mu lulimi Olukannada. Kino yakisanyukira nnyo, okuva bwe kiri nti yalina obuvunaanyizibwa bungi mu kibiina Ekikristaayo eky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Mu 1966, bazadde bange baasalawo okuddayo e Udipi, gye twabeeranga. Taata bwe yali addayo, yaŋŋamba nti: “Fuba okwongera ku bumanyirivu bw’olina, muwala wange. Fuba okuvvuunula mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi. Weewale okwekakasa ekisukkiridde, era beera muwombeefu. Weesige Yakuwa.” Gano ge magezi ge yasembayo okumpa, kubanga yafa nga yaakaddayo e Udipi. Ne leero nkyafuba okugoberera amagezi ge yampa mu mulimu gwange ogw’okuvvuunula.

“Toyagala Kuba na Maka Go ku Bubwo?”

Okusinziira ku buwangwa bwaffe, abazadde Abayindi bafumbiza abaana baabwe nga bakyali bato era babakubiriza okuzaala abaana. N’olwekyo abantu baambuuzanga nti: “Toyagala kuba na maka go ku bubwo? Ani alikulabirira ng’okaddiye? Toowuubaale?”

Ebiseera ebimu kyammalangamu nnyo amaanyi olw’okumbuuzanga ebibuuzo ng’ebyo. Wadde nga saayolekanga nneewulira yange mu lujjudde, bwe nnabanga nzekka, nneeyabizanga Yakuwa. Kyambudaabudanga nnyo okukimanya nti Yakuwa antwala nga ndi wa mugaso wadde nga ndi bwannamunigina. Okusobola okwongera ku bumalirivu bwe nnalina obw’okumuweereza nga tewali kintaataaganya, nnalowooza ku muwala wa Yefusa ne ku Yesu, abaasalawo okusigala obwannamunigina basobole okwemalira ku kukola Katonda by’ayagala.​—Yokaana 4:34.

Ekirabo Okuva Eri Yakuwa

Nze ne Elizabeth twasigala nga tuli baamukwano nnyo okumalira ddala emyaka kumpi 50. Yafa mu 2005, ku myaka 98. Olw’okuba yali takyasobola kusoma Bayibuli olw’amaaso ge obutalaba bulungi, ebiseera ebisinga yabimaliranga mu kusaba Katonda. Ebiseera ebimu nnalowoozanga nti alina gw’akubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa mu kisenge kye, so ng’ate yabanga asaba. Yakuwa yali wa ddala gy’ali, era ng’oyinza okulowooza nti bali awo bombi. Njize nti okusaba kye kintu ekikulu ennyo ekisobozesa omuntu okusigala nga munnywevu mu buweereza bwe eri Katonda nga muwala wa Yefusa. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okumpa omukyala omukulu, eyantendeka era eyannyamba okuyita mu bizibu byonna bye nnayolekagana nabyo.​—Omubuulizi 4:9, 10.

Nga nfunye emikisa mingi nnyo olw’okuweereza Yakuwa nga muwala wa Yefusa bwe yakola! Okusigala obwannamunigina n’okugoberera okubuulirira okuli mu Bayibuli binsobozesezza okufuna essanyu mu bulamu ‘n’okuweereza Mukama waffe nga tewali kintaataaganya.’​—1 Abakkolinso 7:35.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Taata ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Katonda mu kibuga Bombay mu myaka gya 1950

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Nga ndi ne Elizabeth nga tannafa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Nga tulangirira okuyigirizibwa okukwata ku Katonda okwali kugenda okubaawo mu kibuga Bombay mu 1960

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Nga ndi ne bavvuunuzi bannange