Obadde Okimanyi?
Obadde Okimanyi?
Abantu ab’edda, baakolanga batya “wuzi emmyufu” oba “olugoye olumyufu” olutera okwogerwako mu kitabo kya Okuva?
▪ Okusinziira ku Bayibuli, engoye za weema Abaisiraeri ab’edda we baakuŋŋaaniranga okusinza, ezaakozesebwanga ng’ebisenge byayo n’oluggi lwayo, zaakolebwanga mu “wuzi eza bbulu n’eza kakobe n’emmyufu ne mu wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa.” (Okuva 26:1; 38:18, NW) “Ebyambalo ebitukuvu” ebya bakabona nabyo byalina kukolebwanga mu ‘wuzi emmyufu.’—Okuva 28:1-6, NW.
Langi eyateekebwanga mu wuzi okufuna wuzi emmyufu oba olugoye olumyufu yali myufu era ng’emasamasa. Langi eno yaggibwanga mu biwuka ebikazi eby’ekika ekimu ebitalina byoya ebibeera ku miti egiyitibwa kermes oak, egisangibwa mu kyondo kya Buwalabu ne ku lubalama lw’ennyanja Meditereniyani. Langi emmyufu ebeera mu magi agabeera mu lubuto lw’ekiwuka ekikazi. Mu kiseera ekiwuka kino we kibeerera n’amagi, kiba kyagala okwenkanankana n’empeke y’emmwanyi, era nga kiba kyekutte ku bikoola by’omuti oguyitibwa kermes oak. Oluvannyuma lw’okuggya ebiwuka bino ku bikoola n’okubisekula, bivaamu langi emmyufu, etabulwa mu mazzi omunnyikibwa engoye. Munnabyafaayo Omuruumi ayitibwa Pliny the Elder yayogera ku langi eyo emmyufu ng’emu ku langi ezaali zisinga okutwalibwa nga za muwendo mu kiseera kye.
Bawandiisi ki ab’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani abaaliwo ku Pentekooti ey’omwaka 33 Embala Eno?
▪ Kiyinzika okuba nti abasajja mukaaga be baaliwo ku basajja omunaana abaawandiika Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani.
Okusinziira ku kitabo kya Ebikolwa, Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Temuva mu Yerusaalemi, naye mulindirire ekyo Kitange ky’asuubizza.” (Ebikolwa 1:4) Ekitabo kye kimu ekyo kiraga nti Matayo, Yokaana, ne Peetero abandiwandiise Bayibuli, baagondera obulagirizi buno ne bakuŋŋaanira “mu kifo kimu” n’abayigirizwa abalala. Baganda ba Yesu nabo baaliwo. (Ebikolwa 1:12-14; 2:1-4) Bombi, Yakobo ne Yuda, oluvannyuma baawandiika ebitabo bibiri ebya Bayibuli ebiyitibwa amannya gaabwe.—Matayo 13:55; Yakobo 1:1; Yuda 1.
Mu Njiri ye, Makko ayogera ku muvubuka eyadduka ekiro Yesu lwe yakwatibwa. Tewali kubuusabuusa nti yali yeeyogerako, okuva bwe kiri nti abayigirizwa abalala bonna baali bamaze okwabulira Yesu. (Makko 14:50-52) N’olwekyo, Makko alabika okuba nga yali omu ku bayigirizwa ba Yesu abaasooka, era kisoboka okuba nti yaliwo ku Pentekooti.
Abawandiisi b’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani ababiri abasigaddeyo ye Pawulo ne Lukka. Pentekooti ey’omwaka 33 E.E., we yatuukira Pawulo yali tannafuuka mugoberezi wa Kristo. (Abaggalatiya 1:17, 18) Kirabika, ne Lukka teyaliwo okuva bwe kiri nti teyeebalira ku abo “abaalabirako ddala” ebyaliwo mu buweereza bwa Yesu.—Lukka 1:1-3.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Ebiwuka Ebikozesebwa Okukola Langi
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Courtesy of SDC Colour Experience (www.sdc.org.uk)
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Peetero ng’Ayogera ku Pentekooti ey’omwaka 33 E.E.