Ebitabo by’Enjiri Ebipya Birimu Amazima Agakwata ku Yesu Agatali mu Bayibuli?
Ebitabo by’Enjiri Ebipya Birimu Amazima Agakwata ku Yesu Agatali mu Bayibuli?
“BINO ebivumbuddwa bikulu nnyo! Abantu abasinga obungi tebijja kubasanyusa.” “Bino bikyusa ebyafaayo by’Abakristaayo abaasooka.” Ebigambo bino byayogerwa abeekenneenya abaasanyuka olw’okufuna ekitabo ekiyitibwa “Enjiri ya Yuda,” ekitwalibwa okuba nti kyali kibuze okumala ebyasa 16 (ekiragiddwa waggulu).
Abantu bangi baagala nnyo okumanya ebikwata ku bitabo by’enjiri ng’ebyo ebipya. Abamu bagamba nti ebitabo bino birimu ebyafaayo ebikulu ennyo n’enjigiriza ezikwata ku bulamu bwa Yesu ebyali bikwekeddwa okumala ebbanga eggwanvu. Naye ebitabo by’enjiri bino ebipya bye biruwa? Ddala bisobola okutuyigiriza amazima agakwata ku Yesu ne ku Bukristaayo agatali mu Bayibuli?
Ebitabo by’Enjiri Ebiri mu Bayibuli n’Ebitabo by’Enjiri Ebipya
Wakati w’omwaka 41 ne 98 E.E. Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana baawaandiika “ebyafaayo bya Yesu Kristo.” (Matayo 1:1) Ebyafaayo bino oluusi biyitibwa enjiri, ekitegeeza “amawulire amalungi” agakwata ku Yesu Kristo.—Makko 1:1.
Wadde nga wayinza okuba nga waaliwo ebyayogerwa n’ebintu ebirala ebyawandiikibwa ebikwata ku Yesu, ebitabo by’enjiri bino ebina bye byokka ebitwalibwa okuba nti bye byaluŋŋamizibwa Katonda era ebisaanidde okubeera mu Byawandiikibwa Ebitukuvu era nga bye birimu ebintu ‘ebituufu’ ebikwata ku bulamu bwa Yesu ng’ali ku nsi n’enjigiriza ze. (Lukka 1:1-4; Ebikolwa 1:1, 2; 2 Timoseewo 3:16, 17) Ebitabo by’enjiri bino ebina bisangibwa mu nkalala zonna ez’edda ez’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani. Tewali muntu w’ayinza kusinziira kubuusabuusa butuufu bwabyo oba nti bisaanidde okubeera mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa.
Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera waaleetebwawo ebyawandiikibwa ebirala abantu abamu bye baatwalanga okuba enjiri. Ebyawandiikibwa ebyo bye bitabo by’enjiri ebipya.
Ku nkomerero y’ekyasa ekyokubiri, omusajja ayitibwa Irenaeus ow’omu kibuga Lyon yawandiika nti abo abaali beewaggudde ku ddiini y’Ekikristaayo “baalina ebitabo by’enjiri ebipya bingi nnyo n’ebiwandiiko eby’obulimba,” nga mw’otwalidde n’enjiri “bo bennyini ze baali bayiiyizza, basobole okubuzaabuza abantu abatalina magezi.” N’ekyavaamu, abantu baatandika okukitwala nti kya kabi okusoma oba okuba n’ebitabo by’enjiri ebipya.
Kyokka, bannaddiini abamu ab’omu biseera ebyo n’abawandiisi beeyongera okukoppolola n’okutereka ebitabo ebyo. Mu kyasa ekya 19, abantu beeyongera okwagala okumanya ebikwata ku bitabo ebyo era ng’ebiwandiiko bingi, ebitabo by’enjiri ebipya ebyakyusibwakyusibwamu, n’ebitabo by’enjiri ebitali bimu, byazuulibwa. Ebimu ku bitabo ebyo bivvuunuddwa mu nnimi ezimanyiddwa ennyo leero.
Ebitabo by’Enjiri Ebipya Tebikwatagana na Mazima Agakwata ku Yesu
Ebitabo by’enjiri ebipya bisinga kussa ssira ku bantu aboogerwako ekitono oba abatoogerwako n’akamu mu bitabo by’Enjiri ebyaluŋŋamizibwa. Ate era mulimu n’ebintu ebiteeberezebwa obuteeberezebwa nti byaliwo nga Yesu akyali muwere. Lowooza ku byokulabirako bino.
◼ “Enjiri ya Yakobo,” era eyitibwa “Okuzaalibwa kwa Maliyamu,” eyogera ku kuzaalibwa kwa Maliyamu, obuto bwe, n’ebikwata ku kufumbirwa Yusufu. Eyo y’ensonga lwaki etwalibwa ng’olugero lw’eddiini olw’obulimba. Etumbula endowooza egamba nti Maliyamu yasigala mbeerera era kyeyoleka bulungi nti yawandiikibwa kumugulumiza.—Matayo 1:24, 25; 13:55, 56.
◼ “Enjiri ya Tomasi” esinga kwogera ku Yesu ng’akyali muto ng’ali wakati w’emyaka 5 ne 12, era emwogerako ng’eyakolanga ennyo ebyamagero. Naye ekituufu kiri nti teyabikola ku myaka egyo. (Laba Yokaana 2:11.) Ebimwogerwako biwa ekifaananyi nti yali mwana wa mputtu, mukambwe, ayagala ennyo okuwoolera eggwanga, era nti abayigiriza, baliranwa, ne baana banne bwe baamukolanga ekintu ekibi yakozesanga amaanyi agaamuweebwa okukola ebyamagero okwesasuza, era ng’abamu yabazibanga amaaso, yabalemazanga oba yabattanga.
◼ Ebimu ku bitabo by’enjiri ebipya, gamba nga “Enjiri ya Peetero,” bisinga kwogera ku bintu ebyekuusa ku kuwozesebwa kwa Yesu, okufa kwe, n’okuzuukira kwe. Ebitabo ebirala, gamba nga “Ebikolwa bya Piraato,” ekyaggibwa mu kitabo ekiyitibwa “Enjiri ya Nikodemu,” bisinga kwogera ku bantu abagambibwa okukola ebintu ebyo ebiboogerwako. Okuva bwe kiri nti ebyo baayiiya biyiiye, ebitabo ebyo si bituufu. “Enjiri ya Peetero” ebikkirira bubikkirizi nsobi za Pontiyo Piraato era by’eyogera ku kuzuukira kwa Yesu byateeberezebwa buteeberezebwa.
Ebitabo by’Enjiri Ebipya n’Abo Abeewaggula ku Kibiina Ekikristaayo
Mu Ddesemba 1945, abantu ba bulijjo baasanga emizingo gy’ebitoogo 13 okumpi n’ekyalo Nag Hammadi, ekiri mu mambuka ga Misiri, nga gyonna awamu gyalimu ebiwandiiko 52. Ebiwandiiko bino eby’omu kyasa ekyokuna bigambibwa okuba nga byali bya kibiina kya bannaddiini n’abafirosoofo ekiyitibwa Gnosticism. Olw’okugattika endowooza za bannaddiini, enjigiriza ez’ekikaafiiri, obufiirosoofo bw’Abayonaani, enjigiriza z’Ekiyudaaya, n’Obukristaayo, ekibiina kino kyayonoona endowooza y’abo abaali beeyita Abakristaayo.—1 Timoseewo 6:20, 21.
“Enjiri ya Tomasi,” “Enjiri ya Firipo” ne “Enjiri ey’Amazima,” ezisangibwa mu mizingo egyazuulibwa okumpi n’ekyalo Nag Hammadi, zirimu endowooza za bannaddiini n’abafirosoofo era ng’ebirimu byawandiikibwa mu ngeri eraga nti biringa ebyayogerwa Yesu. “Enjiri ya Yuda” eyavumbulwa gye buvuddeko awo nayo ebalibwa mu njiri ezo. Esukkulumya Yuda ku balala ng’eraga nti ye mutume yekka eyali ategeera obulungi Yesu. Omwekenneenya ow’Enjiri eno agamba nti eyogera ku Yesu “ng’omuyigiriza era ng’ensibuko y’amagezi n’okumanya, so si ng’omulokozi eyafiirira ebibi by’ensi.” Enjiri ezaaluŋŋamizibwa Katonda ziyigiriza nti Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka ng’afiirira ebibi by’ensi. (Matayo 20:28; 26:28; 1 Yokaana 2:1, 2) Kyeyoleka kaati nti enjiri z’abannaddiini n’abafirosoofo bano zaawandiikibwa n’ekigendererwa eky’okunafuya okukkiriza abantu kwe balina mu Bayibuli, mu kifo ky’okukunyweza.—Ebikolwa 20:30.
Ebitabo by’Enjiri Ebiri mu Bayibuli Bisingira Wala Ebitabo by’Enjiri Ebipya
Okwekenneenya ebitabo by’enjiri ebipya kutusobozesa okumanya nti bya bulimba. Bwe bigeraageranyizibwa n’ebitabo by’enjiri ebiri mu Bayibuli, kyeyoleka bulungi nti ebitabo bino ebipya tebyaluŋŋamizibwa Katonda. (2 Timoseewo 1:13) Olw’okuba byawandiikibwa abantu abaali batamanyi Yesu oba abatume be, tebiriimu mazima agakwata ku Yesu n’Obukristaayo agatali mu Bayibuli. Ebitabo by’enjiri bino ebipya byogera ku bintu ebitali bituufu era ebyayiiyizibwa obuyiiyizibwa ebitayinza kuyamba muntu kumanya Yesu n’enjigiriza ze.—1 Timoseewo 4:1, 2.
Ku luuyi olulala, Matayo ne Yokaana be bamu ku batume 12; Makko yalina enkolagana ey’oku lusegere n’omutume Peetero ate era ne Lukka yalina enkolagana ey’oku lusegere n’omutume Pawulo. Baawandiika Enjiri zaabwe nga balina obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (2 Timoseewo 3:14-17) N’olw’ensonga eno, Enjiri ennya zirimu byonna omuntu bye yeetaaga okusobola okukkiriza nti “Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda.”—Yokaana 20:31.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Kenneth Garrett/National Geographic Stock