Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kikulu Okufaayo ku by’Okuddamu?

Kikulu Okufaayo ku by’Okuddamu?

Kikulu Okufaayo ku by’Okuddamu?

“Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”​—YOKAANA 8:32.

BAYIBULI erimu amazima agasobola okutuyamba obutabuzaabuzibwa abo abayigiriza eby’obulimba ku Yesu. Ddala kikulu okufaayo ku ebyo bye tukkiririzaamu ebikwata ku Yesu? Yee, kikulu. Yakuwa ne Yesu bakitwala nga kikulu. Naffe tusaanidde okukitwala nga kikulu.

Lwaki Yakuwa akitwala nga kikulu? Kubanga “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Yakuwa ayagala tubeera basanyufu emirembe gyonna. Yesu yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi [abantu] n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Katonda yatuma Omwana we atununule era atuggulirewo ekkubo ery’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi ng’ekigendererwa kye bwe kyali. (Olubereberye 1:28) Abo abayiga amazima agakwata ku Yesu era ne bakolera ku ebyo bye bayiga, Katonda abasuubiza ekirabo eky’obulamu obutaggwawo.​—Abaruumi 6:23.

Lwaki Yesu akitwala nga kikulu? Yesu naye ayagala nnyo abantu. Yayoleka okwagala okungi ennyo bwe yeefiiriza n’awaayo obulamu bwe ku lwaffe. (Yokaana 15:13) Yali akimanyi nti eryo lye kkubo lyokka eryandisobozesezza abantu okulokolebwa. (Yokaana 14:6) Yesu ayagala abantu bangi baganyulwe mu kinunulo kya ssaddaaka ye. Eyo ye nsonga lwaki yawa abagoberezi be omulimu ogw’okuyigiriza abantu ebyo Katonda by’ayagala n’ekigendererwa kye.​—Matayo 24:14; 28:19, 20.

Lwaki twandikitutte nga kikulu? Sooka olowooze ku ebyo by’otwala nga bikulu nnyo gamba nga obulamu bwo n’amaka go. Wandyagadde okuba mu bulamu obulungi ng’oli wamu n’abaagalwa bo? Yakuwa ng’ayitira mu Yesu, asuubiza okukuwa ggwe n’abaagalwa bo obulamu obutuukiridde era obutaggwawo mu nsi empya, omutaliba kulumwa wadde okubonaabona. (Zabbuli 37:11, 29; Okubikkulirwa 21:3, 4) Ggwe ekyo tewandikyagadde? Bw’oba nga wandikyagadde, waliwo kye weetaaga okukola.

Ddamu weetegereze ekyawandiikibwa ekijuliziddwa ekiri wansi w’omutwe, ekigamba nti: “Mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.” Amazima agakwata ku Yesu n’ekifo kye mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda gasobola okutusumulula okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Naye okusobola okusumululwa, weetaaga ‘okumanya amazima.’ Lwaki toyiga ebisingawo ebikwata ku mazima n’engeri ggwe n’abaagalwa bo gye musobola okugaganyulwamu? Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba.