Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Musa Aweebwa Omulimu ogw’Enjawulo

Musa Aweebwa Omulimu ogw’Enjawulo

Eri Abavubuka Baffe

Musa Aweebwa Omulimu ogw’Enjawulo

Obulagirizi: Weekenneenye ekitundu kino ng’oli mu kifo ekisirifu. Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, kuba akafaananyi nga naawe kennyini wooli. Ba ng’alaba ebigenda mu maaso. Wuliriza amaloboozi. Weeteeke mu bigere by’abo aboogerwako. By’osoma bitwale ng’ebiriwo kati.

Abasinga okwogerwako: Yakuwa Katonda ne Musa

Mu bufunze: Yakuwa atuma Musa okuggya Abaisiraeri e Misiri.

1 WEKKAANYE EBYALIWO.​—SOMA OKUVA 3:1-14; 4:1-17.

Bw’okuba akafaananyi, olowooza ekisaka kyali kifaanana kitya nga kyaka?

․․․․․

Olowooza Musa yayitaba atya era endabika ye ey’oku maaso yali etya, bwe yawulira Katonda ng’amuyita nga bwe kiragibwa mu Okuva 3:4?

․․․․․

Ebigambo bya Musa ebiri mu Okuva 3:11, 13 ne 4:1, 10, byoleka nneewulira ki?․․․․․

2 NOONYEREZA.

Ng’okozesa ebitabo by’olina ebiyinza okukuyamba okunoonyereza, yongera okunoonyereza ku makulu g’ebigambo “NJA KUBEERA EKYO KYE NNAASALAWO OKUBEERA.” (Okuva 3:14, NW) Lwaki Yakuwa yaddamu bw’atyo, Musa bwe yamubuuza erinnya lye? *

․․․․․

Olowooza lwaki Musa teyakkiririzaawo kugenda eri Falaawo? (Soma Okubala 12:3.)

․․․․․

Olowooza lwaki Musa yali awulira nga kimuzibuwalira okugenda eri Baisiraeri banne?․․․․․

3 SSA MU NKOLA BY’OYIZE. WANDIIKA BY’OYIZE EBIKWATA . . .

Ku ky’okuba nti abantu batera okwenyooma.

․․․․․

Ku ky’okuba nti Yakuwa akulinamu obwesige era amanyi obusobozi bwo we bukoma.․․․․․

EBIRALA BY’ONOSSA MU NKOLA.

Mu bulamu bwo, bintu ki muli by’owulira ng’otya okukola?

․․․․․

Bintu ki eby’enjawulo ebiyinza okukufuula ow’omugaso eri Yakuwa Katonda wadde nga waliwo by’otosobola kukola?

․․․․․

4 MU EBYO BY’OSOMYE KIKI EKISINZE OKUKUGANYULA, ERA LWAKI?

․․․․․

Magazini eno esangibwa ku mukutu www.pr418.com

Bw’oba tolina bayibuli, gisomere ku mukutu www.watchtower.org

[Obugambo obuli wansi]

^ Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebitabo ebisobola okukuyamba okunoonyereza ng’osoma Bayibuli. Okumanya ebisingawo, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba wandiikira abakubi ba magazini eno.