Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Erinnya lya Katonda y’ani?

Ab’omu maka gaffe bonna balina amannya. N’ebisolo eby’awaka tubituuma amanya! Ate ye Katonda y’atalina linnya? Mu Bayibuli mulimu ebitiibwa bya Katonda bingi, gamba nga, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, Mukama Afuga Byonna, Omutonzi. Naye era alina erinnya.​—Soma Yeremiya 16:21.

Mu nzivuunula za Bayibuli nnyingi, erinnya lya Katonda lisangibwa mu Zabbuli 83:18. Ng’ekyokulabirako, mu Bayibuli y’Oluganda eya 1968, olunyiriri olwo lugamba nti: “Ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”

Lwaki tusaanidde okukozesa erinnya lya Katonda?

Katonda ayagala tukozese erinnya lye. Bwe tuba twogera ne mikwano gyaffe, tukozesa amannya gaabwe. Tetwandikozesezza linnya lya Katonda nga tumusaba? Ate era, Yesu yatukubiriza okukozesa erinnya lya Katonda.​—Soma Matayo 6:9; Yokaana 17:26.

Kyokka, okusobola okuba mukwano gwa Katonda, twetaaga okumanya ebirala ebimukwatako so si linnya lyokka. Ng’ekyokulabirako, Katonda alina ngeri ki? Ddala kisoboka okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo osobola okubifuna mu Bayibuli.