Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Eri Abasomi Baffe

Eri Abasomi Baffe

Magazini eno Omunaala gw’Omukuumi, yatandika okukubibwa mu Jjulaayi 1879 (yali mu Lungereza mu kiseera ekyo). Embeera y’ensi ezze ekyukakyuka, era ne magazini eno ezze ekolebwamu enkyukakyuka. (Laba ebifaananyi ebiri waggulu.) Waliwo enkyukakyuka endala ezikoleddwa mu magazini eno. Nkyukakyuka ki?

Mu nsi nnyingi abantu bakozesa nnyo Intaneeti. Kibanguyira okufuna obubaka bwe baba beetaaga, oluusi obuba busangibwa ku Intaneeti kwokka. Waliwo ebitabo bingi n’empapula z’amawulire ebisobola okusomerwa ku Intaneeti.

Eyo ye nsonga lwaki waliwo enkyukakyuka ze twakola ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, www.pr418.com, gube nga gusikiriza era nga kyangu okugukozesa. Bw’ogenda ku mukutu ogwo, ojja kusangako ebitabo ebivvuunuddwa mu nnimi ezisukka mu 430, era okutandika n’omwezi guno, ebitundu ebimu ebibadde bifulumira mu magazini zaffe, ojja kubisanganga ku mukutu www.pr418.com, kwokka. *

Okuva bwe kiri nti ebitundu ebimu bijja kuteekebwanga ku Intaneeti kwokka, okutandika n’omwezi guno, magazini eno ejja kubeeranga ya mpapula 16, so si 32 nga bwe kibadde. Mu kiseera kino, magazini eno Omunaala gw’Omukuumi, evvuunulwa mu nnimi 204. Olw’okuba empapula zaayo zikendezeddwako, kijja kuba kyangu okugivvuunula ne mu nnimi endala nnyingi.

Tusuubira nti enkyukakyuka zino zijja kutusobozesa okutuusa obubaka bwa Bayibuli obuwonya obulamu ku bantu abalala bangi. Tujja kweyongera okuyamba abasomi baffe abaagala okutegeerera ddala ekyo Bayibuli ky’eyigiriza, nga tukozesa ebitabo ne Intaneeti.

Abakuba Magazini Eno

^ Ebimu ku bitundu ebijja okuteekebwanga ku Intaneeti bye bino: “Eri Abaana,” ekiyamba abavubuka okuyiga Bayibuli, ne “Bye Njiga mu Bayibuli,” ekiyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe ab’emyaka esatu n’okudda wansi.