Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

SEMBERERA KATONDA

‘Obibikkulidde Abaana Abato’

‘Obibikkulidde Abaana Abato’

Oyagala okumanya amazima agakwata ku Katonda; ekyo ky’ali, by’ayagala ne by’atayagala? Mu Kigambo kye Bayibuli, Yakuwa Katonda atubuulira amazima gonna agamukwatako. Naye si buli omu nti asobola okusoma Bayibuli n’ategeerera ddala amazima ago. Lwaki? Kubanga okutegeera amazima agakwata ku Katonda eba nkizo era teweebwa buli omu. Ka twetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku nsonga eno.​—Soma Matayo 11:25.

Kirabika ekyo ekyali kyakabaawo kye kyaleetera Yesu okwogera ebigambo ebyo. Yesu yali yaakamala okunenya abantu ab’omu bibuga ebisatu eby’omu Ggaliraaya abaali bagaanye okumukkiririzaamu wadde nga baali balabye eby’amagero bye yakola. (Matayo 11:20-24) Oyinza okwebuuza, ‘Lwaki abantu abamu baagaana okukkiriza ebyo Yesu bye yali ayigiriza wadde nga baalaba eby’amagero bye yakola?’ Kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.—Matayo 13:10-15.

Yesu yali akimanyi nti bwe tuba ab’okutegeera amazima agali mu Bayibuli, twetaaga okuyambibwako Katonda n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Yagamba nti: “Nkutendereza mu lujjudde Kitange Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato.” Olaba ensonga lwaki kiyinza okugambibwa nti okutegeera amazima agali mu Bayibuli eba nkizo? Olw’okuba Yakuwa ye “Mukama w’eggulu n’ensi,” ayinza okubikkulira omuntu amazima oba obutagamubikkulira. Naye Katonda tasosola, awa buli muntu akakisa ak’okutegeera amazima agali mu Bayibuli. Kati olwo, asinziira ku ki okubikkulira abantu abamu amazima n’obutagabikkulira balala?

Yakuwa ayagala abantu abawombeefu, so si ab’amalala. (Yakobo 4:6) Abantu “abagezi n’abayivu” abalina amalala, era abalowooza nti tebeetaaga buyambi bwonna okuva eri Katonda, Katonda tababikkulira mazima agamukwatako. (1 Abakkolinso 1:19-21) Naye agabikkulira “abaana abato,” nga bano be bantu abawombeefu ng’abaana abato, abaagala okumanya ebimukwatako. (Matayo 18:1-4; 1 Abakkolinso 1:26-28) Yesu, Omwana wa Katonda, yali asobola okutegeera abantu abawombeefu n’ab’amalala. Abakulembeze b’eddiini bangi abaali abayivu era ab’amalala tebaategeera Yesu bye yali ayigiriza, naye abavubi abawombeefu bo baabitegeera. (Matayo 4:18-22; 23:1-5; Ebikolwa 4:13) Mu kiseera kye kimu, abamu ku bantu abagagga era abayivu abaali abawombeefu, baafuuka abagoberezi ba Yesu.​—Lukka 19:1, 2, 8; Ebikolwa 22:1-3.

Kati ddamu olowooze ku kibuuzo kino: Oyagala okumanya amazima agakwata ku Katonda? Bwe kiba bwe kityo, kikulu okukimanya nti Katonda tasiima abo abeetwala okuba abagezi, naye asiima abo abanyoomebwa abantu abeetwala okuba abagezi. Bw’onoosoma Ekigambo kya Katonda ng’olina endowooza ennuŋŋamu, Katonda ajja kukuyamba okutegeera amazima agamukwatako. Bw’onootegeera amazima ago ojja kufuna essanyu kati ‘n’obulamu obwa nnamaddala,’ nga buno bwe bulamu obutaggwawo mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu enaatera okubaawo. *1 Timoseewo 6:12, 19; 2 Peetero 3:13.

Essuula za Bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Jjanwali

Matayo 1-21

^ Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okuyiga amazima agakwata ku Katonda n’ebyo by’ayagala. Bayigiriza abantu Bayibuli ku bwereere nga bakozesa akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?