Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Musa​—Omusajja Eyali Omuwombeefu

Musa​—Omusajja Eyali Omuwombeefu

OBUWOMBEEFU BUZINGIRAMU KI?

Obuwombeefu buzingiramu obuteerowoozaako nnyo oba obutaba wa malala. Omuntu omuwombeefu teyeetwala nti asinga abalala. Aba akimanyi nti tatuukiridde era nti obusobozi bwe buliko ekkomo.

MUSA YAYOLEKA ATYA OBUWOMBEEFU?

Musa bwe yafuna obuyinza yeewala okuba ow’amalala. Ebiseera ebisinga omuntu bw’aweebwa obuyinza, kyeyolekerawo obanga muwombeefu oba nga wa malala. Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Robert G. Ingersoll, ow’omu kyasa eky’ekkumi n’omwenda yagamba nti: ‘Bw’oba oyagala okumanya obanga omuntu muwombeefu, muwe obuyinza.’ N’olwekyo, Musa yassaawo ekyokulabirako ekirungi eky’obuwombeefu. Mu ngeri ki?

Musa yalina obuyinza bungi kubanga Yakuwa yamulonda okukulembera eggwanga lya Isiraeri. Kyokka, obuyinza obwo tebwamuleetera kuba wa malala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye yakwatamu ensonga enzibu eyali ekwata ku by’obusika. (Okubala 27:1-11) Ensonga eyo yali nkulu nnyo kubanga ekyo ekyandisaliddwawo kye kyandigobereddwa emirembe egyandizzeewo.

Musa yandikoze ki? Yandirowoozezza nti olw’okuba ye yali akulembera eggwanga lya Isiraeri, ye yali aggwanidde okusalawo ku nsonga eyo? Yandisinzidde ku busobozi bwe, ku bumanyirivu bwe yalina, oba ku ky’okuba nti yali amanyi bulungi Yakuwa?

Oboolyawo omuntu ow’amalala bw’atyo bwe yandikoze. Naye Musa si bwe yakola. Bayibuli egamba nti: “Musa n’atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama.” (Okubala 27:5) Kirowoozeeko! Wadde nga yali amaze emyaka 40 ng’akulembera eggwanga lya Isiraeri, Musa teyeesigama ku magezi ge, wabula yeebuuza ku Yakuwa. Kyeyoleka kaati nti Musa yali muwombeefu nnyo.

Musa teyakitwala nti ye yekka eyalina okuba n’obuyinza. Yasanyuka nnyo Yakuwa bwe yalonda Abaisiraeri abalala okuweerereza awamu naye nga bannabbi. (Okubala 11:24-29) Ssezaala we bwe yamuwa amagezi nti afuneyo abalala bamuyambeko mu kusala emisango, Musa yakolera ku magezi ago. (Okuva 18:13-24) Wadde nga yali akyalina amaanyi, yasaba Yakuwa alonde omuntu eyandimuddidde mu bigere. Yakuwa bwe yalonda Yoswa, Musa yawagira omuvubuka oyo n’omutima gwe gwonna era n’akubiriza Abaisiraeri okugondera Yoswa ng’abakulembera okubatuusa mu Nsi Ensuubize. (Okubala 27:15-18; Ekyamateeka 31:3-6; 34:7) Mu butuufu, Musa yali agitwala nga nkizo okukulembera Abaisiraeri mu kusinza. Naye ekyo tekyamuleetera kuba nnaakyemalira.

BIKI BYE TUMUYIGIRAKO?

Tusaanidde okwewala okuba ab’amalala nga tuweereddwa obuyinza oba olw’okuba tulina ekitone. Kijjukire nti obuwombeefu bwaffe bwe butufuula ab’omugaso eri Yakuwa, so si busobozi bwaffe. (1 Samwiri 15:17) Bwe tuba abawombeefu, tujja kufuba okukolera ku kubuulirira kuno okuli mu Bayibuli: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe.”​—Engero 3:5, 6.

Ate era ekyokulabirako kya Musa kituyigiriza obuteegulumiza olw’ekifo eky’obuvunaanyizibwa kye tuba nakyo oba olw’obuyinza bwe tulina.

Ddala tuganyulwa bwe tukoppa Musa, omusajja eyali omuwombeefu? Awatali kubuusabuusa! Bwe tuba abawombeefu, kyanguyira abantu abalala okukolagana naffe era tufuuka mikwano gyabwe. N’ekisinga obukulu, tusanyusa nnyo Yakuwa Katonda, olw’okuba naye kennyini ayoleka engeri eno ennungi. (Zabbuli 18:35) “Katonda aziyiza ab’amalala naye abawombeefu abalaga ekisa eky’ensusso.” (1  Peetero 5:5) Eyo nga nsonga nkulu nnyo eyandituleetedde okuba abawombeefu nga Musa!