Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENGERI Y’OKUFUNAMU ESSANYU MU MAKA

Amaka Omuli Abaana b’Otozaala

Amaka Omuli Abaana b’Otozaala

MARGARET  * ABEERA MU AUSTRALIA agamba nti: “Eyali muka baze yagaana abaana be okumpuliriza. Ne bwe mbagamba okusenya amannyo, tebampuliriza.” Margaret yali alaba ng’ako kaali kakodyo ka kumulemesa bufumbo.

Amaka omuli abaana b’otozaala gatera okubaamu ebizibu bingi. * Abazadde abasinga obungi abali mu maka omuli abaana be batazaala baba balina okukolagana n’omuzadde azaala abaana atakyali mu maka ago bwe kituuka ku bintu ng’okukyalira abaana, okubagunjula, n’okubalabirira mu by’ensimbi. Ab’eŋŋanda n’ab’emikwano eb’enjuyi zombi nabo kiyinza okubazibuwalira okukolagana obulungi. Weetegereze engeri Bayibuli gy’esobola okubayambamu.

1. OKUKOLAGANA N’OMUZADDE W’OMWANA

Judith abeera mu Namibia agamba nti: “Eyali muka baze yagamba abaana be nti ndi bubeezi muka kitaabwe era nti abaana be nnandizadde tebandibadde baganda baabwe. Ebigambo ebyo byampisa bubi nnyo kubanga njagala nnyo abaana be era mbatwala ng’abange.”

Abakugu bagamba nti enkolagana wakati wa maama w’abaana n’oyo atali nnyaabwe bw’etaba nnungi eyinza okuviirako enjawukana mu maka. Obutategeeragana butera kubaawo wakati wa bamaama. Kiki ekisobola okubayamba?

Ekinaakuyamba: Manya w’olina okukoma. Bw’oziyiza oyo eyali munno mu bufumbo okuwuliziganya n’omwana wammwe, kiyinza okukosa omwana. * Kijjukire nti abazadde b’omwana baba ba muwendo nnyo gy’ali. (Engero 23:22, 25) Ku luuyi olulala, eyali munno mu bufumbo bw’omuyingiza ennyo mu nsonga z’amaka go, kiyinza okweraliikiriza munno gw’olina kati oba okumunyiiza. Togwa lubege, manya w’olina okukoma ng’okolagana n’omuzadde eyali munno mu bufumbo osobole okukuuma obufumbo bwo.

EBINAAYAMBA ABAZADDE

  • Bw’oba oyogera n’eyali munno mu bufumbo, mwogere ku nsonga ezikwata ku baana bammwe zokka. Muyinza okuteesa ku kiseera eky’enkalakkalira eky’okwogereramu ku ssimu mu budde obw’emisana, era mwewale okwogera ekiro ennyo.

  • Bw’oba nga si ggwe obeera n’abaana, osobola okwongera okuwuliziganya nabo ng’obakubira essimu, ng’obawandiikira amabaluwa, oba okubaweereza obubaka ng’okozesa essimu oba Intaneeti. (Ekyamateeka 6:6, 7) Ekyo kijja kukusobozesa okumanya embeera abaana bo gye balimu n’engeri y’okubayambamu.

EBINAAYAMBA OMUKYALA ALI MU MAKA OMULI ABAANA B’ATAZAALA

  • Maama w’abaana mulage nti ‘omulumirirwa’ era nti togezaako kumukyayisa baana be. (1 Peetero 3:8) Mubuulire ebifa ku baana be, ng’essira olissa ku birungi bye bakola. (Engero 16:24) Musabe akuwe ku magezi, era bw’agakuwa musiime.

  • Abazadde abamu bayisibwa bubi bw’olaga ennyo abaana baabwe omukwano nga weebali, n’olwekyo beera mwegendereza. Omukyala ayitibwa Beverly, abeera mu Amerika agamba nti: “Abaana b’eyali muka baze abato baayagala okumpita Maama. Nnabakkiriza okumpita maama nga tuli ffekka, naye ne mbagaana okumpita bwe batyo nga tuli ne maama waabwe oba ng’ab’omu maka ge weebali. Ekyo kyannyamba okuba n’enkolagana ennungi ne maama waabwe, era oluvannyuma twatandika okukolera awamu okuyamba abaana.”

AMAGEZI AGANAAYAMBA ABAZADDE BOMBI OKUKOLAGANA OBULUNGI

  • Toyogeranga bubi ku oyo eyali muka munno mu bufumbo ng’abaana be bawulira, kubanga kiyisa bubi nnyo abaana. Ate era tomanya ngeri ebigambo by’oyogedde gye biyinza kumutuukako. (Omubuulizi 10:20) Omwana wo bw’akugamba nti omu ku bazadde b’abeera nabo yakwogeddeko bubi, ggwe tomwogerako bubi wabula budaabuda omwana wo. Oyinza okumugamba nti: “Kibi nnyo nti yabyogedde nga w’oli. Naye ekyo oluusi kibaawo omuntu bw’aba anyiize.”

  • Gezaako okulaba nti omwana akola ebintu mu ngeri gy’abikolamu ng’ali ne maama we. Ekyo bwe kiba tekisoboka, nnyonnyola omwana nti ebintu mubikola mu ngeri za njawulo, naye tovumirira muzadde we. Lowooza ku mbeera ng’eno eyinza okubaawo:

    Maama: Ema, yoza ebintu.

    Ema: Nze bwe mba ŋŋenze ewa Maama anzaala ssooza bintu; ye y’abyoza.

    Maama (nga mukambwe): Akufuula mugayaavu.

    Kyandibadde kituufu okuddamu bw’atyo?

    Maama (nga mukkakkamu): Eee, kale. Naye ffe wano buli omu ayoza ebintu.

  • Abaana bwe baba bagenda kukyalirako muzadde waabwe, tobawa mirimu mu kiseera ekyo. (Matayo 7:12) Bw’oba toosobole kukyusa kiseera we banaakolera emirimu egyo, tegeeza nnyaabwe nga bukyali.

GEZAAKO BINO: Olunaku lw’onoddamu okusisinkana oyo eyaliko muka munno mu bufumbo, kola bino wammanga:

  1. Mutunuulire era osseeko akamwenyumwenyu. Tokola kintu kyonna ekiyinza okulaga nti tomwagala, gamba ng’okumuziimuula.

  2. Mulamuse, era kikole mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa.”

  3. Bwe muba munyumya nga muli mu kibinja, laga nti naye omufaako.

2. OKUKOLAGANA N’ABAANA ABAKUZE

Ekitabo ekiyitibwa Step Wars ekikwata ku nsonga z’amaka kyogera ku mukyala omu eyeemulugunya olwa bba okuwolereza abaana be abakulu, era omukyala ne bw’amugamba nti abaana bamujooga teyeefiirayo. Omukyala oyo agamba nti: “Mba mpulira ng’obusungu bujula kunzita.” Kiki ky’oyinza okukola okulaba nti engeri gy’okolaganamu n’abaana abatali babo abakuze teyonoona bufumbo bwo?

Ekinaakuyamba: Beera wa kisa. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye ebigasa abalala.” (1 Abakkolinso 10:24) Gezaako okwessa mu bigere by’omulala n’okumanya engeri gye yeewuliramu. Abaana abatali babo abakuze bayinza okutya nti nnyaabwe oba kitaabwe ajja kubakyawa. Oba bayinza okulowooza nti bwe banaakulaga okwagala, bajja kuba ng’abalidde mu muzadde waabwe olukwe. Ng’oggyeko ebyo, munno mu bufumbo ayinza okutya nti bw’anaanenya abaana be, enkolagana ye nabo eyinza okwonooneka.

Mu kifo ky’okukaka abaana abo okukwagala, leka omukwano wakati wo nabo gukule mpolampola. Mu butuufu, si kirungi kukaka muntu kukwagala. (Oluyimba 8:4) N’olwekyo tosuubira bingi bwe kituuka ku nkolagana wakati wo n’abaana abatali babo.

Ne bwe baba bakuyisizza bubi, weewale okwogera buli kimu ekikuli ku mutima. (Engero 29:11) Bwe kiba nga kikuzibuwalira nnyo okufuga olulimi lwo, saba Katonda nga Kabaka Dawudi bwe yakola. Yagamba nti: “Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange: okuumenga omulyango gw’emimwa gyange.”​—Zabbuli 141:3.

Ennyumba abaana mwe bakulidde bayinza okuba nga bakyagyagala nnyo. N’olwekyo bwe muba musazeewo okusigala mu nnyumba eyo, tokyusa nnyo ndabika yaayo naddala mu bisenge mwe basula. Muyinza n’okusengukira mu nnyumba endala.

GEZAAKO KINO: Abaana abatali babo abakuze bwe beeyongera okukuyisa obubi oba obutakuwa kitiibwa, buulira munno mu bufumbo era omuwulirize bulungi ng’akuwa endowooza ye. Tomukaka kugunjula baana be. Mu kifo ky’ekyo, buli omu afube okutegeera endowooza ya munne. Ekyo kijja kubayamba okukolera awamu okusobola okugonjoola ekizibu ekyo.​—2 Abakkolinso 13:11.

3. OKUKOLAGANA N’AB’EŊŊANDA AWAMU N’AB’EMIKWANO

Omukyala ayitibwa Marion abeera mu Canada agamba nti: “Bazadde bange baawanga omwana wange ebirabo naye ng’abaana ba baze tebabawa. Ffe bennyini twabaguliranga ebirabo, naye ng’oluusi tetuba na ssente.”

Ekinaakuyamba: Faayo nnyo ku b’omu maka g’olimu kati. Buulira ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo ku buvunaanyizibwa bw’olina obw’okulabirira amaka g’olimu kati. (1 Timoseewo 5:8) Wadde nga tosuubira ba ŋŋanda zo na mikwano gyo bonna kwagalirawo abaana abatali babo, basabe babe benkanya. Bannyonnyole engeri abaana gye bajja okuyisibwamu nga bakitegedde nti basosolwa.

Fuba okulaba nti wabaawo enkolagana wakati w’omwana wo n’abazadde b’oyo eyali munno mu bufumbo. Omukyala ayitibwa Susan abeera mu Bungereza agamba nti: “Nnafiirwa omwami wange n’enziramu okufumbirwa oluvannyuma lw’emyezi 18, naye bazadde b’omugenzi kyabazibuwalira nnyo okwagala omwami wange omuggya. Embeera yagenda etereera bwe twafuba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere nabo; twawanga abaana baffe essimu okwogerako nabo era twabeebazanga olw’ebyo bye baatukoleranga.”

GEZAAKO KINO: Kubaganya ebirowoozo ne munno mu bufumbo ku ngeri gy’oyinza okutereezaamu enkolagana yo n’ow’oluganda oba mukwano gwe gwe mutakolagana naye bulungi.

Bw’oba oli mu maka ng’ago agoogeddwako mu kitundu kino, tewali kubuusabuusa nti ofuna okusoomoozebwa kwa maanyi. Naye bw’ossa mu nkola emisingi gy’omu Byawandiikibwa, amaka go gasobola okuganyulwa ng’ekyawandiikibwa kino bwe kiraga: “Amagezi ge gazimbya ennyumba; n’okutegeera kwe kuginyweza.”​—Engero 24:3.

^ Amannya agamu gakyusiddwa.

^ Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu ebirala ebitera okuba mu maka ng’ago, laba Awake! ya Apuli 2012, erina omutwe ogugamba nti “Secrets of Successful Stepfamilies,” eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ Kyokka, eyali munno mu bufumbo bw’aba ayagala kutabangula maka go, oyinza okumuziyiza.

WEEBUUZE . . .

  • Nnyinza ntya okukolagana obulungi n’oyo eyayawukana ne munnange mu bufumbo?

  • Biki bye tuyinza okukola okulaba nti ab’eŋŋanda n’ab’emikwano tebatabangula maka gaffe?