Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWTAGANA N’EBIRI KUNGULU: DDALA KATONDA MUKAMBWE?

Lwaki Abamu Bagamba nti Katonda Mukambwe?

Lwaki Abamu Bagamba nti Katonda Mukambwe?

WALI weebuuzizzaako ekibuuzo kino, “Katonda ddala mukambwe? Waliwo abalowooza nti Katonda mukambwe. Lwaki?

Abantu abamu ababa bawonye okufiira mu katyabaga beebuuza nti: “Katonda bw’aba nga si mukambwe era ng’atulumirirwa, lwaki aleka ebintu ng’ebyo okubaawo?”

Abalala balowooza nti Katonda mukambwe olw’ebyo bye baba basomye mu Bayibuli. Bwe basoma ku bintu ebyaliwo gamba ng’amataba g’omu kiseera kya Nuuwa, beebuuza nti, ‘Singa Katonda si mukambwe yandibadde atta abantu abenkanidde awo?’

Naawe wali weebuuzizzaako ekibuuzo ng’ekyo? Oba singa omuntu akikubuuza, kiyinza okukuzibuwalira okumuddamu? Lowooza ku kibuuzo kino wammanga.

LWAKI TUKYAWA EBIKOLWA EBY’OBUKAMBWE?

Tukyawa ebikolwa eby’obukambwe olw’okuba tusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Ku nsonga eyo tuli ba njawulo nnyo ku bisolo. Katonda yatutonda ‘mu kifaananyi kye.’ (Olubereberye 1:27) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti yatutonda nga tusobola okwoleka engeri ze n’okukolera ku mitindo gye egy’empisa, ebitusobozesa okwawulawo ekituufu n’ekikyamu nga ye. Lowooza ku kino: Bwe kiba nti Katonda ye yatuwa obusobozi bw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu era nga tukyawa ebikolwa eby’obukambwe, ekyo tekiraga nti naye abikyawa?

Bayibuli eraga nti bwe kityo bwe kiri. Katonda atugamba nti: ‘Amakubo gange gasinga amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange bisinga ebirowoozo byammwe.’ (Isaaya 55:9) Bwe tugamba nti Katonda mukambwe, tuba ng’abagamba nti amakubo gaffe gasinga agage. Mu kifo ky’okwanguyiriza okugamba nti Katonda mukambwe, kyandibadde kirungi ne tutegeera ensonga lwaki ebintu ebimu bye yakola birabika ng’ey’obukambwe. Ka tusooke twetegereze amakulu g’ekigambo “obukambwe.”

Omuntu omukambwe y’oyo anyumirwa okulaba ng’abalala babonaabona, oba atalumirirwa balala. Ng’ekyokulabirako, taata abonereza omwana we olw’okuba ayagala bwagazi okumulumya aba mukambwe. Naye taata abonereza omwana we olw’okuba ayagala okumuyigiriza empisa ennungi oba olw’okumutangira okufuna ebizibu, aba mulungi. Tuyinza okukola ekintu omuntu n’atusalira omusango naye nga tamanyi nsonga lwaki tukikoze. Oboolyawo ekyo naawe kyali kikutuuseeko.

Ka tulabe ensonga bbiri ku ezo ezireetera abamu okulowooza nti Katonda mukambwe​—obutyabaga obugwawo n’engeri Katonda gye yazikirizangamu abantu mu biseera eby’edda. Ddala ebintu ebyo biraga nti Katonda mukambwe?