Oneesiga Katonda?
KA TUGAMBE nti mukwano gwo gw’oyagala ennyo akoze ekintu naye nga tomanyi nsonga lwaki akikoze. Abantu abalala bamuvumirira olw’ekyo ky’akoze era bagamba nti mukambwe. Onoomala gakkiriza bye boogera nga tosoose kuwulira mukwano gwo ky’agamba? Mukwano gwo bw’aba nga taliiwo kukunnyonnyola, onoogumiikiriza okutuusa lw’anaakubuulira ekituufu?
Nga tonnabaako ky’oyogera ku ebyo bye bakugambye, kiba kirungi okusooka okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Mukwano gwange ono mmumanyi kwenkana wa, era kiki ekindeetera okumwagala?’ Mu ngeri y’emu, nga tetunnagamba nti Katonda mukambwe kiba kirungi okusooka okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo.
Kiyinza okukuzibuwalira okutegeera ensonga lwaki Katonda yakola ebintu ebimu, oba oyinza okuba nga weebuuza ensonga lwaki aleka ebintu ebimu ebibi okubaawo. Abantu bangi bayinza okukugamba nti Katonda mukambwe era nga baagala okkiriziganye nabo. Nga tonnakkiriziganya nabo, kiba kirungi n’ogumiikiriza okutuusa lw’omanya ekituufu. Weebuuze, ‘Ddala tewali bintu birungi Katonda by’ankoledde?’
Bwe kiba nti oyise mu bizibu bingi oyinza okulowooza nti Katonda takwagala. Naye sooka weebuuze, Ddala Katonda y’andeetera ebizibu? Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi eno’ so si Yakuwa. (Yokaana 12:31) N’olwekyo, ebizibu ebisinga obungi ebiri mu nsi Sitaani y’abireeta. Obutali butuukirivu bwaffe n’ebizibu ebigwaawo obugwi nabyo bituleetera okubonaabona.
Ddala Katonda y’akuleetera ebizibu?
Kati ate lowooza ku birungi Katonda by’atukolera. Bayibuli egamba nti Katonda ye ‘yakola eggulu n’ensi’; yakola emibiri gyaffe mu ngeri eyeewuunyisa; era nti “alina omukka gwo [ogw’obulamu] mu mukono gwe.” (Zabbuli 124:8; 139:14; Danyeri 5:23) Ebyo byonna bitegeeza ki?
Bitegeeza nti Omutonzi waffe y’atusobozesa okuba abalamu. (Ebikolwa 17:28) Obulamu bwe tulina, ebitonde ebirabika obulungi, emikwano gye tulina, obusobozi bw’okuloza, okuwulira, n’okuwunyiriza, byonna birabo Katonda bye yatuwa. (Yakobo 1:17) Ebirungi byonna Katonda by’atukoledde tebyandituleetedde kumwagala n’okumwesiga?
Kyokka, kiyinza okukuzibuwalira okwesiga Katonda, oboolyawo olw’okuba tonnaba kumutegeera bulungi. Mu katabo kano tetusobola kwogera ku nsonga zonna ezireetera abantu okulowooza nti Katonda mukambwe. Tukukubiriza okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda. * Bw’onookola bw’otyo, ojja kumanya amazima agamukwatako. Nga bwe tulabye, Katonda si mukambwe. Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.”—1 Yokaana 4:8.
^ Okumanya ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, laba essuula 11 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.