Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | LAKABU

‘Yayitibwa Mutuukirivu olw’Ebikolwa’

‘Yayitibwa Mutuukirivu olw’Ebikolwa’

EMMAMBYA esaze. Lakabu ayimiridde ku ddirisa ly’ennyumba ye mu kibuga Yeriko era alaba ekitangaala. Eggye ly’Abaisiraeri libalumbye era lisiisidde wabweru w’ekibuga. Abaisiraeri baddamu okukumba nga beetooloola ekibuga nga bwe babadde bakola mu nnaku omukaaga eziyise. Enfuufu efuumuuka, n’eŋŋombe zivugira waggulu.

Yeriko kye kibuga Lakabu mwe yali abeera. Yali amanyi bulungi enguudo zaamu, amayumba, obutale, awamu n’amaduuka gaamu. N’okusingira ddala, yali amanyi bulungi abantu baamu. Yali asobola okukiraba nti baali batidde nnyo olw’okuwulira ng’Abaisiraeri beetooloola ekibuga omulundi gumu buli lunaku nga bwe bafuuwa eŋŋombe. Kyokka ye Lakabu bwe yawuliranga eŋŋombe ezivugira waggulu, teyatyanga.

Ku lunaku olw’omusanvu Abaisiraeri bwe baatandika okwetooloola ekibuga nga bulijjo, Lakabu yali yeetegereza ekigenda mu maaso. Yali alaba bakabona abaali wakati mu ggye ly’Abaisiraeri nga bafuuwa eŋŋombe era nga basitudde ssanduuko y’endagaano eyali ekiikirira okubeerawo kwa Yakuwa Katonda waabwe. Kuba akafaananyi nga Lakabu akutte ku kaguwa akamyufu akaali kasibiddwa ku ddirisa lye eryali ku bbugwe wa Yeriko omugulumivu. Buli lwe yatunulanga ku kaguwa ako yajjukiranga nti ye n’ab’omu maka ge bandiwonyeewo ng’ekibuga kizikirizibwa. Kati tugambe nti Lakabu yalya mu nsi ye olukwe? Yakuwa teyakitwala bw’atyo; yamutwala ng’omukazi eyalina okukkiriza okw’amaanyi. Ka tulukuviire ku ntono tulabe bye tuyinza okuyigira ku Lakabu.

LAKABU YALI MALAAYA

Abeekenneenya ba Bayibuli ab’edda baali tebakkiriza nti Lakabu yali malaaya, era baagambanga nti yali bubeezi nnannyini nnyumba omusula abatambuze. Kyokka yo Bayibuli tekweka mazima. (Yoswa 2:1; Abebbulaniya 11:31; Yakobo 2:25) Mu nsi ya Kanani, kyali tekitwalibwa nti kibi okukola obwa malaaya. Wadde ng’ekyo kyali kikkirizibwa mu kitundu ekyo, Lakabu ayinza okuba nga yali akimanyi nti kikyamu, kubanga yalina omuntu ow’omunda oba obusobozi Katonda bwe yatuwa ffenna obw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (Abaruumi 2:14, 15) Lakabu ayinza okuba nga yali awulira ng’obwa malaaya bumuswaza. Oboolyawo okufaananako abantu bangi abakola obwa malaaya leero, Lakabu ayinza okuba nga yali alowooza nti ekyo kyokka kye yali asobola okukola okuyimirizaawo ab’omu maka ge.

Awatali kubuusabuusa, Lakabu yali ayagala okuba mu bulamu obulungi. Ensi gye yalimu yali ejjudde ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obuseegu nga mw’otwalidde abantu okwegatta n’ab’eŋŋanda zaabwe awamu n’ensolo. (Eby’Abaleevi 18:3, 6, 21-24) Okusinza okw’obulimba okwaliwo mu kiseera ekyo kwe kwatumbulanga ebikolwa ebyo ebibi. Obwa malaaya bwakolebwanga ne mu yeekaalu, era okusinza bakatonda ab’obulimba gamba nga Baali ne Moleki kwali kuzingiramu okuwaayo abaana baabwe nga ssaddaaka nga babookya mu muliro.

Yakuwa yali alaba byonna ebyali bigenda mu maaso mu Kanani. Mu butuufu, olw’ebikolwa by’Abakanani ebibi ennyo, Yakuwa yagamba nti: ‘Ensi eyonoonese: kyenva ngibonereza olw’obutali butuukirivu bwayo, n’ensi ejja kusesemera ddala abagituulamu.’ (Eby’Abaleevi 18:25) Yakuwa yandibabonerezza atya? Katonda yasuubiza Abaisiraeri nti: “Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu.” (Ekyamateeka 7:22) Yakuwa “Katonda atayinza kulimba” yali yasuubiza dda nti ensi eyo yandigiwadde bazzukulu ba Ibulayimu.​—Tito 1:2; Olubereberye 12:7.

Ate era Yakuwa yali asazeewo nti amawanga agamu agaali mu nsi eyo gasaanyizibwewo. (Ekyamateeka 7:1, 2) Ye ‘ng’Omulamuzi w’ensi zonna,’ yali yakebera emitima gy’abantu abo n’alaba nga tebaali beetegefu kuleka bikolwa byabwe ebibi. (Olubereberye 18:25; 1 Ebyomumirembe 28:9) Lakabu yawuliranga atya okubeera mu kibuga kye yali amanyi nti kigenda kuzikirizibwa? Ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo bwe yawulira obuwanguzi Katonda bwe yali asobozesezza Abaisiraeri okutuukako. Yali yakiwulirako nti Abaisiraeri abaali abaddu obuddu Katonda yabasobozesa okuwangula eggye lya Misiri eryali lisingayo okuba ery’amaanyi mu nsi yonna mu kiseera ekyo. Era nga kati baali boolekedde okulumba Yeriko. Wadde kyali kityo, abantu b’omu kibuga ekyo baali beeyongera bweyongezi kukola bintu bibi. Tekyewuunyisa nti Abakanani abaali mu kibuga Lakabu mwe yali abeera Bayibuli eboogerako ng’abantu ‘abaali abajeemu.’​—Abebbulaniya 11:31.

Lakabu ye yali wa njawulo. Okumala emyaka mingi, ateekwa okuba nga yafumiitirizanga ku ebyo bye yawuliranga ebikwata ku Baisiraeri ne ku Yakuwa Katonda waabwe. Yakiraba nti Yakuwa Katonda wa njawulo nnyo ku bakatonda Abakanani be baali basinza. Yakiraba nti Yakuwa ye Katonda alwanirira abantu be mu kifo ky’okubabonyaabonya, era ayigiriza abantu be empisa ennungi so si empisa ez’obugwenyufu. Yakiraba nti Katonda w’Abaisiraeri yali atwala abakazi nga ba muwendo, so si ng’ab’okutundibwa oba okugulibwa okukozesebwa mu bikolwa eby’obuseegu, ne mu kusinza okw’obulimba. Lakabu bwe yawulira nti Abaisiraeri basiisidde okumpi n’omugga Yoludaani, era nga bateekateeka okulumba, ateekwa okuba nga yeeraliikirira nnyo ekyandituuse ku bantu be. Waliwo akalungi konna Yakuwa ke yalaba mu Lakabu?

Leero, waliwo abantu bangi abali nga Lakabu. Bawulira nti ebintu ebibi bye bakola bibamalako essanyu era bibaleetera okuwulira nga si ba mugaso. Ebyo ebikwata ku Lakabu biraga nti teri n’omu ku ffe atali wa mugaso eri Katonda. Wadde nga tuyinza okuwulira ng’abatali ba mugaso, Katonda “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Atufaako, era mwetegefu okubudaabuda abo bonna abamukkiririzaamu. Lakabu yakiraga atya nti yali akkiririza mu Katonda?

YASEMBEZA ABAKESSI

Lumu, ng’Abaisiraeri tebannalumba kibuga Yeriko, abasajja babiri baagenda ewa Lakabu. Abasajja abo baali balowooza nti tewali ajja kubategeera, naye bangi mu kibuga baali ku bwerinde, si kulwa nga wabaawo omuntu yenna ava mu nkambi y’Abaisiraeri n’ajja okuketta ekibuga. Lakabu yategeera mangu ekyali kitutte abasajja abo ewuwe. Ekyamuleetera okukitegeera amangu kwe kuba nti baali tebagenze kufuna malaaya wabula baali baagala kusulawo busuzi.

Mu butuufu abasajja abo baali bakessi okuva mu nkambi y’Abaisiraeri. Yoswa omuduumizi waabwe, yali abatumye okuketta ekibuga Yeriko. Kino kye kyali ekibuga kya Kanani Abaisiraeri kye baalina okusooka okulumba, era kirabika kye kyali kisinga okuba eky’amaanyi. Yoswa yali ayagala okumanya ebikwata ku kibuga ekyo. Awatali kubuusabuusa, abakessi baakigenderera okugenda mu nnyumba ya Lakabu. Olw’okuba Lakabu yali malaaya, baali basobola okugendayo ne wataba ategeera nti bakessi. Oboolyawo abakessi abo era baali baagala okuwulira abantu bye boogera ku Baisiraeri.

Bayibuli egamba nti Lakabu ‘yasembeza ababaka.’ (Yakobo 2:25) Yabakkiriza okusula mu maka ge wadde nga muli yali akimanyi nti baali bakessi. Oboolyawo yali asuubira nti yandiyize ebisingawo ebikwata ku Yakuwa Katonda waabwe.

Kyokka mu kaseera mpa we kaaga, ababaka okuva eri kabaka wa Yeriko baatuuka mu maka ga Lakabu! Amawulire gaali gasaasaanye nti abakessi okuva mu nkambi y’Abaisiraeri baali bazze mu nnyumba ya Lakabu. Kiki Lakabu kye yandikoze? Okukweka abakessi abo, kyanditadde obulamu bwe n’obw’ab’omu maka ge mu kabi. Abantu b’omu Yeriko bandimusse n’ab’omu maka ge bonna olw’okukweka abalabe abo. Ku luuyi olulala, Lakabu kati yali akakasizza nti abasajja abo baali bazze kuketta. Olw’okuba yali akimanyi nti Yakuwa Katonda asingira wala katonda gwe yali asinza, ako ke kaali akakisa okulaga nti yali ku ludda lwa Yakuwa.

Lakabu yalina ekiseera kitono okusalawo eky’okukola, naye yayiiya mangu eky’okukola. Yakweka abakessi waggulu ku nnyumba ye n’ababikkako obuti obwali bwanikiddwayo. Oluvannyuma yagamba ababaka kabaka be yali atumye nti: ‘Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye simanyi gye baavudde: awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng’enzikiza ekutte, abantu ne bagenda: abantu gye baagenze simanyiyo: mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.’ (Yoswa 2:4, 5) Teeberezaamu engeri Lakabu gye yali awuliramu ng’ayogera n’ababaka ba kabaka. Yandiba nga yalowooza nti bandikitegedde nti ababuzaabuza bubuzaabuza?

Akakodyo ke kaakola! Abasajja ba kabaka baayanguwa okukwata ekkubo eridda ku Yoludaani. (Yoswa 2:7) Lakabu ateekwa okuba nga yassa ekikkowe. Ng’akozesa akakodyo ako, yabuzaabuza abasajja abo abatemu kabaka be yali atumye, n’awonya abaweereza ba Yakuwa Katonda ow’amazima.

Lakabu yaddayo mangu waggulu ku nnyumba eri abakessi n’ababuulira kye yali akoze. Ate era yababuulira ekintu ekikulu ennyo, nti abantu b’omu Yeriko baali batidde Abaisiraeri. Amawulire ago amalungi gateekwa okuba nga gaasanyusa nnyo abakessi. Abakanani abo ababi baali batandise okutya Yakuwa Katonda wa Isiraeri olw’amaanyi ge amangi! Oluvannyuma Lakabu yayogera ebigambo ebituyamba okumanya nti ddala yali akkiririza mu Yakuwa Katonda. Yagamba nti: “Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.” (Yoswa 2:11) Ebyo bye yali awulidde ku Yakuwa Katonda wa Isiraeri byamuyamba okumussaamu obwesige. Yakkiririza mu Yakuwa.

Lakabu yali mukakafu nti Yakuwa yandituusizza abantu be ku buwanguzi. N’olwekyo, yeegayirira abakessi abo okumuwonyaawo n’ab’omu maka ge. Abakessi bakkiriza, era ne bamugamba okukuuma ekyama ekyo n’okusiba akaguwa akamyufu ku ddirisa eryali ku bbugwe w’ekibuga kisobozese abalwanyi okumuwonyaawo n’ab’omu maka ge.​—Yoswa 2:12-14, 18.

Waliwo ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku kukkiriza kye tuyigira ku Lakabu. Nga Bayibuli bw’egamba, “okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo.” (Abaruumi 10:17) Lakabu bwe yawulira ebikwata ku Yakuwa Katonda ebiraga nti wa maanyi era mwenkanya, yatandika okumukkiririzaamu n’okumwesiga. Leero, tusobola okuyiga ebintu bingi ebikwata ku Yakuwa. Tusaanidde okusoma Ekigambo kye Bayibuli tusobole okumanya ebimukwatako n’okumukkiririzaamu.

BBUGWE OW’AMAANYI AGWA WANSI

Nga bakolera ku magezi Lakabu ge yabawa, abakessi abo ababiri baakozesa omuguwa okukka okuva mu nnyumba ye nga bayitira mu ddirisa ne baddukira mu nsozi. Ensozi ezaali mu mambuka ga Yeriko zaalimu empuku nnyingi abakessi abo mwe baali basobola okwekweka okutuusa lwe bandizzeeyo mu nkambi y’Abaisiraeri n’amawulire amalungi Lakabu ge yali ababuulidde.

Abantu b’omu Yeriko bateekwa okuba nga baatya nnyo bwe baawulira nti Yakuwa yayimiriza amazzi g’omugga Yoludaani mu ngeri ey’ekyamagero, Abaisiraeri ne basomoka nga bayita ku lukalu. (Yoswa 3:14-17) Naye ye Lakabu amawulire ago gaamukakasa bukakasa nti yali asazeewo bulungi okukkiririza mu Yakuwa.

Abaisiraeri baatandika okwetooloola ekibuga Yeriko, nga bakikola omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Naye engeri gye baakikolamu ku lunaku olw’omusanvu yali ya njawulo. Nga bwe kyalagiddwa ku ntandikwa y’ekitundu kino, ku lunaku olwo baatandika ku makya nnyo, era baakyetooloola emirundi musanvu. (Yoswa 6:15) Biki ebyaddirira?

Nga bamaze okukyetooloola omulundi ogw’omusanvu, eggye lyalekera awo okukyetooloola. Bakabona baalekera awo okufuuwa eŋŋombe ne wabaawo akasiriikiriro ak’amaanyi. Abantu b’omu kibuga bateekwa okuba nga beeyongera okutya. Oluvannyuma, Yoswa yagamba eggye lya Isiraeri okuleekanira waggulu. Kyandiba nti abakuumi b’ekibuga abaali ku bbugwe waggulu baalowooza nti Abaisiraeri bawoggana buwogganyi tewali kye basobola kukola? Bwe kiba bwe kityo, balina okuba nga beewunya nnyo bbugwe eyali ow’amaanyi bwe yatandika okwenyeenya, okujjamu enjatika, n’oluvannyuma ne yeeyala ku ttaka! Kyokka waaliwo ekisenge ekyasigala nga kiyimiridde. Eyo ye yali ennyumba ya Lakabu, omukazi eyalina okukkiriza okw’amaanyi. Lowooza ku ngeri gye yawuliramu nga Yakuwa amuwonyezaawo n’ab’omu maka ge! *​—Yoswa 6:10, 16, 20, 21.

Abantu ba Yakuwa nabo baawa Lakabu ekitiibwa olw’okukkiriza kwe yayoleka. Bwe baalaba ng’ennyumba ye yokka y’eyali asigadde ng’eyimiridde ate nga yali ku bbugwe eyagwa, baamanya nti Yakuwa ye yamuwonyaawo. Ye n’ab’omu maka ge baawonyezebwawo ng’abantu b’omu kibuga ekyo ababi bazikirizibwa. Oluvannyuma lw’olutalo, Lakabu baamuleeta n’abeera okumpi n’ensiisira z’Abaisiraeri. Nga wayiseewo ekiseera, yafumbirwa omusajja Omuisiraeri ayitibwa Salumooni. Mutabani waabwe Bowaazi, yali musajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi era yawasa Luusi Omumowaabu. * (Luusi 4:13, 22) Kabaka Dawudi ne Yesu Kristo eyafuuka Masiya, baava mu lunyiriri lwa Salumooni bba wa Lakabu.​—Yoswa 6:22-25; Matayo 1:5, 6, 16.

Ebyo bye tusoma ku Lakabu biraga nti teri n’omu ku ffe atali wa mugaso eri Yakuwa. Atulaba ffenna, akebera emitima gyaffe, era asanyuka nnyo bw’alaba nga tulina okukkiriza nga Lakabu kwe yalina. Okukkiriza kwe yalina kwamukubiriza okubaako ky’akolawo. Bayibuli egamba nti, Lakabu ‘yayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa.’ (Yakobo 2:25) Ka ffenna tufube okukoppa okukkiriza kwe!

^ Yakuwa yassa ekitiibwa mu ndagaano abakessi ababiri gye baakola ne Lakabu.

^ Okumanya ebisingawo ku bikwata ku Luusi ne Bowaazi, laba ekitundu ekirina omutwe, “Koppa Okukkiriza Kwabwe” mu Wachtower eya Jjulaayi 1 ne Okitobba 1, 2012.