Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu Abaafa Bajja Kuzuukira

Abantu Abaafa Bajja Kuzuukira

Okkiririza mu kisuubizo kya Bayibuli eky’okuzuukira? * Abantu bangi bandyagadde okuddamu okulaba abantu baabwe abaafa. Naye ddala abafu balizuukira? Okusobola okufuna eky’okuddamu, ka tulabe endowooza abatume ba Yesu Kristo gye baalina ku nsonga eyo.

Abatume baali bakakafu nnyo nti abafu bajja kuzuukira. Lwaki? Ka tulabeyo ensonga bbiri. Esooka, baali bakakafu olw’okuba Yesu kennyini yazuukira. Yesu bwe yazuukira, abatume ‘n’ab’oluganda abasukka mu 500’ baamulaba. (1 Abakkolinso 15:6) Okugatta ku ekyo, abantu abalala bangi baakakasa nti Yesu yazuukira, ng’ebitabo by’Enjiri ebina bwe biraga.​—Matayo 27:62–28:20; Makko 16:1-8; Lukka 24:1-53; Yokaana 20:1–21:25.

Ensonga ey’okubiri, abatume baaliwo enfunda nga ssatu nga Yesu azuukiza abafu​—e Nayini, e Kaperunawumu, n’e Bessaniya. (Lukka 7:11-17; 8:49-56; Yokaana 11:1-44) Okuzuukira okwaliwo e Bessaniya, okwayogeddwako mu katabo kano, kwali mu maka omwali mikwano gya Yesu. Ka tweyongere okwetegereza ebyaliwo.

“NZE KUZUUKIRA”

Yesu yagamba Maliza mwannyina Laazaalo nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Laazaalo yali yaakamala ennaku nnya mu ntaana. Mu kusooka, Maliza teyategeera bigambo bya Yesu ebyo, era yamuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira,” ng’alowooza nti yandizuukidde mu biseera eby’omu maaso. Yesu bwe yamala okugamba Maliza nti: “Nze kuzuukira n’obulamu,” yazuukiza Laazaalo. Lowooza ku ssanyu Maliza lye yafuna!​—Yokaana 11:23-25.

Laazaalo yali ludda wa mu nnaku ennya ze yamala ng’afudde? Laazaalo talina kye yayogera ekyalaga nti yali alina w’ali nga mulamu mu nnaku ezo ennya. Teyalina mwoyo ogutafa, abamu gwe balowooza nti gugenda mu ggulu ng’omuntu afudde. Singa Laazaalo yali mu ggulu mu kifo eky’okwesiima, tekyandibadde kya bwenkanya Yesu kumuzuukiza n’amuzza wano ku nsi. Kati olwo Laazaalo yali ludda wa mu nnaku ezo ennya? Yali yeebase mu ntaana.​—Omubuulizi 9:5, 10.

Kijjukire nti Yesu yageraageranya okufa ku kwebaka, era n’okuzuukiza yakugeraageranya ku kuzuukusa omuntu eyeebase. Yesu yagamba nti: “‘Laazaalo mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋenda gy’ali mmuzuukuse.’ Abayigirizwa ne bamugamba nti: ‘Mukama waffe, bw’aba yeebase, ajja kuba bulungi.’ Naye Yesu yali ayogera ku kufa kwe, bo ne baalowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. Awo Yesu n’abagamba kaati nti: ‘Laazaalo afudde.’” (Yokaana 11:11-14) Yesu bwe yazuukiza Laazaalo, Laazaalo yaddawo nga bwe yali nga tannafa, era yaddamu okubeera n’abantu be. Abantu be bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo olw’ekyo Yesu kye yabakolera!

Yesu okuzuukiza abantu kyali kiraga ekyo ky’ajja okukola ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso ng’afuga mu Bwakabaka bwa Katonda. * Yesu bw’anaaba afuga ensi ng’asinziira mu ggulu, ajja kuzuukiza abo bonna abeebase mu ntaana. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Nze kuzuukira.” Lowooza ku ssanyu ly’ojja okuba nalyo ng’ozzeemu okulaba abantu bo abaafa! Ate era lowooza ku ssanyu abo abanaaba bazuukidde lye bajja okuba nalyo!​—Lukka 8:56.

Lowooza ku ssanyu ly’ojja okuba nalyo ng’ozzeemu okulaba abantu bo abaafa!

KIKULU OKUBA N’OKUKKIRIZA

Yesu yagamba Maliza nti: “Oyo anzikiriza ne bw’aliba ng’afudde, aliba mulamu; era buli muntu omulamu anzikiriza talifa.” (Yokaana 11:25, 26) Abo Yesu b’anaazuukiza mu bufuzi bwe obw’emyaka olukumi bwe banneeyongera okumukkiririzaamu, bajja kuba balamu emirembe gyonna.

“Oyo anzikiriza ne bw’aliba ng’afudde, aliba mulamu.”​—Yokaana 11:25

Oluvannyuma lw’okwogera ku kuzuukira, Yesu yabuuza Maliza nti: “‘Kino okikkiriza?’ N’amugamba nti: ‘Yee Mukama wange; nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda.’” (Yokaana 11:26, 27) Naawe wandyagadde okuba nga Maliza eyali akkiriza nti abafu bajja kuzuukira? Ky’olina okusookerako kwe kuyiga ebikwata ku Katonda. (Yokaana 17:3; 1 Timoseewo 2:4) Ekyo kijja kukusobozesa okuba n’okukkiriza. Oyinza okutuukirira Abajulirwa ba Yakuwa bakubuulire ebisingawo ebikwata ku kuzuukira. Bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku ssuubi ery’okuzuukira.

^ lup. 2 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Tebikomye!” ekiri ku lupapula 6 mu katabo kano.

^ lup. 9 Okumanya ebisingawo ebikwata ku kisuubizo kya Bayibuli eky’okuzuukira, laba essuula 7 mu katabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola okukafuna ne ku mukutu www.pr418.com.

[Ekifaananyi ekiri ku mpapula 14, 15]