Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Biki by’osaanidde okumanya ku Katonda?

Katonda mwoyo era talabika. Yatonda eggulu, ensi, n’ebintu byonna ebiramu. Tewali yatonda Katonda kubanga Katonda talina ntadikwa. (Zabbuli 90:2) Ayagala abantu bamanye amazima agamukwatako.​—Soma Ebikolwa 17:24-27.

Katonda wa ddala era alina n’erinnya. Tusobola okumanya ezimu ku ngeri ze nga twetegereza ebintu bye yatonda. (Abaruumi 1:20) Naye okusobola okumanya Katonda obulungi, kitwetaagisa okusoma Ekigambo kye, Bayibuli. Bayibuli etuyamba okumanya engeri za Katonda.​—Soma Zabbuli 103:7-10.

Katonda awulira atya bw’alaba obutali bwenkanya?

Omutonzi waffe, Yakuwa, akyayira ddala obutali bwenkanya. (Ekyamateeka 25:16) Yatonda abantu mu kifaananyi kye. Eyo ye nsonga lwaki tukyawa obutali bwenkanya. Katonda si y’aleeta okubonaabona okuliwo. Katonda yawa abantu eddembe ly’okwesalirawo. Eky’ennaku, abantu bangi bakozesa bubi eddembe eryo ne baleetera bannaabwe okubonaabona. Banakuwaza Yakuwa.​—Soma Olubereberye 6:5, 6; Ekyamateeka 32:4, 5.

Yakuwa ayagala obwenkanya, era tajja kutuleka kubonaabona mirembe gyonna. (Zabbuli 37:28, 29) Bayibuli essuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo okubonaabona kwonna.​—Soma 2 Peetero 3:7-9, 13.

Bayibui essuubiza nti Katonda anaatera okuggyawo obutali bwenkanya

 

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]