EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OMUNTU BW’AFA EBIBYE BIBA BIKOMYE?
Okufa
Okufa kuleeta ennaku etagambika, era abantu bangi tebaagala na kukwogerako. Wadde kiri kityo, ffenna tulina okwolekagana nakwo.
Tewali kye tuyinza kukola kusobola kweteekerateekera kufa kwa muzadde waffe, munnaffe mu bufumbo, oba omwana waffe, ka kibe nti afudde mbagirawo oba ng’alwalidde ebbanga ddene. Mu butuufu okufiirwa omuntu waffe kireetawo ennaku ya maanyi nnyo.
Antonio, eyafiirwa kitaawe mu kabenje agamba nti: “Kiba ng’omuntu okusiba ennyumba yo n’agenda n’ebisumuluzo, n’oba nga tokyasobola kugiyingiramu. Embeera eyo eba nzibu nnyo. Wadde nga kiyinza okukuzibuwalira okukikkiriza nti kikutuuseeko, oba tolina kya kukikolera.”
Dorothy, eyafuuka nnamwandu nga wa myaka 47, yasalawo okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali yeebuuza ku kufa. Ye ng’omusomesa w’eddiini, yali takitwala nti omuntu bw’afa ebibye biba bikomye. Naye yali tamanyi kituufu kyennyini. Lumu yabuuza omukulembeze w’ekkanisa ye nti: “Omuntu bw’afa aba mu mbeera ki?” Yamuddamu nti: “Tewali n’omu amanyi. Tulina kulinda bulinzi tulabe.”
Ddala tulina ‘kulinda bulinzi tulabe’? Waliwo engeri yonna gye tusobola okumanyamu obanga omuntu bw’afa ebibye biba bikomye?