BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
“Yakuwa Yali Tanneerabidde”
-
NNAZAALIBWA: 1922
-
ENSI: SPAIN
-
EBYAFAAYO: NNASOMESANGA KATEKIISIMU
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu kibuga Bilbao, mu bukiikakkono bwa Spain. Twazaalibwa abaana bana, era nze ow’okubiri. Ffenna awaka twali Bakatuliki abakuukuutivu, era nnagendanga mu Mmisa obutayosa. Ku myaka 23 egy’obukulu, nnafuuka omusomesa. Obusomesa nnali mbwagala nnyo era nnabumalamu emyaka 40 miramba. Nnasomesanga amasomo mangi, naye okusingira ddala nnanyumirwanga nnyo okusomesa eddiini y’Ekikatuliki, era akawungeezi nnasomesanga abaana abawala katekiisimu.
Nga nnaakamala emyaka 12 mu bufumbo, baze yafa, era yandekera abaana abawala bana. Nnali wa myaka 33 gyokka! Wadde nga nnasabanga obutayosa mu ddiini yange ey’Ekikatuliki, waaliwo ebibuuzo ebyali bimbobbya omutwe. Nneebuuzanga nti: ‘Bwe kiba nti Kristo yatununula, lwaki abantu bakyafa? Lwaki tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje bwe kiba nti abantu bonna bajja kugenda mu ggulu?’ N’ekisinga byonna: ‘Bwe kiba nti omuntu bw’afa agenda mu ggulu, mu puligaatooli, oba mu ggeyeena, lwaki Katonda alisala omusango ku lunaku olw’enkomerero?’
Nnabuuzaako abasasserodooti abatali bamu ebibuuzo ebyo. Omu ku bo yanziramu nti: “Simanyi. Genda obuuze bisopu. Lwaki obuuza ebibuuzo ng’ebyo? Okkiririza mu Katonda, si bwe kiri? Ebyo tobifaako!” Naye nneeyongera okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza. Nga wayiseewo ekiseera, nnagenda ne mpulirizaako Abakatuliki abasomesa abayitibwa Jesuits, nnawulirizaako Abalokole, n’abo abayitibwa Gnostics abagamba nti balina okumanya okw’enjawulo, naye era saafuna byakuddamu bimatiza.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Bwe nnali ntemera mu myaka 60, omu ku baana be nnali nsomesa ow’emyaka omusanvu yansaba ŋŋendeko mu lumu ku nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Bye nnalaba ne bye baali bayigiriza byansanyusa nnyo. Naye olw’okuba nnalina eby’okukola bingi mu kiseera ekyo, saasobola kweyongera kukuŋŋaana nabo. Nga wayiseewo emyaka ebiri, Abajulirwa ba Yakuwa babiri, Juan ne mukyala we Maite, bwe baali babuulira baatuuka ewange. Baatandika okunkyaliranga era okumala ebbanga lya myezi essatu nnababuuzanga ebibuuzo era
nga babiddamu, n’ekyavaamu baatandika okunjigiriza Bayibuli.Ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye banjigirizanga nnabinoonyerezangako bulungi, era nnakozesanga enkyusa za Bayibuli ssatu okukakasa obanga bituufu. Mu kaseera katono, nnazuula amazima. Nneewuunya nnyo okulaba nga bye nnali nzikiririzaamu bya njawulo nnyo ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli. Kyanzibuwalira nnyo okukyusa enzikiriza enkyamu ze nnalina kubanga zaali zaasimba amakanda.
Nnali nnaddamu okufumbirwa, naye omwami wange yalwala nnyo naye n’afa. Mu kiseera ekyo kyennyini we nnawummulira ku mulimu era ne nva mu kibuga Bilbao okumala ekiseera kitono. Juan ne Maite nabo baava mu kibuga ekyo. Eky’ennaku, nnalekera awo okuyiga Bayibuli. Wadde kyali kityo, nnali nkimanyi bulungi nti bye nnali njize bituufu. Nnali siyinza kubyerabira.
Nga wayiseewo emyaka nga 20, nga ndi wa myaka 82, Juan ne Maite baakomawo mu kibuga Bilbao, era bankyalirako. Nnabasanyukira nnyo! Nnakiraba nti Yakuwa yali tanneerabidde, era ne nziramu okuyiga Bayibuli. Juan ne Maite baali bagumiikiriza nnyo, kubanga nnababuuzanga ebibuuzo bye bimu enfunda n’enfunda. Kyali kinneetaagisa okuwulira enfunda n’enfunda ebyo Bayibuli by’eyigiriza okusobola okuleka enzikiriza ze nnalina ezaali enkyamu. Ate era nnali njagala amazima agali mu Bayibuli ngategeere bulungi, nsobole okugabuulirako mikwano gyange n’ab’eŋŋanda zange.
Nnabatizibwa nga ndi wa myaka 87 ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa, era olunaku olwo sirirwerabira. Ow’oluganda eyali aweereza ng’omukadde yakozesa Bayibuli okutunnyonnyola ebyandituyambye nnaddala ffe abaali bagenda okubatizibwa okunyweza okukkiriza kwaffe. Okwogera kwe kwankwatako nnyo n’amaziga ne gampitamu. Yakuwa yali ng’ayogera nange butereevu. Bwe nnamala okubatizibwa, Abajulirwa ba Yakuwa bangi bajja ne banjozaayoza, wadde ng’abasinga obungi ku bo baali tebammanyi!
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Nnali nkimanyi nti Yesu Kristo lye “kkubo.” (Yokaana 14:6) Naye bwe nnayiga Bayibuli nnategeera bulungi Yakuwa, oyo gwe tusaba nga tuyitira mu Yesu. Kati nsobola okusaba Katonda nga mmutwala nga Kitange era Mukwano gwange. Bwe nnasoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa * okukkiriza kwange kweyongera okunywera. Nnasooka kukasoma mu kiro kimu kyokka! Kyansanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa musaasizi nnyo.
Bwe ndowooza ku kiseera kye nnamala nga nnoonya amazima, ndaba nga Yesu kye yayogera kituufu. Yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.” (Matayo 7:7) Kinsanyusa nnyo okubuulirako abalala bye nnayiga.
Wadde nga kati ndi mu myaka 90 egy’obukulu, waliwo bingi ebikwata ku Yakuwa bye nkyayiga. Buli lwe ŋŋenda okusinza ku Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa nfuna essanyu lingi, kubanga njiga ebintu bingi ebirungi era baganda bange ne bannyinaze banzizaamu nnyo amaanyi. Nneesunga lwe nnaddamu okuba omusomesa mu lusuku Katonda lwe yasuubiza olujja okuba wano ku nsi. (Okubikkulirwa 21:3, 4) N’okusingira ddala nneesunga okulaba abantu bange abaafa nga bazuukidde era n’okubayigiriza ebikwata ku Katonda. (Ebikolwa 24:15) Ate era nneesunga okubabuulira ebirungi Katonda by’ankoledde mu myaka gyange egy’obukadde!
^ lup. 15 Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.