Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KIKULU OKUSABA KATONDA?

Lwaki Abantu Basaba?

Lwaki Abantu Basaba?

Otera okusaba? Abantu bangi basaba nga mw’otwalidde n’abamu ku abo abatakkiririza mu Katonda. Naye lwaki abantu basaba? Okunoonyereza okwakolebwa mu Bufalansa kwalaga nti abantu 50 ku buli kikumi oluusi basaba oba bafumiitiriza olw’okuba baagala “okufuna ku buweerero” so si lwa kuba nti bakkiririza mu Katonda. Ku luuyi olulala, abantu abamu abakkiririza mu Katonda bwe bafuna ebizibu lwe bajjukira okusaba Katonda nga basuubira nti ajja kubaddamu mu kiseera ekyo kyennyini.Isaaya 26:16.

Ate ggwe olowooza otya? Wandisabye olw’okuba oyagala bwagazi kufuna buweerero? Bw’oba okkiririza mu Katonda, okusaba kukuyamba mu bulamu bwo, oba muli owulira nti essaala zo teziddibwamu? Bayibuli eraga nti okusaba kutusobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, so si kufuna bufunyi buweerero.