Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Ddala ani afuga ensi?
Abantu bangi balowooza nti Katonda y’afuga ensi. Naye singa Katonda y’afuga ensi, wandibaddewo okubonaabona? (Ekyamateeka 32:4, 5) Bayibuli eraga nti omubi y’afuga ensi.
Kyajja kitya omubi okutandika okufuga ensi? Abantu bwe baali baakatondebwa, omu ku bamalayika yajeemera Katonda era n’aleetera n’abantu abo okujeema. (Olubereberye 3:1-6) Abantu abo baasalawo okugondera malayika oyo omujeemu ayitibwa Sitaani, bwe batyo ne bamufuula omufuzi waabwe. Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna y’agwanidde okuba omufuzi waffe, naye tatukaka kumugondera, wabula ayagala tukikole olw’okuba tumwagala. (Ekyamateeka 6:6; 30:16, 19) Eky’ennaku, abantu abasinga obungi basazeewo okujeemera obufuzi bwa Katonda ng’abantu abaasooka okutondebwa bwe baakola.
Ani anaagonjoola ebizibu by’abantu?
Katonda anaaleka Sitaani okufuga ensi emirembe gyonna? Nedda! Katonda ajja kukozesa Yesu okumalawo ebizibu Sitaani by’aleese.
Yesu ajja kukozesa amaanyi Katonda ge yamuwa, azikirize Sitaani. (Abaruumi 16:20) Oluvannyuma, Katonda ajja kufuga abantu bonna era abasobozese okuba mu bulamu obw’essanyu n’emirembe ng’ekigendererwa kye bwe kyali okuva ku ntandikwa.