Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Waliwo Amanyi Ebinaabaawo mu Biseera eby’Omu Maaso?

Waliwo Amanyi Ebinaabaawo mu Biseera eby’Omu Maaso?

Ffenna tulowooza ku biseera eby’omu maaso, era tutera okwebuuza obanga obulamu buliba bulungi mu biseera ebyo. Ate era twebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Abaana bange balibeera mu bulamu bwa ngeri ki? Ddala ensi eneezikirizibwa? Waliwo kye nnyinza okukola okusobola okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso?’ Twebuuza ebibuuzo ng’ebyo olw’okuba twagala wabeewo emirembe n’obutebenkevu. Bw’omanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, osobola okubyeteekerateekera.

Ggwe olowooza ebiseera byo eby’omu maaso binaaba bitya? Waliwo omuntu yenna ayinza okukubuulira? Bangi bagezaako okuteebereza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ebimu ku bye bateebereza bituukirira naye ebisinga obungi tebituukirira. Naye Katonda asobola okutubuulira ebyo byennyini ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Ekigambo kye kigamba nti: “Alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n’ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby’edda.” (Isaaya 46:10) Tuyinza tutya okukakasa nti Katonda by’ayogera bituukirira?

KATONDA BY’AYOGERA BITUUKIRIRA?

Lwaki osaanidde okumanya obanga ebyo Katonda bye yalagula mu biseera eby’edda byatuukirira? Lowooza ku kyokulabirako kino: Abo abateebereza embeera y’obudde bwe baba nga bye bateebereza bulijjo bituukirira, bwe bagamba nti enkya enkuba ejja kutonnya, toyinza kubuusabuusa. Mu ngeri y’emu, bw’okimanya nti Katonda bye yayogera byatuukirira, ojja kwagala okumanya ebyo bye yagamba nti bijja kubaawo mu biseera eby’omu maaso.

Bbugwe w’ekibuga Nineeve eyaddamu okuzimbibwa

EKIBUGA EKY’AMAANYI KYAZIKIRIZIBWA:

Kiyinza okukwewuunyisa singa omuntu akugamba nti ekibuga ekibadde eky’amaanyi ennyo okumala ebyasa bingi kigenda kuzikirizibwa, era ne kituukirira. Ng’ayitira mu omu ku bannabbi be, Katonda yagamba nti ekibuga Nineeve kyandizikiriziddwa. (Zeffaniya 2:13-15) Ebyafaayo biraga ki ku nsonga eno? Mu kyasa eky’omusanvu ng’embala eno tennatandika, era nga wayise emyaka nga 15 bukya Katonda ayogera nti ekibuga Nineeve kyandizikiriziddwa, Abababulooni n’Abameedi baalumba ekibuga ekyo ne bakizikiriza. Ate era, Katonda yagamba nti ekibuga ekyo ‘kyandifuuse matongo era ekikalu ng’eddungu.’ Ebigambo ebyo byatuukirira? Yee. Wadde ng’ekibuga ekyo kyali kiweza yiika nga 128,000, abaakiwamba tebaakibeeramu, wabula baakizikiririza ddala. Waliwo omuntu yenna eyandisobodde okuteebereza ebyo byonna ebyatuuka ku kibuga Nineeve?

AMAGUMBA G’ABANTU GALYOKEBWA:

Waliwo omuntu yenna asobola okulagula ekintu ekinaabaawo emyaka 300 mu maaso ne kituukirira? Omuntu ng’oyo bw’abaayo buli omu aba ayagala okumumanya. Nnabbi wa Katonda yagamba nti: ‘Mu nnyumba ya Dawudi mulizaalibwamu omwana ow’obulenzi ayitibwa Yosiya, . . .  era ajja kwokera amagumba g’abantu’ ku kyoto mu kabuga Beseri. (1 Bassekabaka 13:1, 2, NW) Nga wayiseewo emyaka 300, Kabaka Yosiya yazaalibwa mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. Nga bwe kyalagulwa, Yosiya yatuma abantu ne ‘baggya amagumba mu malaalo n’agookera ku kyoto’ ekyali mu kabuga Beseri. (2 Bassekabaka 23:14-16) Ani ayinza okulagula ekintu ng’ekyo ne kituukirira, okuggyako ng’alina omwoyo gwa Katonda omutukuvu?

Bannabbi ba Katonda baalagula nti Babulooni kyandizikiriziddwa era ekyo kyatuukirira

OBWAKABAKA BWAZIKIRIZIBWA:

Tekyandikwewuunyisizza nnyo singa omuntu akubuulira erinnya lya kabaka alizikiriza obwakabaka kirimaanyi, era n’engeri gy’alibuzikirizaamu kyokka nga kabaka oyo tannaba na kuzaalibwa? Katonda yagamba nti omusajja ayitibwa Kuulo yandizikirizza obwakabaka bwa Babulooni. Ate era, Kuulo yandikkirizza Abayudaaya okuddayo mu nsi yaabwe baddemu okuzimba yeekaalu ya Katonda. Katonda era yagamba nti Kuulo yandiwugudde amazzi g’omugga n’asobola okutuuka ku bbugwe w’ekibuga Babulooni era nti n’enzigi z’ekibuga ekyo zandisangiddwa nga nzigule ne kimwanguyira okukiwamba. (Isaaya 44:27–45:2) Ebyo byonna Katonda bye yayogera by’atuukirira? Bannabyafaayo bakikakasa nti Kuulo yawamba obwakabaka bwa Babulooni. Kuulo awamu n’eggye lye baawugula amazzi g’omugga ne gakendeera, ne bayingira mu kibuga nga bayita mu miryango egyalekebwa nga miggule ku olwo. Bwe yamala okuwamba obwakabaka obwo, Kuulo yakkiriza Abayudaaya okuddayo mu nsi yaabwe baddemu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Ekyo kyewuunyisa kubanga Kuulo yali tasinza Katonda w’Abayudaaya. (Ezera 1:1-3) Waliwo omuntu yenna eyandisobodde okuteebereza ebintu ebyo byonna ne bituukirira?

Twetegerezza obunnabbi bwa mirundi esatu Katonda bwe yayogera ne butuukirira. Obwo si bwe bunnabbi bwokka obuli mu Bayibuli obwatuukirira. Yoswa eyali akulembera Abaisiraeri yabagamba nti: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo ekitatuuse.” (Yoswa 23:1, 2, 14) Lwaki Katonda by’ayogera bituukirira? Kubanga Katonda talemererwa. Kikulu nnyo okutegeera ensonga eyo kubanga waliwo obunnabbi obuli mu Kigambo kya Katonda obujja okutuukirizibwa mu kiseera ekitali kya wala, era nga naawe bukukwatako.

OBUNNABBI BWA KATONDA N’EBYO ABANTU BYE BATEEBEREZA

Ebiseera ebisinga, abantu bateebereza nga basinziira ku ebyo bannasayansi bye bazudde, ne ku ebyo ebizze bibaawo. Ate abamu bagamba nti balina amaanyi ag’enjawulo ge bakozesa. Abantu bwe bamala okuteebereza, balindirira bulindirizi balabe obanga ebyo bye bateeberezza binaatuukirira.Engero 27:1.

Okwawukana ku bantu, Katonda amanyi buli kimu. Amanyi abantu bye balowooza, era bw’aba ayagadde asobola n’okumanya bye banaakola mu biseera eby’omu maaso. Ng’oggyeko ekyo, Katonda asobola n’okukola kyonna ekiba kyetaagisa okukakasa nti bye yayogera bituukirira. Agamba nti: “Ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, . . . era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.” (Isaaya 55:11) Mu ngeri endala tuyinza okugamba nti mu bunnabbi obumu, Katonda aba atutegeeza butegeeza ebyo by’agenda okukola mu biseera eby’omu maaso. Atuukiriza byonna by’aba ayogedde.

EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO

Waliwo asobola okukubuulira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Singa omanya nti mu kitundu kyammwe wagenda kugwaawo akatyabaga, obaako ky’okolawo mu bwangu okutaasa obulamu bwo. Bw’otyo bw’osaanidde okukola bwe kituuka ku bunnabbi bwa Bayibuli. Katonda atutegeeza nti wanaatera okubaawo enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. (Laba ebiri wansi w’omutwe: “Katonda Atubuulira Ebinaabaawo mu Biseera eby’Omu Maaso.”) Ebinaabaawo bijja kuba bya njawulo nnyo ku ebyo abantu bangi bye bateebereza.

Bayibuli erimu obunnabbi obutuukirizibwa leero n’obwo obujja okutuukirizibwa mu biseera eby’omu maaso. Bw’onoogisoma ojja kumanya ebyo ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Katonda agamba nti: “Alanga enkomerero okuva ku lubereberye, . . . ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna.” (Isaaya 46:10) Ggwe n’abomu maka go musobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Saba Abajulirwa ba Yakuwa bakuyambe okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli obunaatera okutuukirizibwa. Abajulirwa ba Yakuwa tebakitwala nti balina amaanyi ag’enjawulo agabasobozesa okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Beekenneenya Ebyawandiikibwa era basobola okukulaga ebintu ebirungi Katonda by’ajja okukolera abantu bonna mu biseera eby’omu maaso.