KOPPA OKUKKIRIZA KWABWE | MALIYAMU
Yagumira Ennaku ey’Amaanyi
MALIYAMU yafukamira wansi ng’awulira ennaku etagambika. Mutabani we yali yaakafa oluvannyuma lw’okubonyabonyezebwa ennyo. Enzikiza yakwata okuva ku ssaawa mukaaga, era Yesu bwe yafa waaliwo musisi ow’amaanyi. (Matayo 27:45, 51) Ebyo ebyaliwo biteekwa okuba nga byaleetera Maliyamu n’abantu abalala okukiraba nti Yakuwa ye yali asinze okulumwa olw’okufa kwa Yesu Kristo.
Oluvannyuma obudde bwatandika okutangaala e Gologoosa, oba mu Kifo eky’Ekiwanga, era Maliyamu yakaaba nnyo olw’okufiirwa mutabani we. (Yokaana 19:17, 25) Maliyamu ayinza okuba nga yajjukira ebigambo Simyoni omuweereza wa Katonda bye yamugamba emyaka nga 33 emabega, ye ne Yusufu bwe baali batutte omwana waabwe mu yeekaalu e Yerusaalemi. Simyoni yalagula ku Yesu ebintu ebirungi bingi, naye era yagattako nti lumu Maliyamu yandiwulidde obulumi bungi ng’ali ng’afumitiddwa ekitala ekiwanvu. (Lukka 2:25-35) Yesu bwe yafa, Maliyamu yakiraba nti ebigambo ebyo byali bituukiridde.
Kigambibwa nti tewali kisinga kuleetera muzadde bulumi ng’okufiirwa omwana we. Okufa mulabe wa maanyi, era ffenna tulumwa nnyo bwe tufiirwa omuntu waffe. (Abaruumi 5:12; 1 Abakkolinso 15:26) Ddala kisoboka okugumira obulumi obwo? Ka twetegereze ebyaliwo mu bulamu bwa Maliyamu okuva Yesu lwe yatandika obuweereza bwe okutuuka lwe yattibwa era n’ebyo ebyaliwo oluvannyuma, tulabe ebyayamba Maliyamu okuba n’okukkiriza okwamusobozesa okugumira ennaku ey’amaanyi.
“KYONNA KY’ABAGAMBA OKUKOLA MUKIKOLE”
Ka tusooke tulabe ebyaliwo emyaka esatu n’ekitundu emabega nga Yesu tannattibwa. Mu kabuga Nazaaleesi, abantu bangi baali boogera ku bubaka obw’okwenenya Yokaana Omubatiza bwe yali abuulira. Maliyamu yamanya nti waali wagenda kubaawo enkyukakyuka ey’amaanyi mu maka ge. Ayinza okuba yakiraba nti mutabani we omukulu bwe yawulira obubaka obwo yamanya nti ekiseera kyali kituuse atandike obuweereza bwe. (Matayo 3:1, 13) Yesu bwe yandivudde awaka, Maliyamu n’abaana be abalala obulamu tebwandibabeeredde bwangu. Lwaki?
Kirabika mu kiseera ekyo Yusufu bba wa Maliyamu yali amaze okufa. Bwe kiba bwe kityo, Maliyamu yandyeyongedde okunakuwala nga Yesu avudde awaka. * Mu kiseera ekyo, Yesu abamu baali bamuyita ‘omwana w’omubazzi,’ ate ng’abalala bamuyita ‘omubazzi.’ Ekyo kiraga nti, ayinza okuba nga ye yasigala addukanya bizineesi ya kitaawe era nga ye yali alabirira bato be abaali batakka wansi wa mukaaga, awamu ne nnyina. (Matayo 13:55, 56; Makko 6:3) Yesu ne bw’aba nga yali ayigiriza Yakobo okubajja, ng’ono ayinza okuba nga ye mwana omulenzi eyali amuddako, Yesu okuva awaka kyandireseewo eddibu lya maanyi. Maliyamu eyalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi yandiwulidde atya nga mutabani we omukulu avudde awaka asobole okutandika obuweereza bwe? Tetuyinza kumanya. Naye ate yandiwulidde atya nga Yesu ow’e Nazaaleesi afuuse Kristo, oba Masiya eyasuubizibwa? Bayibuli etuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.
Yesu yagenda eri Yokaana Omubatiza n’abatizibwa, bw’atyo n’afuuka Masiya, ekitegeeza oyo Katonda gwe yafukako amafuta. (Lukka 3:21, 22) Oluvannyuma yatandika okubuulira era n’afuna abayigirizwa. Wadde ng’omulimu gwe ogw’okubuulira gwali gwetaaga okukolebwa mu bwangu, yafunangayo akadde n’asanyukako n’ab’eŋŋanda ze era ne mikwano gye. Yagenda ku mbaga ey’obugole eyali e Kaana ng’ali wamu n’abayigirizwa be, maama we, ne baganda be. Akabuga ako kaali keesudde mayiro nga munaana okuva e Nazaaleesi. Embaga bwe yali egenda mu maaso, Maliyamu yakitegeerako nti omwenge gwali guweddewo era kirabika abaali babakyazizza baali batandise okweraliikirira. Mu mpisa z’Abayudaaya ab’omu kiseera ekyo, ekintu ng’ekyo kyandiraze nti abagenyi tebalabiriddwa bulungi era kyandyonoonye omukolo. Maliyamu yabakwatirwa ekisa.
Yagamba Yesu nti: “Tebalina mwenge.” Yali amusuubira kukola ki? Oboolyawo Maliyamu yali alowooza nti ekiseera kyali kituuse Yesu atandike okukola ebyamagero. Mu ngeri endala, yali ng’amugamba nti: “Mutabani, baako ky’okolawo.” Yesu kye yamuddamu kirina okuba nga kyamwewuunyisa nnyo. Yamugamba nti: “Ekyo kinkwatako kitya?” Ebigambo ebyo tebiraga nti Yesu teyawa nnyina kitiibwa ng’abamu bwe balowooza, wabula yali amuwabula buwabuzi mu ngeri ey’obukakkamu. Yali ajjukiza nnyina nti Yakuwa Katonda ye yalina okumuwa obulagirizi ku ngeri gye yalina okutuukirizaamu obuweereza bwe.
Olw’okuba Maliyamu yali mukyala muwombeefu, teyanyiigira mutabani we. Yagamba abo abaali baweereza ku mukolo ogwo nti: “Kyonna ky’abagamba okukola mukikole.” Yakiraba nti ekiseera kyali kituuse ye n’abantu abalala be baba bawuliriza mutabani we. Okufaananako nnyina, Yesu naye bannannyini mukolo yabakwatirwa ekisa. Yafuula amazzi omwenge era ng’ekyo kye kyamagero kye yasooka okukola. Biki ebyavaamu? ‘Abayigirizwa be baamukkiririzaamu,’ era ne Maliyamu naye yamukkiririzaamu. Yali takyamutwala nga mutabani we kyokka, naye era nga Mukama we era Omulokozi we.
Waliwo ebintu bingi abazadde bye basobola okuyigira ku Maliyamu. Kyo kituufu nti tewali muzadde yali akuzizzaako mwana alinga Yesu. Naye omwana yenna bw’akula, muzadde we ne yeeyongera okumuyisa ng’omwana omuto, wayinza okubaawo obutakkaanya. (1 Abakkolinso 13:11) Kati olwo omuzadde ayinza atya okuyamba omwana we akuze? Emu ku ngeri gy’ayinza okukikolamu kwe kugamba omwana we nti amwesiga era nti bw’aneeyongera okukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza, Yakuwa Katonda ajja kumuwa emikisa. Ebigambo ng’ebyo biyamba nnyo omwana akuze. Yesu ateekwa okuba nga yasiima nnyo engeri Maliyamu gye yamuwagiramu mu myaka egyaddirira.
“BAGANDA BE BAALI TEBAMUKKIRIRIZAAMU”
Bayibuli teyogera nnyo ku Maliyamu mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu Yesu kye yamala ng’abuulira. Maliyamu ateekwa okuba nga mu kiseera ekyo yali nnamwandu, era ng’oboolyawo akyalina abaana ab’okulabirira. N’olwekyo, ayinza okuba nga teyasobolanga kugenda buli wamu Yesu gye yagendanga okubuulira. (1 Timoseewo 5:8) Wadde kyali kityo, Maliyamu yeeyongera okufumiitiriza ku bintu bye yali ayize ku Masiya era yeeyongera okugenda mu kkuŋŋaaniro okusinza.
Kiyinzika okuba nti Maliyamu y’omu ku abo abali bawuliriza Yesu ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro ery’e Nazaaleesi. Ku olwo, Yesu yasoma obunnabbi obwali bukwata ku Masiya era n’agamba nti obunnabbi obwo bwali butuukiridde ku ye. Ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Maliyamu. Kyokka, Maliyamu ayinza okuba nga yanakuwala nnyo bwe yalaba ng’abantu b’omu Nazaaleesi tebakkiririza mu Yesu. Mu butuufu, baagezaako n’okumutta!
Ate era ekirala ekyamunakuwaza kwe kuba nti batabani be abalala abana nabo baali tebakkiririza mu Yesu. Yokaana 7:5 wagamba nti: “Baganda be baali tebamukkiririzaamu.” Bo bannyina ba Yesu abaali batakka wansi w’ababiri Bayibuli tetubuulira obanga baamukkiririzaamu oba tebaamukkiririzaamu. * Maliyamu yategeera embeera ebaawo mu maka agatali bumu mu kukkiriza. Yalina okufuba okusigala nga mwesigwa eri Katonda ate nga mu kiseera kye kimu ayamba abaana be okukkiririza mu Yesu.
Lumu ab’eŋŋanda za Yesu, kirabika nga mw’otwalidde ne baganda be, baagenda gye yali ayigiririza ‘bamukwate’ nga bagamba nti: “Atabuse omutwe.” (Makko 3:21, 31) Ye Maliyamu yali tamutwala bw’atyo, naye yagenda ne batabani be oboolyawo ng’asuubira nti waliwo bye bandiyize ne batandika okukkiririza mu Yesu. Waliwo kyonna kye baayiga? Wadde nga Yesu yakola ebyamagero bingi era nga yayigirizanga amazima agakwata ku Katonda, baganda be tebaamukkiririzaamu. Maliyamu ayinza okuba yeebuuzanga ekyandiyambye batabani be okukkiririza mu Yesu.
Amaka mw’obeera tegali bumu mu kukkiriza? Waliwo ky’osobola okuyigira ku Maliyamu. Teyalekera awo kuyamba ba ŋŋanda ze abataali bakkiriza. Mu kifo ky’ekyo, yabateerawo ekyokulabirako ekirungi basobole okukiraba nti okuweereza Katonda kireeta essanyu n’emirembe mu mutima. Ku luuyi olulala, yasigala awagira Yesu. Kyandiba nti ng’omuzadde muli yawuliranga nti Yesu yandisigadde awaka n’abeera wamu nabo? Maliyamu yakiraba nti yali nkizo ya maanyi okuwagira Yesu mu buweereza bwe. Naawe osobola okuyamba abaana bo okukulembeza Katonda by’ayagala mu bulamu bwabwe?
“EKITALA EKIWANVU KIRIKUYITAMU”
Abo abooleka okukkiriza Yakuwa abawa empeera. (Abebbulaniya 11:6) Era ne Maliyamu yafuna emikisa mingi olw’okukkiririza mu Yesu. Lowooza ku ssanyu Maliyamu lye yafunanga buli lwe yalabanga mutabani we ng’ayigiriza oba abantu abalala bwe baayogeranga ku ebyo Yesu bye yayigirizanga.
Maliyamu bwe yawuliranga engero Yesu ze yakozesanga ng’ayigiriza abantu, ateekwa okuba yajjukiranga ebyo Yesu bye yayiga ng’akyali muto e Nazaaleesi. Yesu bwe yayogera ku mukazi ayera ennyumba ye ng’anoonya akasente ke akaabula, asa ku lubengo, oba akoleeza ettaala n’agissa ku kikondo kyayo, Maliyamu alina okuba nga yajjukira nti Yesu yamulabanga ng’akola ebintu ebyo. (Lukka 11:33; 15:8, 9; 17:35) Yesu bwe yagamba nti ekikoligo kye kyangu era nti n’omugugu gwe si muzito, Maliyamu ayinza okuba yajjukira ebiseera Yusufu we yayigiririzanga Yesu engeri y’okukolamu ekikoligo ekitalumya nsolo. (Matayo 11:30) Awatali kubuusabuusa, Maliyamu yawuliranga essanyu buli lwe yalowoozanga ku nkizo ey’ekitalo Yakuwa gye yamuwa ey’okukuza n’okutendeka omwana eyandifuuse Masiya. Ate era ateekwa okuba nga yawuliranga essanyu buli lwe yawulirizanga Yesu, omuyigiriza omukulu eyayigirizanga ng’akozesa ebyokulabirako abantu bonna bye baali bamanyi.
Wadde kyali kityo, Maliyamu yasigala muwombeefu. Wadde yalina omwana ow’enjawulo bw’atyo, tekyamuleetera kufuna malala oba okwagala okutenderezebwa abantu. Yesu bwe yali abuulira, waliwo omukazi eyayogerera waggulu ng’agamba nti omukazi eyazaala Yesu ateekwa okuba nga musanyufu nnyo. Naye Yesu yagamba nti: “Nedda, abalina essanyu beebo abawulira Ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!” (Lukka 11:27, 28) Era abantu abamu bwe baagamba Yesu nti nnyina ne baganda be bamunoonya, yagamba nti abo abamukkiririzaamu b’atwala nga bamaama be ne baganda be. Maliyamu teyanyiigira Yesu. Yakitegeera nti oluganda olw’eby’omwoyo lusinga olw’omubiri.
Kyokka Maliyamu ateekwa okuba nga yalumwa nnyo bwe yalaba ng’omwana we afiira ku muti kwe baamukomerera. Yokaana, omu ku batume ba Yesu abaaliwo ku lunaku olwo yawandiika nti Maliyamu yali ayimiridde ‘okumpi n’omuti kwe baali bakomeredde Yesu.’ Maliyamu teyayabulira mwana we ne ku ssaawa esembayo. Wadde nga Yesu yali mu bulumi bwa maanyi nnyo mu kiseera ekyo, yeewaliriza n’ayogera. Yagamba omutume Yokaana okulabirira Maliyamu. Okuva bwe kiri nti baganda ba Yesu baali tebannatandika kumukkiririzaamu, obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Maliyamu teyabubakwasa, wabula yabukwasa omutume we omwesigwa era gwe yali ayagala ennyo. Bwe kityo Yesu yalaga nti kikulu nnyo omuntu okulabirira abantu be, naddala okubalabirira mu by’omwoyo.
Oluvannyuma Yesu bwe yafa, Maliyamu yalumwa nnyo nga Simyoni omuweereza wa Katonda bwe yamugamba; yawulira ng’afumitiddwa ekitala. Naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu zokka, Maliyamu yafuna essanyu eritagambika bwe yakitegeera nti Yesu yali azuukidde era nti yali alabikidde ne muganda we Yakobo. (1 Abakkolinso 15:7) Ekyo kyakwata nnyo ku Yakobo ne ku baganda ba Yesu abalala. Ebyawandiikibwa biraga nti oluvannyuma bakkiriza nti Yesu ye Kristo, era baatandika okugendanga ne maama waabwe mu kkuŋŋaaniro, “ne banyiikiriranga okusaba.” (Ebikolwa 1:14) Babiri ku bo, Yakobo ne Yuda, baawandiika ebimu ku bitabo ebiri mu Bayibuli.
Maliyamu asembayo okwogerwako mu Bayibuli ng’agenze ne batabani be okusinza. Nga Maliyamu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Olw’okukkiriza kwe, yagumira ennaku n’afuna emikisa mingi. Bwe tunaamukoppa, naffe tujja kusobola okugumira ebizibu bye tufuna, era Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi nnyo.
^ lup. 8 Yusufu yakoma okwogerwako mu bitabo bya Bayibuli eby’Enjiri nga Yesu wa myaka 12 gyokka. Oluvannyuma, Maliyamu n’abaana be abalala be bokka aboogerwako. Lumu Yesu yayitibwa “mutabani wa Maliyamu” so si mutabani wa Yusufu.
^ lup. 16 Wadde nga Yusufu si ye yali Kitaawe wa Yesu owa ddala, abaana be yazaala mu Maliyamu tuyinza okubayita baganda ba Yesu ne bannyina.