Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | WALIWO AMANYI EBINAABAAWO MU MAASO?

Ebisinga Obungi Tebituukirira

Ebisinga Obungi Tebituukirira

Wandyagadde okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Abantu bangi baagala nnyo okubimanya. Waliwo abazze bateebereza ebinaabaawo, naye ebisinga obungi tebituukirira. Lowooza ku byokulabirako bino:

  • BANNASAYANSI bakozesa ebyuma eby’omulembe era basaasaanya ssente nnyingi okusobola okuteebereza ebintu ebitali bimu, gamba ng’embeera y’obudde oba akabi akayinza okuva mu kwonoona obutonde.

  • ABAKUGU AB’ENJAWULO bateebereza enkyukakyuka eziyinza okubaawo mu by’obusuubuzi ne mu by’obufuzi. Warren Buffett, omu ku basuubuzi abasinga obugagga mu nsi yonna, abamu bamuyita nnabbi olw’okuba bingi ku ebyo by’ateebereza ku by’obusuubuzi bituukirira. Ate ye Nate Silver, ateebereza ebintu bingi nga mw’otwalidde enkyukakyuka ezinaabaawo mu by’obufuzi by’Amerika, n’omuzannyi wa firimu anaasinga banne.

  • EBIWANDIIKO EBY’EDDA bangi balowooza nti birimu obunnabbi. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi bakitwala nti ebiwandiiko bya Michel de Notredame eyaliwo mu kyasa 16 birimu obunnabbi obutuukirira mu kiseera kino. Abantu abamu baali bagamba nti enkomerero yandizze nga Ddesemba 21, 2012, kalenda y’Abamaya we yandiggweereddeko.

  • ABAKULEMBEZE B’AMADIINI oluusi bateebereza ebintu ebinaabaawo basobole okulabula abantu oba okufuna abagoberezi. Ng’ekyokulabirako, Harold Camping eyeeyita nnabbi awamu n’abagoberezi be baalangirira nti ensi yandizikiriziddwa mu 2011, naye ensi ekyaliwo.

  • ABALAGUZI bagamba nti balina obusobozi obw’enjawulo obw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Edgar Cayce ne Jeane Dixon balina ebintu bye baalagula nti byandibaddewo mu kyasa 20. Wadde ng’ebimu ku byo byatuukirira, ebisinga obungi tebyatuukirira. Ng’ekyokulabirako, Dixon yalagula nti wandibaddewo Ssematalo III mu 1958, ate ye Cayce n’alagula nti mu myaka gya 1970, amataba gandisaanyizzaawo ekibuga New York.

Ddala waliwo asobola okutubuulira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Kikulu okwebuuza ekibuuzo ekyo kubanga bw’omanya ebinaabaawo ojja kusobola okusalawo obulungi mu bulamu.