Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Katonda Akufaako?

Katonda Akufaako?

‘Nze ndi mwavu, nneetaaga Mukama andowoozeeko.’ZABBULI 40:17; KABAKA DAWUDI OWA ISIRAERI EY’EDDA.

“Amawanga galinga ettondo ly’amazzi eriri mu kalobo.”ISAAYA 40:15, NW

Kyali kya magezi Kabaka Dawudi okulowooza nti Yakuwa * Katonda yandimufuddeko? Katonda akufaako? Abantu bangi tebakikkiriza nti Katonda omuyinza w’ebintu byonna abafaako. Lwaki?

Emu ku nsonga eri nti Katonda wa waggulu nnyo ku bantu. Eri Katonda amawanga gonna “galinga ettondo ly’amazzi eriri mu kalobo, era ng’olufufugge oluli ku minzaani.” (Isaaya 40:15, NW) Omuwandiisi w’ebitabo omu atakkiririza mu Katonda yagamba nti “tekiba kya magezi kulowooza nti eriyo Katonda afaayo ku by’okola.”

Ku luuyi olulala, abantu abamu balowooza nti Katonda tabafaako olw’engeri gye beeyisaamu. Ng’ekyokulabirako, omwami omu ayitibwa Jim yagamba nti: “Nnasabanga Katonda annyambe okufuga obusungu mbeere omuntu ow’emirembe, naye waayitangawo ekiseera kitono ne nziramu okusunguwala. Nnalowooza nti ndi mubi nnyo era nti Katonda tasobola kunnyamba.”

Ddala Katonda atuli wala nnyo ne kiba nti tatufaako? Katonda awulira atya bw’atutunuulira ffe abantu abatatuukiridde? Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, Katonda atukakasa nti atufaako era nti “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Mu bitundu ebina ebiddirira, tugenda kulaba obukakafu obulaga nti Katonda afaayo ku bantu kinnoomu era nti naawe akufaako.

^ lup. 4 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.