Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Katonda Asobola Okukubudaabuda

Katonda Asobola Okukubudaabuda

“Katonda abudaabuda abo abaweddemu amaanyi, yatubudaabuda.”2 ABAKKOLINSO 7:6.

‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’ABAGGALATIYA 2:20

ENSONGA LWAKI ABAMU BAKIBUUSABUUSA: Abantu abamu ne bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi, baba bawulira nga tekyetaagisa kusaba Katonda abayambe. Omukyala omu ayitibwa Raquel yagamba nti: “Bwe ndowooza ku bantu abangi ennyo abasaba Katonda olw’ebizibu eby’amaanyi bye balina, nze mba ndaba ng’ebyange bitono nnyo era nga tekinneetaagisa kusaba Katonda.”

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Katonda yakola dda enteekateeka ey’okuyamba abantu n’okubabudaabuda. Buli muntu ali ku nsi yasikira ekibi era ng’ekibi ekyo kitulemesa okukola mu bujjuvu Katonda by’ayagala. Wadde kiri kityo, Katonda “yatwagala n’atuma Omwana we [Yesu Kristo] okuba ssaddaaka ey’ebibi byaffe etutabaganya ne Katonda.” (1 Yokaana 4:10) Okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, Katonda atusonyiwa ebibi byaffe, tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. * Naye ssaddaaka eyo Katonda yagiwa buwi bantu bonna, oba eraga nti atufaako kinnoomu?

Lowooza ku mutume Pawulo. Yakwatibwako nnyo olwa ssaddaaka ya Yesu n’atuuka n’okugamba nti: “Obulamu bwe nnina mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.” (Abaggalatiya 2:20) Wadde nga Yesu we yafiira Pawulo yali tannafuuka Mukristaayo, ssaddaaka ya Yesu Pawulo yagitwala ng’ekirabo Katonda kye yali amuwadde.

Naawe oli omu ku abo Katonda be yawa ekirabo ekya ssaddaaka ya Yesu Kristo, era ekyo kiraga nti oli wa muwendo nnyo gy’ali. Kisobola okukuwa “okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi” ne weeyongera okukola ‘buli kikolwa ekirungi na buli kigambo ekirungi.’—2 Abassessaloniika 2:16, 17.

Kyokka, kati wayiseewo emyaka nga 2000 bukya Yesu awaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Bukakafu ki obulaga nti leero Katonda akutwala nti oli wa muwendo nnyo gy’ali?

^ lup. 5 Okumanya ebisingawo ebikwata ku ssaddaaka ya Yesu, laba essuula 5 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa abajulirwa ba Yakuwa.