Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amateeka Katonda ge Yawa Abaisiraeri Gaali ga Bwenkanya?

Amateeka Katonda ge Yawa Abaisiraeri Gaali ga Bwenkanya?

GYE buvuddeko, kooti emu mu Bulaaya yakkiriza obujulizi obwaweebwa ku basajja babiri abaali bavunaanibwa ogw’obutemu era n’ebasalira ekibonerezo eky’okuttibwa. Bwe kyazuulibwa nti obujulizi bwali bwa bulimba, balooya baakola kyonna ekisoboka ne bataasa obulamu bw’omu ku basajja abo. Naye baali tebakyasobola kutaasa munne kubanga yali amaze okuttibwa.

Okuva bwe kiri nti obutali bwenkanya busobola okubaawo mu kkooti z’amateeka, Bayibuli egamba nti: “Fubanga okwoleka obwenkanya.” (Ekyamateeka 16:20, NW) Abalamuzi bwe baba abenkanya, abantu baganyulwa. Katonda yawa Abaisiraeri ab’edda amateeka agakwata ku nsala y’emisango agaali geesigamiziddwa ku bwenkanya. Ka twekenneenye amateeka ago tulabe obanga ddala “amakubo [ga Katonda] gonna ga bwenkanya.”—Ekyamateeka 32:4, NW.

ABALAMUZI ‘AB’AMAGEZI, ABATEGEEVU, ERA ABALINA OBUMANYIRIVU’

Abantu baganyulwa nnyo singa abalamuzi baba n’obumanyirivu, nga benkanya, n’ekisinga byonna, nga tebalya nguzi. Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri galaga nti yali ayagala abalamuzi ng’abo. Abaisiraeri bwe baali baakatuuka mu ddungu, Katonda yagamba Musa okulonda “abasajja abasaana, abatya Katonda, ab’amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu” baweereze ng’abalamuzi. (Okuva 18:21, 22) Nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Katonda yaddamu okukiggumiza nti yali ayagala ‘abasajja ab’amagezi, abategeevu, era [abalina obumanyirivu],’ be baba balamula abantu be.—Ekyamateeka 1:13-17.

Nga wayiseewo emyaka egiwera, Kabaka Yekosafaati * owa Yuda yakubiriza abalamuzi nti: “Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango. Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi.” (2 Ebyomumirembe 19:6, 7) Bwe kityo, kabaka yajjukiza abalamuzi nti bwe batandisaze misango mu bwenkanya olw’obusosoze n’omululu, Katonda yandibavunaanye.

Abalamuzi Abaisiraeri bwe baakoleranga ku mitindo gya Katonda egyo, abantu baawuliranga emirembe n’obukuumi. Amateeka ga Katonda era gaalimu emisingi egyayambanga abalamuzi okusala emisango mu bwenkanya ne bwe gyabanga emizibu ennyo. Ka tulabe egimu ku misingi egyo.

EMISINGI EGYABAYAMBANGA OKULAMULA MU BWENKANYA

Wadde ng’abalamuzi abaalondebwanga baabanga ba magezi era nga balina obumanyirivu, tebaalamulanga nga basinziira ku busobozi bwabwe. Yakuwa yabawa emisingi oba obulagirizi obwabayambanga okulamula obulungi. Buno bwe bumu ku bulagirizi obwo.

Munoonyereze bulungi. Okuyitira mu Musa, Katonda yagamba abalamuzi Abaisiraeri nti: “Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy’ensonga omuntu ne muganda we.” (Ekyamateeka 1:16) Abalamuzi tebasobola kusala  musango mu bwenkanya nga tebasoose kunoonyereza bulungi. N’olw’ensonga eyo, Katonda yalagira abalamuzi nti: “Onookeberanga n’onoonya n’obuuliriza.” Abalamuzi bwe baabanga tebannasala musango, baalinanga okusooka okukakasa nti omusango ogwo gwaziddwa.—Ekyamateeka 13:14; 17:4.

Muwulirize abajulizi babiri oba basatu. Obujulizi bwabanga bukulu nnyo mu kunoonyereza ebikwata ku musango. Amateeka ga Katonda gaagamba nti: “Omujulizi omu taalumirizenga muntu olw’ensobi yonna oba olw’ekibi kyonna omuntu ky’anaabanga akoze. Ensonga eneekakasibwanga nga waliwo obujulizi bwa bantu babiri oba basatu.” (Ekyamateeka 19:15, NW) Ate abajulizi Katonda yabalagira nti: “Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n’abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow’obulimba.”Okuva 23:1.

Mukubirize abajulizi okwogera amazima. Omujulizi eyawanga obujulizi obw’obulimba yabonerezebwanga. Amateeka gaali gagamba nti: “Abalamuzi banaakemerezanga nnyo: era, laba, omujulirwa oyo bw’abanga omujulirwa ow’obulimba, era ng’awaayirizza muganda we; kale munaamukoleranga nga bw’abadde alowooza okukola muganda we: bw’otyo bw’onoggyangawo obubi wakati wo.” (Ekyamateeka 19:18, 19) N’olwekyo omuntu bwe yalimbanga abalamuzi ng’ayagala okutwala ekintu kya munne, yaweebwanga ekibonerezo eky’okusasula ekintu ekyenkana n’ekyo kye yabanga ayagala okutwala. Bwe yawanga obujulizi obw’obulimba ng’ayagala munne attibwe, omujulizi ow’obulimba ye yattibwanga. Ekyo kyakubirizanga abajulizi okwogera amazima.

Musale emisango mu bwenkanya. Abalamuzi bwe baamalanga okufuna obujulizi bwonna, baabwekenneenyanga ne balyoka basala omusango. Ku nsonga eno, amateeka ga Katonda gaabajjukizanga ekintu kino ekikulu ennyo: “Teweekubiiranga ku ludda lwa mwavu oba lwa mugagga. Osaliranga munno  omusango mu bwenkanya. (Eby’Abaleevi 19:15, NW) Abalamuzi baalinanga okusala emisango mu bwenkanya, so si nga basinziira ku ndabika y’omuntu oba ekifo ky’alina.

Emisingi egyo egiri mu mateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri edda ennyo gikyakola ne leero. Abalamuzi bwe bagikolerako, beewala okusala emisango mu ngeri eteri ya bwenkanya.

Abalamuzi bwe bakolera ku misingi egiri mu mateeka ga Katonda, beewala okusala emisango mu ngeri eteri ya bwenkanya

EGGWANGA ERYAGANYULWA MU MATEEKA GA KATONDA AG’OBWENKANYA

Musa yabuuza Abaisiraeri nti: “Ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n’emisango egy’ensonga ng’amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?” (Ekyamateeka 4:8) Mu butuufu tewaaliwo ggwanga ddala lyalina mateeka ng’ago. Kabaka Sulemaani bwe yali akyakolera ku mateeka ga Katonda, abo be yali afuga ‘baali mu mirembe’ era baali ‘balya, nga banywa, nga basanyuka.’1 Bassekabaka 4:20, 25.

Eky’ennaku, ekiseera bwe kyayitawo Abaisiraeri baalekera awo okukolera ku mateeka ga Katonda. Ng’ayitira mu nnabbi Yeremiya, Katonda yagamba nti: “Laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo?” (Yeremiya 8:9) N’ekyavaamu, Yerusaalemi kyafuuka “ekibuga eky’omusaayi” era ekikolerwamu ebintu ‘byonna eby’omuzizo.’ Oluvannyuma kyazikirizibwa era ne kisigala matongo okumala emyaka 70.Ezeekyeri 22:2; Yeremiya 25:11.

Nnabbi Isaaya eyaliwo mu kiseera Abaisiraeri we baakoleranga ku mateeka ga Katonda ne mu kiseera we baagaviirako, yagamba nti: ‘[Amateeka] go bwe gabeera ku nsi, ababeera ku nsi lwe bayiga obutuukirivu.’Isaaya 26:9.

Nnabbi Isaaya ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yaluŋŋamizibwa okwogera obunnabbi obukwata ku bufuzi bwa Masiya, Yesu Kristo. Yagamba nti: “Taasalenga misango ng’okulaba kw’amaaso ge bwe kunaabanga, so taanenyenga ng’okuwulira kw’amatu ge bwe kunaabanga; naye anaasaliranga omwavu emisango [mu bwenkanya], era anaanenyanga n’obutuukirivu olw’abawombeefu abali ku nsi.” (Isaaya 11:3, 4) Abo bonna abasalawo okugondera Obwakabaka bwa Katonda nga bajja kufuna essanyu lingi mu kiseera ekyo!Matayo 6:10.

^ par. 6 Erinnya Yekosafaati litegeeza nti “Yakuwa ye Mulamuzi.”