Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Syriac Peshitta—Emu ku Bayibuli Ezaasooka Okuvvuunulwa

Syriac Peshitta—Emu ku Bayibuli Ezaasooka Okuvvuunulwa

Mu 1892, abalongo Agnes Smith Lewis ne Margaret Dunlop Gibson baatindigga olugendo lwa nnaku mwenda nga bakozesa eŋŋamira. Baayita mu ddungu ne bagenda mu kigo ekiyitibwa St. Catherine ekiri okumpi n’Olusozi Sinaayi. Lwaki abakazi abo abaali batemera mu myaka 40 egy’obukulu baasalawo okutindigga olugendo olwo wadde nga kyali kya bulabe nnyo okuyita mu ddungu eryo? Eky’okuddamu kijja kwongera okukukakasa nti ddala ebiri mu Bayibuli bituufu.

Agnes Smith Lewis n’ekigo kya St. Catherine

YESU bwe yali anaatera okuddayo mu ggulu, yagamba abayigirizwa be okubuulira ebimukwatako “mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Ebikolwa 1:8) Ekyo abayigirizwa be baakikola n’obunyiikivu era n’obuvumu. Kyokka ekyo kyabaviirako okuyigganyizibwa ennyo mu Yerusaalemi era Siteefano n’attibwa. Abayigirizwa ba Yesu bangi baddukira mu kibuga Antiyokiya eky’omu Busuuli, ekyali kyesudde mayiro nga 350 e bukiikakkono wa Yerusaalemi, era nga kye kimu ku bibuga ebyali bisinga obunene mu ttwale ly’Abaruumi.Ebikolwa 11:19.

Abayigirizwa beeyongera okubuulira “amawulire amalungi” agakwata ku Yesu mu Antiyokiya, era abantu bangi abataali Bayudaaya ne bafuuka bakkiriza. (Ebikolwa 11:20, 21) Wadde ng’Oluyonaani lwe lwali lusinga okwogerwa mu kibuga Antiyokiya, Olusuuli lwe lwali lusinga okwogerwa mu bitundu ebyali biriraanyeewo.

AMAWULIRE AMALUNGI GAVVUUNULWA MU LUSUULI

Abakristaayo aboogera Olusuuli bwe baagenda beeyongera, wajjawo obwetaavu bw’okuvvuunula amawulire amalungi mu lulimi lwabwe. N’olwekyo kirabika ebitabo ebimu eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani [Endagaano Empya] byasooka kuvvuunulwa mu Lusuuli, so si mu Lulattini.

 Awo nga mu mwaka gwa 170 E.E., * omuwandiisi Omusuuli ayitibwa Tatian (eyaliwo nga mu 120-173 E.E.) yavvuunula ebitabo by’Enjiri ebina, mu Luyonaani oba mu Lusuuli, n’abikolamu ekitabo kimu ekiyitibwa Diatessaron. Ekigambo ekyo kya Luyonaani era kitegeeza “okuva mu [bitabo by’Enjiri] bina.” Oluvannyuma, Ephraem Omusuuli (eyaliwo nga mu 310-373 E.E.) yawandiika ebikwata ku kitabo ekiyitibwa Diatessaron, era ekyo kiraga nti Abakristaayo abaali boogera Olusuuli baakozesanga ekitabo ekyo.

Naffe twetaaga okumanya ebikwata ku kitabo ekyo. Lwaki? Mu kyasa ekya 19, abawandiisi b’ebitabo abamu baali bagamba nti ebitabo by’Enjiri byawandiikibwa luvannyuma nnyo mu kyasa eky’okubiri, wakati w’omwaka gwa 130 E.E. ne 170 E.E., era nti ebyo bye byogera ku Yesu si bituufu. Kyokka, ebiwandiiko bya Diatessaron ebizuuliddwa bikakasa nti ekyasa eky’okubiri we kyatuukira mu makkati, abantu bangi baali baafuna dda ebitabo by’Enjiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana. Ekyo kitegeeza nti ebitabo by’Enjiri ebyo byali byamala dda okuwandiikibwa. Okugatta ku ekyo, Tatian bwe yali avvuunula ekitabo ekiyitibwa Diatessaron, yasinga kukozesa ebitabo by’Enjiri ebyo ebina ebikkirizibwa. Ekyo kitegeeza nti ebitabo ebirala byonna ebiyitibwa eby’enjiri byali tebitwalibwa ng’ebituufu.

Syriac Peshitta y’emu ku nkyusa za Bayibuli ezisinga obukadde era ezaasinga okubunyisibwa

Ekyasa eky’okutaano we kyatandikira, waaliwo Bayibuli eyali evvuunuddwa mu lulimi Olusuuli eyali ekozesebwa ennyo mu bukiikakkono bwa Mesopotamiya. Yavvuunulwa awo nga mu kyasa eky’okubiri oba eky’okusatu E.E., yalimu ebitabo bya Bayibuli ebirala byonna ng’oggyeeko 2 Peteero, 2 Yokaana, 3 Yokaana, Yuda, ne Okubikkulirwa. Bayibuli eyo eyitibwa Peshitta, ekitegeeza nti “Nyangu okutegeera” oba “Etegeerekeka bulungi.” Peshitta y’emu ku nkyusa za Bayibuli ezisinga obukadde era ezaasinga okubunyisibwa.

Ekimu ku biwandiiko bya Bayibuli eyo kiriko omwaka 459/460 E.E., era ekyo kye kiwandiiko ekikyasinze obukadde mu biwandiiko bya Bayibuli ebiriko emyaka mwe baabiwandiikira. Awo nga mu mwaka gwa 508 E.E., Bayibuli eyo eyitibwa Peshitta yaddamu okuvvuunulwa era n’eyongerwamu ebitabo ebitaano ebyali bibulamu. Bayibuli eyo oluvannyuma yatuumibwa Philoxenian Version.

EBIWANDIIKO BYA BAYIBULI EBIRALA EBY’OLUSUULI BIZUULIBWA

Okutuukira ddala mu kyasa 19, Bayibuli ez’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani [Endagaano Empya] eziri mu Luyonaani ezaaliwo mu kiseera ekyo zaali zaawandiikibwa mu kyasa kyakutaano n’okudda waggulu. N’olwekyo abakugu mu kwekenneenya ebiwandiiko eby’edda baali baagala nnyo okusoma enkyusa za Bayibuli gamba nga Latin Vulgate ne Syriac Peshitta ezavvuunulwa ng’ekyasa eky’okutaano tekinnatandika. Mu kiseera ekyo, abamu baali balowooza nti waaliyo Bayibuli y’Olusuuli eyasinziirwako okuvvuunula Bayibuli eyitibwa Peshitta. Naye tewaaliwo Bayibuli ya Lusuuli nkadde kusinga Peshitta yali emanyiddwa mu kiseera ekyo. Okuva bwe kiri nti Bayibuli y’Olusuuli eyitibwa Peshitta yavvuunulwa mu kyasa eky’okubiri, yandiyambye nnyo abakugu mu kunoonyereza ebikwata ku Bayibuli. Eriyo ebiwandiiko bya Bayibuli ebirala eby’Olusuuli ebyavumbulwa?

Ekiwandiiko ekiyitibwa Sinaitic Syriac. Awasonze akasaale bye bigambo by’Enjiri ebyasooka okuwandiikibwamu

Yee, waliwo ebiwandiiko bibiri ebyavumbulwa. Ekisooka kya mu kyasa eky’okutaano. Kye kimu ku biwandiiko ebingi eby’Olusuuli ebyatwalibwa mu tterekero ly’ebintu eby’edda eriyitibwa British Museum mu 1842, era nga kyaggibwa Misiri mu kigo ekiri mu ddungu eriyitibwa Nitrian Desert. Ekiwandiiko ekyo kiyitibwa Curetonian Syriac kubanga kyazuulibwa William Cureton, eyali omuyambi w’omukuumi w’ebiwandiiko eby’edda mu tterekero eryo. Ekiwandiiko ekyo kirimu Enjiri ya Matayo, Makko, Yokaana, ne Lukka, era zaasengekebwa nga bwe ziwandiikiddwa wano.

Ekiwandiiko eky’okubiri ekyavumbulwa kikyaliwo ne leero era kiyitibwa Sinaitic Syriac. Kigambibwa nti abakazi ababiri abalongo aboogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino be baakizuula. Wadde nga mu kiseera ekyo Agnes teyalina diguli, yayiga ennimi munaana, nga mw’otwalidde n’Olusuuli. Mu 1892, Agnes yavumbula ekiwandiiko eky’omugaso ennyo mu kigo ekiyitibwa St. Catherine e Misiri.

 Ekiwandiiko ekyo eky’Olusuuli yakisanga mu kasenge akamu akali mu kigo ekyo. Yagamba nti ‘kyali kigubye nnyo, ate ng’empapula zaakyo zeekwata wamu olw’okuba kyali kimaze ebyasa n’ebyasa nga tekibikkulwa.’ Ebigambo ebyasooka okuwandiikibwamu byali byasangulwamu nga mwawandiikibwamu ebigambo ebirala eby’Olusuuli ebikwata ku bakazi abatukuvu. Wadde kyali kityo, Agnes bwe yakibikkula yalaba ebimu ku bigambo ebyasooka okuwandiikibwamu ebitaasanguka bulungi nga kw’otadde n’ebigambo “ya Matayo,” “ya Makko” oba “ya Lukka.” Ekiwandiiko ekyo kyalimu kumpi ebitabo byonna ebina eby’Enjiri ebyawandiikibwa mu Lusuuli! Abakugu mu kwekenneenya ebiwandiiko eby’edda kati bagamba nti ekiwandiiko ekyo kyawandiikibwa ku nkomerero y’ekyasa eky’okuna.

Ekiwandiiko ekiyitibwa Sinaitic Syriac kye kimu ku biwandiiko bya Bayibuli eby’omugaso ennyo ebyazuulibwa, nga kw’otadde n’ebiwandiiko ebirala eby’Oluyonaani ebiyitibwa Codex Sinaiticus ne Codex Vaticanus. Abakugu bangi bagamba nti Curetonian ne Sinaitic ze kopi ezikyaliwo ez’ebiwandiiko by’Enjiri eby’Olusuuli ebikyasinze obukadde ebyawandiikibwa ku nkomerero y’ekyasa eky’okubiri oba ku ntandikwa y’ekyasa eky’okusatu.

‘EKIGAMBO KYA KATONDA WAFFE KIBEERAWO ENNAKU ZONNA’

Ebiwandiiko ebyo bisobola okuyamba abantu abaagala okutegeera obubaka obuli mu Bayibuli leero? Awatali kubuusabuusa! Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo ebifundikira Enjiri ya Makko, era nga mu Bayibuli ezimu bitandikira ku Makko 16:9. Ebigambo ebyo bisangibwa mu kiwandiiko ky’Oluyonaani ekiyitibwa Codex Alexandrinus eky’omu kyasa eky’okutaano, mu Bayibuli eyitibwa Latin Vulgate, ne mu biwandiiko ebirala. Kyokka mu biwandiiko ebibiri eby’Oluyonaani ebisinga okwesigika eby’omu kyasa eky’okuna, Codex Sinaiticus ne Codex Vaticanus, Enjiri ya Makko ekoma ku ssuula 16, olunyiriri 8. Ekiwandiiko ekiyitibwa Sinaitic Syriac nakyo kikoma ku Makko 16:8, ekyongera okukakasa nti ennyiriri endala (9-20) tezaalimu mu Njiri ya Makko, wabula zaayongerwamu bwongerwa luvannyuma.

Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Kumpi Bayibuli zonna ezaaliwo mu kyasa ekya 19, zaayongerwamu ebigambo mu 1 Yokaana 5:7 ebiwagira enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu. Naye mu biwandiiko bya Bayibuli eby’Oluyonaani ebisingayo obukadde, ebigambo ebyo tebiriimu. Ate era tebisangibwa mu Peshitta, ekyo ne kikakasa nti byayongerwamu bwongerwa abantu abaalina ebigendererwa ebikyamu.

Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa Katonda akuumye Ekigambo kye nga bwe yasuubiza. Bayibuli egamba nti: “Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera: naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.” (Isaaya 40:8; 1 Peetero 1:25) Enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Peshitta y’emu ku ezo eziyambye ennyo mu kubunyisa obubaka obuli mu Bayibuli.

^ par. 7 E.E, kitegeeza “Embala Eno.”