Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Lwaki abantu bangi bakkiriza nti Katonda gyali?
Emyaka nga 3,000 egiyise, omuwandiisi omu owa Bayibuli yagamba nti: ‘Nnakolebwa mu ngeri ey’ekitalo.’ (Zabbuli 139:14) Tekikwewuunyisa nnyo bw’olowooza ku ngeri omwana gy’akulamu okuviira ddala ng’akyali mu lubuto lwa nnyina? Abantu bangi bakkiriza nti wateekwa okubaawo Katonda eyatonda ebintu byonna ebiramu.
Oyo eyatonda ensi mu ngeri esobozesa ebintu ebiramu okugibeerako, era ye yatonda ebintu byonna ebiramu. (Zabbuli 36:9) Atutegeeza ebimukwatako.
Ddala abantu baava mu nsolo?
Engeri emibiri gyaffe gye gyatondebwamu efaananako n’engeri ensolo gye zaatondebwamu. Ekyo kiri bwe kityo kubanga abantu baatondebwa kubeera ku nsi era n’ensolo bwe zityo. Omuntu eyasooka, Katonda teyamutonda kuva mu nsolo wabula yamutonda mu nfuufu.—Soma Olubereberye 1:24; 2:7.
Abantu ba njawulo ku nsolo mu ngeri bbiri enkulu. Engeri esooka, abantu balina obusozi bw’okumanya Omutonzi waabwe, okumwagala, n’okumuwa ekitiibwa. Engeri ey’okubiri, ensolo tezaatondebwa kubeerawo mirembe gyonna, naye bo abantu baatondebwa okubeerawo emirembe gyonna. Naye kati abantu bonna bafa olw’okuba omuntu eyasooka yajeemera Katonda.