Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Lwaki Tusaanidde Okusoma Bayibuli?

Lwaki Tusaanidde Okusoma Bayibuli?

Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyaamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Brian asisinkanye omwami ayitibwa Eric.

BAYIBULI ERIMU EBYAFAAYO EBITUUFU

Brian: Gyebaleko ssebo.

Eric: Kale ssebo, naawe gyebaleko.

Brian: Kale. Nze Brian era ndi Mujulirwa wa Yakuwa. Ate ggwe ani?

Eric: Nze Eric. Naye bw’oba ogenda kwogera ku bya ddiini, nze sibigenderako nnyo.

Brian: Weebale kuba mwesimbu. Wakulira mu maka agaagala eby’eddiini?

Eric: Yee. Naye bwe nnagenda ku yunivasite, eby’eddiini ne mbivaako.

Brian: Ooh! Masomo ki ge wasoma ku yunivasite?

Eric: Nnasoma ku mbeera z’abantu n’ebyafaayo. Njagala nnyo okuyiga ku byafaayo by’abantu, n’engeri gye bazze bakulaakulanamu.

Brian: Kirungi nnyo okuyiga ku byafaayo. Ne Bayibuli erimu ebyafaayo, wali osomyeko ku byafaayo ebiri mu Bayibuli?

Eric: Nedda. Bayibuli kitabo kirungi, naye sirowooza nti erimu ebyafaayo ebituufu.

Brian: Kirungi okuba ng’okkiriza nti Bayibuli kitabo kirungi. Bw’oba olinawo akadde, nnandyagadde okukulaga ebimu ku ebyo ebiri mu Bayibuli ebikakasa nti ebyafaayo ebigirimu bituufu.

Eric: Osobola okundaga. Naye sirina Bayibuli.

Brian: Tofaayo. Ka tukozese eyange. Ekisooka kiri wano mu 1 Ebyomumirembe essuula 29, olunyiriri 26 ne 27. Wagamba nti: “Dawudi mutabani wa Yese yafuga Isiraeri yenna. N’ebiro bye yafugira Isiraeri byali emyaka amakumi ana; yafugira emyaka musanvu e Kebbulooni, era yafugira emyaka asatu mu esatu mu Yerusaalemi.”

Eric: Nkakasa ntya nti ebyo by’osomye bituufu?

Brian: Abantu abamu abawakanya ebiri mu Bayibuli baali bagamba nti Kabaka Dawudi teyaliiyo.

Eric: Lwaki baali bagamba bwe batyo?

Brian: Kubanga baali balowooza nti tewali bukakafu bumala obulaga nti Kabaka Dawudi yaliyo. Naye mu 1993, abanoonyereza ku bintu eby’edda baavumbula ejjinja ery’edda ennyo eririko ebigambo ebivvuunulwa nti, “Ennyumba ya Dawudi.”

Eric: Ekyo kyewuunyisa.

Brian: Ate era baali bagamba nti ne Pontiyo Piraato ayogerwako mu Bayibuli, eyali gavana mu kiseera kya Yesu teyaliiyo. Ayogerwako wano mu Lukka essuula 3, olunyiriri 1, ng’omu ku bafuzi abaaliwo ku kiseera ekyo.

Eric: Wagamba nti: ‘Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana w’e Buyudaaya, Kerode ye yali ow’essaza ly’e Ggaliraaya.’

Brian: Weebale nnyo. Okumala emyaka mingi, abantu abamu baali babuusabuusa obanga Pontiyo Piraato yaliyo. Naye emyaka nga 50 egiyise, waliwo ejjinja eryazuulibwa mu Buwalabu eryayolebwako erinnya lye.

Eric: Ekyo mbadde sikiwulirangako.

Brian: Bayibuli erimu ebyafaayo ebirala bingi.

Eric: Bayibuli ngitwala nga kitabo kirungi era ebyafaayo ebigirimu biyinza okuba ebituufu, naye sirowooza nti esobola okutuganyula leero.

BAYIBULI YAWANDIIKIBWA DDA NAYE EKYALI YA MUGASO

Brian: Abantu bangi balowooza bwe batyo. Naye nze nnina endowooza ya njawulo, kubanga ebyetaago by’abantu tebikyukanga. Ng’ekyokulabirako, okuva edda n’edda abantu beetaaga emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Abantu baagala okuba n’enkolagana ennungi ne bannaabwe era baagala okuba n’amaka agalimu essanyu. Ebintu ebyo bikulu nnyo gye tuli. Si bwe kiri?

Eric: Bwe kiri.

Brian: Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, esobola okutuyamba mu mbeera zonna ez’obulamu.

Eric: Mu ngeri ki?

Brian: Erimu amagezi agasobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente, okufuna essanyu mu maka, n’okukolagana obulungi n’abalala. Ndowooza okkiriziganya nange nti ennaku zino abaami tekibabeerera kyangu kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe mu maka.

Wadde nga Bayibuli yawandiikibwa dda nnyo, esobola okutuyamba mu mbeera zonna ez’obulamu

Eric: Nzikiriziganya naawe. Nze ne mukyala wange tunaatera okuweza omwaka gumu mu bufumbo, naye oluusi tetukkiriziganya ku nsonga ezimu.

Brian: Bayibuli esobola okubayamba. Ng’ekyokulabirako, laba amagezi agali mu Abeefeso essuula 5, olunyiriri 22, 23, ne 28. Nkusaba osome ennyiriri ezo.

Eric: Zigamba nti: “Abakazi bagonderenga abaami baabwe nga bwe bagondera Mukama waffe, kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekibiina, era nga ye mulokozi w’omubiri guno.” Olunyiriri 28 lugamba nti: “N’abaami bwe batyo kibagwanidde okwagalanga bakazi baabwe nga bwe baagala emibiri gyabwe. Oyo ayagala mukazi we yeeyagala yekka.”

Brian: Weebale nnyo. Olowooza singa omwami n’omukyala bakolera ku magezi ago, basobola okufuna essanyu mu maka?

Eric: Ndowooza kisoboka. Naye si kyangu.

Brian: Oli mutuufu, kubanga ffenna tetutuukiridde. Mu butuufu, Bayibuli era etukubiriza obutaba bakakanyavu. * Omwami n’omukyala buli omu asaanidde obutaba mukakanyavu. Nze ne mukyala wange amagezi ago gatuyambye nnyo.

Eric: Amagezi ago malungi nnyo.

Brian: Abajulirwa ba Yakuwa balina omukutu gwa Intaneeti oguliko amagezi amalungi agakwata ku bufumbo ne ku bulamu bw’amaka. Bw’oba okyalinawo akadde, nnandyagadde okukulaga agamu ku magezi ago.

Eric: Nkyalinawo akadde.

Brian: Eno ye ndagiriro ekutwala ku mukutu gwaffe, www.pr418.com/lg. Wano we watandikirwa.

Eric: Ebifaananyi ebiriko nga birabika bulungi!

Brian: Biraga omulimu gw’okubuulira gwe tukola mu nsi yonna. Mu kitundu kino “Ebitabo,” mubaamu magazini empya n’ebitabo ebirala ebikwata ku nsonga ezitali zimu nga mw’otwalidde n’obufumbo. Ng’ekyokulabirako, ka tulabe ebimu ku ebyo ebiri mu katabo Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! Erimu ku masomo agali mu katabo kano lirina omutwe ogugamba nti, “Amaka Gammwe Gayinza Gatya Okubaamu Essanyu?”

Eric: Ensonga eyo nkulu nnyo. Nnandyagadde okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.

Brian: Essomo lino lyogera ku bintu ebiwerako ebisobola okuyamba abafumbo okufuna essanyu. Weetegereze akatundu akali wansi w’ekibuuzo 2. Nkusaba osome sentensi ebbiri ezisembayo mu katundu ako.

Eric: Zigamba nti: “Abaami n’abakyala basaanidde okwagalana n’okuwaŋŋana ekitiibwa. Okuva bwe kiri nti abaami n’abakyala tebatuukiridde, kikulu nnyo okusonyiwagana okusobola okuba abasanyufu mu bufumbo bwabwe.”

Brian: Weebale kusoma bulungi. Abeefeso 5:33 kye kimu ku byawandiikibwa ebiri mu katundu kano. Nkusaba osome ekyawandiikibwa ekyo.

Eric: Kigamba nti: “Buli omu ku mmwe ayagale mukazi we nga bwe yeeyagala, omukazi naye asseemu nnyo bbaawe ekitiibwa.”

Brian: Weetegerezza nti buli omu alina okubaako ky’akolawo okusobola okufuna ky’ayagala?

Eric: Awo sikutegedde.

Brian: Omwami ayagala mukyala we amusseemu ekitiibwa, n’omukyala ayagala omwami we amwagale nnyo, si bwe kiri?

Eric: Bwe kiri.

Brian: Omwami bw’akola ebintu ebiraga nti ayagala nnyo mukyala we, mukyala we kimwanguyira okumussaamu ekitiibwa.

Eric: Nzikiriziganya naawe.

Brian: Wadde ng’olunyiriri lwe tusomye lwawandiikibwa emyaka nga 2,000 egiyise, abafumbo bwe bakolera ku magezi ago basobola okuba abasanyufu.

Eric: Kati nkakasizza nti ne mu kiseera kino Bayibuli esobola okutuganyula.

Brian: Ekyo kirungi Eric. Ku mulundi omulala nnandyagadde tukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo 3 ekigamba nti “Mwandyawukanye singa obufumbo bwammwe tebubaamu ssanyu?” ekiri mu ssomo lye limu ku mukutu gwaffe. *

Eric: Nneesunga okuddamu okukusisinkana. Nze ne mukyala wange tujja kugendako ku mukutu ogwo.

Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda oba ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

^ lup. 60 Okumanya ebisingawo, laba essuula 14 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.