Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | YESU ATULOKOLA—OKUVA MU KI?

Omukolo gw’Okujjukira Okufa kwa Yesu—Gunaabaawo Ddi era Wa?

Omukolo gw’Okujjukira Okufa kwa Yesu—Gunaabaawo Ddi era Wa?

Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yalagira abayigirizwa be okujjukiranga ssaddaaka gye yali anaatera okuwaayo. Yabagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.”Lukka 22:19.

Omwaka guno, omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu gujja kubaawo ku Lwokutaano, Apuli 3, ng’ejuba emaze okugwa. Abajulirwa ba Yakuwa bakwaniriza ggwe n’ab’omu maka go okubeerawo ku mukolo guno. Tujja kunnyonnyolwa ensonga lwaki okufa kwa Yesu kwa mugaso nnyo gye tuli era n’engeri gye tuyinza okukuganyulwamu.