Onooganyulwa Otya mu Kufa kwa Yesu n’Okuzuukira Kwe?
“Kkiriza Mukama waffe Yesu, ojja kulokolebwa.”
Ebigambo ebyo byayogerwa Pawulo ne Siira nga babigamba omukuumi w’ekkomera mu kibuga Firipi eky’e Makedoni. Ebigambo ebyo bitegeeza ki? Okusobola okutegeera akakwate akaliwo wakati w’okukkiririza mu Yesu n’okulokolebwa okuva mu kufa, tulina okusooka okumanya ensonga lwaki tufa. Lowooza ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza.
Abantu tebaatondebwa nga ba kufa
“Mukama Katonda n’atwala omuntu, n’amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga. Mukama Katonda n’alagira omuntu n’amugamba nti Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.”
—Olubereberye 2:15-17.
Katonda bwe yatonda Adamu, yamuteeka mu lusuku Adeni olwali lulabika obulungi nga lulimu ebisolo n’emiti ebirabika obulungi. Mwalimu emiti egibala ebibala Adamu bye yali asobola okulya nga bw’ayagala. Naye, waaliwo omuti gumu Yakuwa Katonda gwe yagaana Adamu okulyako era n’amulabula nti bwe yandiguliddeeko, yandifudde.
Adamu yategeera bulungi ekiragiro ekyo? Yakitegeera bulungi olw’okuba yali alabye ensolo nga zifa. Singa Katonda yali atonze Adamu nga wa kufa, ekiragiro ekyo tekyandibadde na makulu. Adamu yakitegeera nti singa agondera Katonda n’atalya ku muti ogwo, yandibadde mulamu emirembe gyonna, teyandifudde.
Abamu bagamba nti ekibala ky’omuti ogwo kyali kikiikirira omusajja n’omukazi okwegatta, naye ekyo si kituufu. Kijjukire nti Yakuwa yali ayagala Adamu ne mukyala we, Kaawa, ‘bazaale baale bajjuze ensi.’ (Olubereberye 1:28, NW) N’olwekyo, ekiragiro ekyo kyali kikwata ku muti gwennyini. Yakuwa yaguyita “omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi” kubanga gwali gulaga nti Yakuwa y’agwanidde okusalirawo abantu ekituufu n’ekikyamu. Singa Adamu yasalawo obutalya ku muti ogwo, ekyo kyandiraze nti agondera Omutonzi we era nti asiima emikisa emingi gye yali amuwadde.
Adamu yafa kubanga yajeemera Katonda
‘[Katonda] yagamba Adamu nti: Kubanga olidde ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti togulyangako: mu ntuuyo ez’omu maaso go mw’onooliiranga emmere, okutuusa lw’olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda.’
—Olubereberye 3:17, 19.
Adamu yalya ku muti Katonda gwe yali amugaanye, era ekyo kyali kikolwa kya bujeemu. Ekyo kyalaga nti teyasiima birungi Yakuwa bye yali amukoledde. Ate era Adamu bwe yalya ku muti ogwo, yakiraga nti yali agaanye obufuzi bwa Yakuwa, era ekyo kyavaamu ebizibu bingi.
Nga Yakuwa bwe yagamba, Adamu yamala n’afa. Katonda yali yakola Adamu ‘mu nfuufu y’ensi’ era yamugamba nti ‘yandizze mu nfuufu.’ Adamu teyeeyongera kuba mulamu oluvannyuma lw’okufa era talina kifo kirala kyonna kye yagendamu. Bwe yafa yali takyalina bulamu ng’enfuufu mwe yali yatondebwa bw’eteba na bulamu.
Tufa olw’okuba twava mu Adamu
“Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”
—Abaruumi 5:12.
Obujeemu bwa Adamu oba ekibi kye yakola, kyavaamu ebizibu bingi nnyo. Adamu yafiirwa essuubi ery’okubeera omulamu emirembe gyonna. Ate era, Adamu bwe yayonoona yafuuka atatuukiridde.
Olw’okuba ffenna twava mu Adamu, twasikira obutali butuukirivu mu mibiri gyaffe, era ekyo kituviirako okwonoona n’okufa. Omutume Pawulo yannyonnyola embeera gye tulimu. Yagamba nti: ‘Nnatundibwa mu kibi. Nze nga ndi muntu munaku! Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?’ Pawulo kennyini yaddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!”
Yesu yatufiirira tusobole okuba abalamu emirembe gyonna
“Kitaffe yatuma Omwana we ng’Omulokozi w’ensi.”
—1 Yokaana 4:14.
1 Peetero 2:22) Olw’okuba yali atuukiridde, yali tasobola kufa; yali asobola okuba omulamu emirembe gyonna.
Yakuwa Katonda yakola enteekateeka ey’okuggyawo ekibi n’okutulokola okuva mu kufa. Nteekateeka ki? Yatuma Omwana we gw’ayagala ennyo okuva mu ggulu n’ajja ku nsi n’azaalibwa ng’omuntu atuukiridde, nga Adamu bwe yali. Naye obutafaananako Adamu, Yesu “talina kibi kye yakola.” (Kyokka, Yakuwa yaleka Yesu attibwe abalabe be. Nga wayiseewo ennaku ssatu, Yakuwa yazuukiza Yesu ng’ekitonde eky’omwoyo. Oluvannyuma Yesu yaddayo mu ggulu n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye okusobola okuzzaawo ekyo Adamu ne bazzukulu be kye baali baafiirwa. Yakuwa yakkiriza ssaddaaka eyo ne kiba nti buli akkiririza mu Yesu asobola okufuna obulamu obutaggwaawo.
Mu ngeri eyo, Yesu yazzaawo ekyo Adamu kye yali atufiirizza. Yatufiirira tusobole okuba abalamu emirembe gyonna. Bayibuli egamba nti: “Yesu . . . yafa asobole okulega ku kufa ku lwa buli muntu olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso.”
Ssaddaaka eyo erina bingi by’etuyigiriza ku Yakuwa. Olw’okuba abantu abatatuukiridde baali tebasobola kutuuka ku mutindo gwa Yakuwa ogw’obwenkanya, baali tebasobola kwenunula bokka. Naye, okwagala kwe n’ekisa kye byamuleetera okubaako ky’akolawo wadde nga kyali kimwetaagisa okwefiiriza ennyo. Yawaayo Omwana we okufiirira abantu.
Yesu yazuukizibwa, era n’abalala bajja kuzuukizibwa
“Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abeebaka mu kufa. Kubanga ng’okufa bwe kwayitira mu muntu, n’okuzuukira kw’abafu nakwo kuyitira mu muntu. Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.”
—1 Abakkolinso 15:20-22.
Tewali kubuusabuusa nti Yesu yaliwo era n’afa, naye bukakafu ki obulaga nti yazuukira? Ekimu ku bikakasa nti yazuukira kwe kuba nti yalabikira abantu bangi mu biseera eby’enjawulo era mu bifo eby’enjawulo. Lumu yalabikira abantu abasukka mu 500. Ekyo omutume Pawulo yakyogerako mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolinso. Yagamba nti abamu ku bantu abo baali bakyali balamu era nti baali basobola okuwa obujulizi ku ebyo bye baali balabye era bye baali bawulidde.
Kyeyoleka lwatu nti, Bayibuli bw’egamba nti Kristo “bye bibala ebibereberye” eby’abo abazuukizibwa, eba ekiraga nti waliwo n’abalala abajja okuzuukizibwa. Yesu kennyini yagamba nti ekiseera kyandituuse “bonna abali mu ntaana . . . ne bavaamu.”
Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, tulina okukkiririza mu Yesu
“Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”
—Yokaana 3:16.
Okubikkulirwa 21:4 wagamba nti: “Tewalibaawo kufa nate.” Okukakasa nti ebigambo ebyo bituufu, olunyiriri 5 lugamba nti: “Ebigambo bino bya bwesige era bya mazima.” Yakuwa bw’asuubiza ekintu, akituukiriza.
Essuula ezisooka mu Bayibuli ziraga engeri okufa gye kwajjawo era n’engeri abantu gye bafiirwa olusuku lwa Katonda. Essuula ezisembayo mu Bayibuli zoogera ku kiseera okufa lwe kuliggibwawo era n’engeri Katonda gy’ajja okuzzaawo olusuku ku nsi. Abantu bajja kubeera mu bulamu obulungi emirembe gyonna.Okkiriza nti “ebigambo bino bya bwesige era bya mazima”? Bwe kiba bwe kityo, weeyongere okuyiga ebikwata ku Yesu Kristo era omukkiririzeemu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kusiimibwa Yakuwa Katonda. Ojja kufuna emikisa gye kati era ojja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi ‘etalibaamu kufa, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.’