Obadde Okimanyi?
Omutume Pawulo yaganyulwa atya mu kuba n’obutuuze bw’Abaruumi?
Omuntu eyabanga n’obutuuze bw’Abaruumi yabanga n’enkizo okukola ebintu ebimu mu matwale g’Abaruumi gonna awatali kukugirwa. Omuntu oyo yafugibwanga mateeka g’Abaruumi so si mateeka g’ebibuga ebyabanga mu matwale g’Abaruumi. Bwe yavunaanibwanga omusango, yabanga wa ddembe okukkiriza okuwozesebwa okusinziira ku mateeka g’omu kitundu kye yabeerangamu, oba okuwozesebwa mu kooti z’Abaruumi. Bwe baamusaliranga ogw’okufa, yabanga asobola okujulira ewa empula.
Cicero, omufuzi Omuruumi eyaliwo mu kyasa ekyasooka ng’embala eno tennatandika yawandiika nti: “Omuntu alina obutuuze bw’Abaruumi okumusiba akandooya kimenya mateeka; okumutulugunya kiba kibi nnyo; okumutta oba ng’asse muzadde wo oba omu ku b’eŋŋanda zo.”
Omutume Pawulo yabuulira mu bitundu bingi mu matwale g’Abaruumi. Emirundi esatu, Bayibuli eyogera ku ngeri Pawulo gye yakozesaamu eddembe lye yalina ng’omutuuze Omuruumi: (1) Yagamba abalamuzi b’omu Firipi nti okumukuba kwali kutyoboola ddembe lye. (2) Bwe yali mu Yerusaalemi, yalemesa abaali baagala okumukuba bwe yabagamba nti Muruumi. (3) Bwe yali awozesebwa yajulira Kayisaali, empula wa Rooma.
Abasumba ab’edda baasasulwanga batya?
Yakobo, omuweereza wa Katonda eyaliwo mu biseera eby’edda, yalunda endiga za kojja we Labbaani okumala emyaka 20. Oluvannyuma lwa Yakobo okukolera Labbaani emyaka 14, Labbaani yamusasulamu bawala be ababiri. Emyaka 6 egyasembayo, Labbaani yamusasulamu bisolo. (Olubereberye 30:25-33) Akatabo akayitibwa Biblical Archaeology Review kagamba nti, “Abawandiisi ab’edda n’abasomi b’ebiwandiiko bya Bayibuli baabanga bategeera bulungi endagaano ezaakolebwanga abasumba gamba ng’ezo Labbaani ze yakola ne Yakobo.”
Ebiwandiiko ebiriko endagaano ebyavumbulwa mu Nuzi, Larsa, n’ebifo ebirala eby’omu Iraq biraga nti abasumba baakolanga endagaano. Ebiwandiiko ebyo biraga nti endagaano ezo zaamalanga omwaka gumu okuva ku kiseera abasumba lwe baasalanga ebyoya ku ndiga okutuusa lwe baddangamu okuzisalako ebyoya. Abasumba baabanga n’obuvunaanyizibwa okulabirira ebisolo ebyabanga bibaweereddwa okusinziira ku myaka gyabyo n’ekikula kyabyo. Buli luvannyuma lwa mwaka, nnanyini ndiga yalinanga okuweebwa omuwendo omugereke ogw’ebyoya by’endiga, amata, obuliga, n’ebirala. Ebyafikkangawo ku bintu ebyo omusumba yabisigazanga ng’empeera ye.
Obunene bw’ekisibo bwasinziiranga ku muwendo gw’endiga enkazi ezaabanga ziweereddwa omusumba. Omusumba bwe yaweebwanga endiga enkazi 100 yabanga asuubirwa okuwa mukama we obuliga 80. Omuwendo ogwo bwe gutaaweranga, omusumba yatoolanga ku kisibo ekikye n’aweza omuwendo ogwo. Ekyo kyakubirizanga omusumba okulabirira obulungi ensolo ezaabanga zimukwasiddwa.