Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Abantu banaabeera n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?

Okufa kwa yesu kunaasobozesa kutya abantu mu nsi yonna okufaayo ku bannaabwe?

Abantu bakyeyongera okukulaakulana mu bya saayansi. Naye enkulaakulana eyo mu bya saayansi eneereetera abantu buli omu okufaayo ku munne? Nedda. Leero, abantu beefaako bokka era balina omululu. Wadde kiri kityo, Katonda asuubizza abantu ebiseera eby’omu maaso ebirungi.—Soma 2 Peetero 3:13.

Ekigambo kya Katonda kyogera ku kiseera abantu mu nsi yonna lwe baliba nga baagalana nnyo. Abantu bajja kubeera mu mirembe era tewajja kubaawo abatuusaako kabi.—Soma Mikka 4:3, 4.

Abantu okwefaako bokka kinaamalibwawo kitya?

Katonda yatonda abantu nga tebalina mwoyo gwa kwefaako. Eky’ennaku, omuntu eyasooka bwe yajeemera Katonda yafuuka atatuukiridde. Ffenna twasikira omwoyo gw’okwefaako okuva ku muntu oyo. Naye, Katonda ajja kukozesa Yesu okuyamba abantu okufuuka abatuukiridde.—Soma Abaruumi 7:21, 24, 25.

Katonda yakola enteekateeka Yesu n’atufiirira asobole okuggyawo ebizibu ebyava mu bujeemu bwa Adamu. (Abaruumi 5:19) N’olw’ensonga eyo, mu biseera eby’omu maaso abantu bajja kuba tebakyefaako bokka.—Soma Zabbuli 37:9-11.