Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ENKOMERERO ERI KUMPI?

“Enkomerero”—Kye Ki?

“Enkomerero”—Kye Ki?

Bw’owulira ebigambo, “Enkomerero eri kumpi!” kiki ekikujjira mu birowoozo? Olowooza ku mubuulizi w’enjiri ayimiridde ku kituuti era aleekaanira waggulu ng’akutte Bayibuli? Oba olowooza ku mubuulizi w’enjiri ayimiridde ku luguudo ng’aleekaanira waggulu nti enkomerero ejja? Abamu bwe balowooza ku bannaddiini ng’abo beeraliikirira, kyokka abalala babuusabuusa bye boogera era oluusi babasekerera.

Bayibuli egamba nti: ‘Enkomerero ejja.’ (Matayo 24:14) Enkomerero era eyitibwa ‘olunaku olukulu olwa Katonda’ oba “Kalumagedoni.” (Okubikkulirwa 16:14, 16) Kyo kituufu nti ku bikwata ku nkomerero, amadiini mangi gabuzaabuzizza abantu era bangi balowooza nti waliwo ebintu ebitiisa ebigenda okubaawo. Wadde kiri kityo, Bayibuli etubuulira amazima agakwata ku nkomerero: etubuulira ebijja okubaawo era etuyamba okumanya ebitajja kubaawo. Ate era etuyamba okumanya obanga enkomerero eri kumpi. N’ekisinga byonna, etutegeeza ebyo bye tusaanidde okukola okusobola okuwonawo! Naye ka tusooke tulabe ebitajja kubaawo, oluvannyuma tulabe ebyo Bayibuli by’eyogerako ebinaabaawo ‘ng’enkomerero’ ezze.

EBITAJJA KUBAAWO

  1. ENSI TEJJA KUZIKIRIZIBWA NA MULIRO

    Bayibuli egamba nti: ‘[Katonda] yasimba emisingi gy’ensi, ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.’ (Zabbuli 104:5) Ekyawandiikibwa ekyo n’ebirala bitukakasa nti Katonda tajja kuzikiriza nsi oba okuleka abantu okugizikiriza—ejja kubeerawo emirembe gyonna!Omubuulizi 1:4; Isaaya 45:18.

  2. ENKOMERERO TEJJA KUGWA BUGWI.

    Bayibuli eraga nti Katonda yassaawo ekiseera ekigereke enkomerero lw’enejja. Egamba nti: “Eby’olunaku olwo oba ekiseera, tewali abimanyi, newakubadde bamalayika mu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange. Mutunulenga, mubeerenga bulindaala, kubanga temumanyi ddi ekiseera ekigereke we kinaatuukira.” (Makko 13:32, 33) Awatali kubuusabuusa, Katonda (Yesu gwe yayita “Kitange”) yateekawo “ekiseera ekigereke” enkomerero lw’enejja.

  3. ENKOMERERO TEJJA KULEETEBWA BANTU OBA EKIYINJA OKUVA MU BWENGULA.

    Kiki ekinaaleeta enkomerero? Okubikkulirwa 19:11 wagamba nti: ‘Ne ndaba eggulu nga libikkuddwa, era laba! embalaasi enjeru. Era oyo eyali agyebaggadde ayitibwa Mwesigwa era wa Mazima.’ Olunyiriri 19 lugattako nti: “Ne ndaba ensolo ne bakabaka b’ensi n’amagye gaabwe nga bakuŋŋaanye wamu okulwana n’oyo atudde ku mbalaasi n’eggye lye.” (Okubikkulirwa 19:11-21) Wadde ng’ebigambo ebyo bya kabonero, tusobola okumanya kye bitegeeza. Bitegeeza nti Katonda ajja kusindika eggye lya bamalayika lizikirize abalabe be.

Enkomerero eyogerwako mu Bayibuli mawulire malungi so si mawulire mabi

EBIJJA OKUBAAWO

  1. GAVUMENTI Z’ABANTU ZIJJA KUZIKIRIZIBWA.

    Bayibuli egamba nti: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [gavumenti], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) Nga bwe kyogeddwako mu nsonga ey’okusatu waggulu, “bakabaka b’ensi n’amagye gaabwe,” abanaaba bakuŋŋaanye “okulwana n’oyo atudde ku mbalaasi n’eggye lye,” bajja kuzikirizibwa.Okubikkulirwa 19:19.

  2. ENTALO, EBIKOLWA EBY’OBUKAMBWE, N’OBUTALI BWENKANYA BIJJA KUGGIBWAWO.

    Bayibuli egamba nti: “[Katonda] aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Zabbuli 46:9) Era egamba nti: “Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.” (Engero 2:21, 22) Ate era egamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.”Okubikkulirwa 21:4, 5.

  3. AMADIINI AGATAKOLA KATONDA BY’AYAGALA ERA AGATAYAMBYE BANTU GAJJA KUGGIBWAWO.

    Bayibuli egamba nti: “Bannabbi boogera bya bulimba, bakabona bakozesa obuyinza bwabwe okunyigiriza abalala . . . Kale munaakola mutya ng’enkomerero etuuse?” (Yeremiya 5:31, NW ) Era egamba nti: “Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, era ne tukola ebyamagero bingi mu linnya lyo?’ Naye ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abakola eby’obujeemu’ ”Matayo 7:21-23.

  4. ABANTU ABAWAGIRA ENSI N’EBIKOLWA BYAYO BAJJA KUZIKIRIZIBWA.

    Yesu Kristo yagamba nti: “Ekisinziirwako okusala omusango kiri nti, ekitangaala kizze mu nsi naye abantu baagadde ekizikiza mu kifo ky’ekitangaala, kubanga ebikolwa byabwe bibi.” (Yokaana 3:19) Bayibuli eyogera ku kuzikirizibwa okwaliwo ku nsi yonna mu biseera bya Nuuwa, omusajja eyali omwesigwa. Egamba nti: “Ensi eyo yazikirizibwa bwe yabuutikirwa amazzi. Era olw’ekigambo kye kimu, eggulu n’ensi ebiriwo kati biterekeddwa omuliro era bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda.”2 Peetero 3:5-7.

Weetegereze nti ‘olunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda’ olugenda okujja lugeraageranyizibwa ku kuzikirizibwa ‘kw’ensi’ ey’omu kiseera kya Nuuwa. Nsi ki eyazikirizibwa? Ensi kwe tuli yasigalawo; n’olwekyo “abantu abatatya Katonda” oba abalabe ba Katonda be ‘baazikirizibwa.’ Ku ‘lunaku lwa Katonda olw’omusango,’ abo abasazeewo okufuuka abalabe ba Katonda nabo bajja kuzikirizibwa. Naye okufaananako Nuuwa n’ab’omu maka ge, abo abalina enkolagana ennungi ne Katonda bajja kuwonyezebwawo.Matayo 24:37-42.

Lowooza ku mbeera ennungi eribaawo ku nsi nga Katonda aggyeewo ebintu ebibi byonna! Mu butuufu, enkomerero eyogerwako mu Bayibuli mawulire malungi so si mawulire mabi. Naye oyinza okuba nga weebuuza nti: ‘Ddala Bayibuli eraga ddi enkomerero lw’enejja? Eri kumpi? Nnyinza ntya okuwonawo?’