Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | SSAAYANSI ADIBIZZA BAYIBULI?

Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu

Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu

Enkuluze emu egamba nti, ssaayansi kwe “kunoonyereza n’okwetegereza ebintu eby’omu butonde ng’oyitira mu kugezesa n’okupima ebintu ebitali bimu.” Okukola ebintu bino guba mulimu gwa maanyi nnyo. Bannassaayansi bamala emyezi mingi oluusi n’emyaka mingi nga banoonyereza ku bintu ebiri mu butonde. Ebiseera ebimu okufuba kwabwe kugwa butaka, naye emirundi egisinga abantu baganyulwa mu ebyo ebiba bizuuliddwa. Lowooza ku byokulabirako bino.

Kampuni emu mu Bulaaya yakola akasengejja nga kasobola okusengejja amazzi ne bwe gaba makyafu gatya, ne kiba nti omuntu ne bw’aganywa tayinza kukwatibwa bulwadde. Obusengejja ng’obwo bukozesebwa mu bifo awaba wagudde obutyabaga gamba nga musisi eyayita mu Haiti mu mwaka gwa 2010.

Mu bwengula waliyo ebyuma ebiyitibwa satellites ebiyamba okuzuula wa wennyini ebintu we biri ku nsi oba mu bwengula, nga bikozesa enkola eyitibwa Global Positioning System (GPS). Enkola eno yategekebwa kukozesebwa magye, naye era eyamba abavuzi b’emmotoka, abavuzi b’ennyonyi, abavuzi b’emmeeri, n’abantu abatambula eŋŋendo empanvu ennyo okumanya we balina okuyita. Tetwandibadde na nkola ya GPS singa bannassaayansi tebaagiyiiya.

Okozesa essimu ey’omu ngalo, kompyuta, oba Intaneeti? Olaba enkulaakulana eriwo mu by’obujjanjabi? Otera okutambulira mu nnyonyi? Bwe kiba bwe kityo, naawe oli omu ku bantu abaganyulwa mu birungi ebivudde mu ssaayansi. Mu butuufu ssaayansi atuganyudde mu ngeri nnyingi.

BANNASSAAYANSI BYE BATASOBOLA KUKOLA

Olw’okuba bannassaayansi baagala okukola ebintu ebirala bingi, beeyongedde okunoonyereza ku ebyo ebiri mu butonde. Bannassaayansi abanoonyereza ku maanyi ga Nukiriya baagala okunoonyereza ku maanyi agali mu kantu akasingayo obutono mu butonde akayitibwa atomu, ate abo abanoonyereza ku bwengula baagala nnyo okumanya emyaka obutonde gye bumaze. Gye bakoma okunoonyereza ku bintu ebiri ewala ennyo era ebitalabika, gye bakoma okulowooza nti singa Katonda ayogerwako mu Bayibuli gy’ali, bandimuzudde.

Bannassaayansi abamu abatutumufu n’abafirosoofo bakkiriziganya n’omuwandiisi omu ayitibwa Amir D. Aczel eyagamba nti, “ssaayansi awakanya nti Katonda gy’ali.” Ng’ekyokulabirako, munnassaayansi omu omututumufu yagamba nti, “olw’okuba tewali bukakafu bulaga nti waliyo Katonda abeesaawo obutonde bwonna, tewali kubuusabuusa nti katonda taliiyo.” Abalala bagamba nti ebikolwa bya Katonda ayogerwako mu Bayibuli bya “bufuusa” oba nti “bukodyo obuzibu okutegeera.” *

Naye ekibuuzo kiri nti: Bannassaayansi bayize ebikwata ku butonde bwonna balyoke bawunzike nga bwe bagamba? Nedda. Wadde nga waliwo enkulaakulana ya maanyi mu bya ssaayansi, bannassaayansi bagamba nti waliwo ebintu bingi bye batannamanya ne bye batayinza kumanya. Ng’ayogera ku kutegeera obulungi obutonde, munnassaayansi ayitibwa Steven Weinberg yagamba nti: “Tetusobola kutegeera bintu byonna.” Kakensa omu ow’eby’obwengula mu Bungereza ayitibwa Martin Rees yawandiika nti: “Wayinza okubaayo ebintu ng’abantu ne bwe bakola batya tebalibitegeera.” Ekituufu kiri nti ebintu ebisinga obungi mu butonde, ka kabeere katoffaali akasingayo obutono oba obwaguuga bw’obwengula, bannassaayansi tebannabitegeera. Lowooza ku byokulabirako bino:

  • Bannassaayansi tebategeera mu bujjuvu ngeri obutoffaali obuli mu mubiri gye bukolamu. Ng’ekyokulabirako, engeri obutoffaali gye bukozesaamu amaanyi g’omubiri, engeri gye bukolamu ebiriisa ebyetaagibwa mu mubiri ebiyitibwa proteins, n’engeri gye bweyawulamu temanyiddwa mu bujjuvu.

  • Amaanyi agasika ebintu nga gabizza wansi (gravity) ga mugaso gye tuli buli kiseera. Kyokka bannassaayansi tebamanyi ngeri gye gakolamu. Tebamanyidde ddala bulungi engeri amaanyi ago gye gakusika ne gakuzza wansi bw’obuuka oba engeri gye gayambamu omwezi obutawaba kuva mu kkubo lyagwo nga gwetooloola ensi.

  • Bannassaayansi abanoonyereza ku ngeri ensi gye yakulamu bagamba nti ebyuma byabwe tebisobola kulaba kumpi ebintu 95 ku buli 100 ebiri mu butonde. Olw’okuba ebintu ebyo tebiyinza kulabibwa, era tebiyinza kumanyibwa.

Waliwo ebintu ebirala bingi ebiwuniikiriza ne bannassaayansi. Lwaki kikulu okumanya ekyo? Omuwandiisi omu omututumufu agamba nti: “Ebintu bye tutamanyi bingi nnyo okusinga ebyo bye tumanyi. Ebyo bannassaayansi bye bakola byandituleetedde kwongera kubinoonyerezaako.”

N’olwekyo, bw’oba ng’olowooza nti ssaayansi anaatera okudibya Bayibuli kiviireko abantu obutakkiririza mu Katonda, lowooza ku nsonga eno: Bwe kiba nti bannassaayansi abagezi ennyo era abakozesa ebyuma eby’omulembe bategedde kitono nnyo ku butonde, kyandibadde kya magezi okubuusabuusa ebintu bannassaayansi bye bakyalemereddwa okutegeera obulungi? Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica bwe kiba kiwa ebyafaayo ku kunoonyereza ebiri mu bwengula, kifundikira nga kigamba nti: “Wadde nga kati wayise emyaka nga 4,000 nga bannassaayansi banoonyereza ku biri mu bwengula, ne leero bannassaayansi tebannategeerera ddala ebyo ebiri mu bwengula ng’Abababulooni bwe baali.”

Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti buli muntu alina eddembe okwesalirawo ky’alina okukkiririzaamu. Tufuba nnyo okukolera ku musingi guno oguli mu Bayibuli: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” (Abafiripi 4:5) Eyo ye nsonga lwaki tukukubiriza okwekenneenya engeri ssaayansi ne Bayibuli gye bikwataganamu.

^ Abantu abamu tebakkiririza mu Bayibuli olw’enjigiriza z’amadiini ag’obulimba, gamba ng’enjigiriza egamba nti ensi eri mu makkati g’obwengula oba eyo egamba nti ensi yatondebwa mu nnaku mukaaga ez’essaawa 24.​—Laba akasanduuko, “ Bayibuli Ekwatagana n’Ebyo Ssaayansi by’Azudde.”