Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Lwaki abantu bakola ebintu ebibi?
Abantu baagala okuba ab’emirembe, abeesigwa, era ab’ekisa. Naye lwaki waliwo obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, n’ebikolwa eby’obukambwe? Ebiseera ebisinga amawulire gabaamu ebintu eby’entiisa. Waliwo aleetera abantu okukola ebintu ebyo ebibi?
Katonda yatonda abantu bakole ebintu ebibi? Nedda, Yakuwa Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye, nga basobola okwoleka okwagala kwe. (Olubereberye 1:27; Yobu 34:10) Wadde kiri kityo, Katonda yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo. Bazadde baffe abaasooka bwe baagaana okukoppa Yakuwa. Baajeema era ne baafuuka abatatuukiridde. Naffe twonoona olw’okuba twasikira ekibi okuva ku bo.
Ebintu ebibi biriggwaawo?
Katonda ayagala twewale okukola ebintu ebibi. (Engero 27:11) Atuyigiriza engeri gye tuyinza okubyewalamu n’engeri gye tuyinza okufuna essanyu erya nnamaddala. Kyokka, mu kiseera kino tetusobola kwoleka kwagala kwa Katonda mu bujjuvu.
Wadde nga leero waliwo ebikolwa ebibi bingi, Katonda alese bibeewo okumala akaseera katono buli omu asobole okulaba ebintu ebibi ebiva mu bujeemu. (2 Peetero 3:7-9) Wadde kiri kityo, mu kiseera ekitali kya wala ensi ejja kubeerako abantu abasanyufu era abagondera Katonda.