Obadde Okimanyi?
Olubengo lwakozesebwanga lutya mu biseera by’edda?
Olubengo lwakozesebwanga okusa emmere ey’empeke, obuwunga ne bukolebwamu emigaati. Buli lunaku, abakyala n’abazaana kumpi mu buli maka baakozesanga olubengo. Mu biseera eby’edda, kyabanga kya bulijjo okuwulira abantu nga basa ku lubengo.
Ebintu eby’edda ebyazuulibwa mu Misiri biraga engeri olubengo gye lwakozesebwangamu. Omuntu yateekanga emmere ey’empeke ku lubengo, n’afukamira n’akwata enso n’emikono ebiri, n’atandika okusa empeke ezo. Akatabo akamu kalaga nti enso eyakozesebwanga yabanga ezitowa kilo eziri wakati wa 2 ne 4. Omuntu bwe yakozesanga enso ng’eky’okulwanyisa, yabanga asobola okutta omuntu.
Okusa emmere ey’empeke kyabanga kikulu nnyo eri amaka ne kiba nti erimu ku mateeka ga Katonda lyagaananga abantu okutwala enso ng’omusingo. Ekyamateeka 24:6 wagamba nti: “Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw’omuntu.”
Ebigambo “ali mu kifuba” bitegeeza ki?
Bayibuli egamba nti Yesu “ali mu kifuba kya Kitaawe.” (Yokaana 1:18) Ebigambo ebyo bitegeeza nti Yesu alina enkolagana ey’oku lusegere era ey’omuwendo ne Katonda. Ate era biraga ekyo Abayudaaya kye baakolanga nga bagenda okulya emmere.
Mu biseera Yesu we yabeerera ku nsi, Abayudaaya baateekanga omutto omuwanvu okwetooloola emmeeza gye baalirangako. Buli eyabanga ku kijjulo yagalamiranga, ng’akakokola ke aka kkono akatadde ku mutto oguli okumpi n’emmeeza. Omukono gwe ogwa ddyo yabanga asobola okugukozesa kyonna ky’ayagala. Olw’okuba abaabanga ku kijjulo buli omu yabanga kumpi ne munne, ekitabo ekimu kigamba nti, “omutwe gw’omuntu omu gwabanga kumpi n’ekifuba ky’oyo eyabanga agalamidde emabega we, era eyo ye nsonga lwaki kyagambibwanga nti ‘ali mu kifuba’ ky’oyo agalamidde emabega we.”
Okuba mu kifuba kya nnyinimu oba nnyini mukolo yabanga nkizo ya maanyi nnyo. Ku mbaga ey’Okuyitako eyasembayo Yesu gye yakwata n’abayigirizwa be, “omu ku bayigirizwa gwe yali ayagala ennyo,” omutume Yokaana, ye yali mu kifuba kye. Eyo ye nsonga lwaki Yokaana ‘yeesigama ku kifuba kya Yesu’ ng’aliko ky’amubuuza.