Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ENGERI Y’OKWAŊŊANGA EBIKWERALIIKIRIZA

Ebyeraliikiriza Biri Buli Wamu!

Ebyeraliikiriza Biri Buli Wamu!

“Nnagenda ku dduuka okugula emmere naye nnasangayo bugaati bwokka—kyokka ng’ebbeeyi yaabwo eri waggulu nnyo ku ya bulijjo! Enkeera, amaduuka gaali tegakyalimu kintu kyonna kiriibwa.”—Paul, ow’omu Zimbabwe.

“Omwami wange yaŋŋamba nti yali agenda kutulekawo. Nnandisobodde ntya okugumira embeera eyo era n’okulabirira abaana bange?”—Janet, ow’omu Amerika.

“Obude obulabula nga wagenda kugwaawo akabi bwe buvuga, ngalamira wansi ne nneekweka ng’ebikompola bwe bivuga. Ne bwe wayitawo essaawa eziwera emikono gyange giba gikyakankana.”—Alona, ow’omu Isirayiri.

Leero tuli mu ‘biseera ebizibu,’ era waliwo ebitweraliikiriza bingi. (2 Timoseewo 3:1) Abantu bangi basobeddwa olw’ebizibu by’eby’enfuna, amaka okusattulukuka, entalo, endwadde ez’amaanyi, n’obutyabaga. Okwo kw’ogatta n’ebyo ebitweraliikiriza kinnoomu. Abamu beebuuza ebibuuzo nga bino, ‘Obulumi bwe mpulira bwandiba nga bulaga nti nnina obulwadde obw’amaanyi?’ ‘Abaana bange we banaakulira, ensi eneeba etya?’

Mu mbeera ezimu kya bulijjo okweraliikirira. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tugenda okukola ebigezo oba okubuuzibwa ebibuuzo nga tetunnaweebwa mulimu tutera okweraliikirira. Ate era okutya akabi kituyamba okwewala emitawaana. Naye okweraliikirira ekisukkiridde oba okweraliikirira buli kiseera kya kabi nnyo. Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko ku bantu abakulu abasukka mu 68,000 kwalaga nti omuntu ne bw’aba yeeraliikirira kitono, kiyinza okumuviirako okufa amangu. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki Yesu yabuuza nti: “Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongerako katono ku buwanvu bw’ekiseera ky’obulamu bwe?” Mu butuufu, okweraliikirira tekuyamba muntu. N’olw’ensonga eyo, Yesu yagamba nti: “Mulekere awo okweraliikirira.” (Matayo 6:25, 27) Naye ekyo kisoboka?

Kisoboka singa tukolera ku magezi amatuufu, singa tukulaakulanya okukkiriza okwa nnamaddala mu Katonda, era singa tuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. Ne bwe tuba nga tetulina bizibu kati, tuyinza okubifuna mu biseera eby’omu maaso. Ka twetegereze engeri ebintu ebyo ebisatu gye biyambyemu Paul, Janet, ne Alona okwaŋŋanga ebibeeraliikiriza.