EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ENGERI Y’OKWAŊŊANGA EBIKWERALIIKIRIZA
Okweraliikirira eby’Enfuna
Paul, omwami era omuzadde alina abaana ababiri agamba nti: “Eby’enfuna by’eggwanga lyaffe bwe byagootaana, emmere yafuuka ya buseere ate nga ya bbula. Bwe twagendanga okugula emmere twasimbaga ennyiriri okumala essaawa nnyingi, kyokka yaggwangawo ng’abasinga obungi tetufunye. Abantu baakoozimba olw’enjala era abamu baazirikanga ne bagwa ku nguudo. Emiwendo gy’ebintu gyalinnya nnyo ne biba nga bigula bukadde, n’oluvannyuma buwumbi. Ekiseera kyatuuka ssente z’eggwanga lyaffe ne ziba nga tezikyalina mugaso. Nnafiirwa ssente zange ezaali ku akawunti ya banka, eya yinsuwalensi, n’eya pensoni.”
Paul yali akimanyi nti okusobola okulabirira ab’omu maka ge, yalina okukozesa “amagezi amatuufu.” (Engero 3:21) Paul agamba nti: “Wadde nga nnali mukugu mu by’amasanyalaze, nnakolanga buli mulimu gwe nnafunanga wadde ng’omusaala gwabanga mutono nnyo. Abamu bansasulangamu mmere oba ebintu ebikozesebwa awaka. Bwe nnasasulwanga emiti gya ssabbuuni ena, twakozesangako ebiri egisigadde ne ngitunda. Oluvannyuma nnagula obukoko 40. Bwe bwakula, nnabutunda ne ngula obulala 300. Nga wayiseewo ekiseera, waliwo gwe nnawanga enkoko 50 n’ampaamu obusawo bw’akawunga bubiri nga buli kamu ka kilo 50. Ekyo kyansobozesa okuliisa ab’omu maka gange, n’ab’omu maka amalala agawerako okumala ekiseera ekiwanvu.”
Paul era yali akimanyi nti kikulu nnyo okwesiga Katonda. Bwe tukola Katonda by’atulagira, atuyamba. Bwe kituuka ku kunoonya ebintu bye twetaaga mu bulamu, Yesu yagamba nti: ‘Mulekere awo okweraliikirira kubanga Kitammwe akimanyi nti mubyetaaga.’
Eky’ennaku, Sitaani omulabe wa Katonda lukulwe, aleetedde abantu abasinga obungi okwemalira ku kunoonya ebintu. Abantu bangi beeraliikirira nnyo ebyetaago byabwe era bakola butaweera okusobola okubifuna kyokka ng’ebimu baba tebabyetaaga. Bangi
Abantu abamu basalawo mu ngeri enkyamu. Paul agamba nti, “Baliraanwa bange bangi baaleka amaka gaabwe ne mikwano gyabwe ne bagenda ebweru okukuba ekyeyo. Abamu baakozesa ebipapula ebijingirire okusobola okugenda era ekyo kyabaviirako obutafuna mirimu. Buli kiseera beekwekanga poliisi era baasulanga ku nguudo. Baalemererwa okwesiga Katonda. Naye nze n’ab’omu maka gange, twasalawo okwaŋŋanga embeera y’eby’enfuna eyo eyali enzibu nga tuli bakakafu nti Katonda yandituyambye.”
OKUKOLERA KU MAGEZI GA YESU
Paul agattako: “Yesu yagamba nti: ‘Temweraliikiriranga bya nkya, kubanga olunaku olw’enkya lunaaba n’eby’okweraliikirirwa ebyalwo. Buli lunaku ebibi byalyo birumala.’ N’olwekyo, buli lunaku nnasabanga Katonda ‘atuwe emmere yaffe eya leero,’ era Katonda yatuyamba nga Yesu bwe yagamba. Emirundi egimu tetwafunanga ebyo bye twabanga twagala. Lumu, nnagenda okugula emmere naye ne nsanga nga batunda bbongo. Nze saagala bbongo, naye ekiro ekyo twalya bbongo kubanga kye ky’okulya kyokka ekyaliwo. Nneebaza Katonda kubanga mu kiseera ekyo kyonna, ab’omu maka gange tebaasulako njala.” *
Katonda yasuubiza nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.”
“Mu kiseera kino tuli bulungi mu by’enfuna. Naye okusinziira ku ebyo bye tuyiseemu, tuyize nti ekintu ekisinga obukulu ekiyamba omuntu obuteeraliikirira nnyo kwe kwesiga Katonda. Bulijjo, Yakuwa * atuyamba bwe tukola ebyo by’ayagala. Tukirabye nti kikulu nnyo okukolera ku magezi agali mu Zabbuli 34:8 awagamba nti: ‘Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: aweereddwa omukisa oyo amwesiga.’ Kati ne bwe tuddamu okufuna ebizibu by’eby’enfuna tetweraliikirira.
“Kati tukimanyi bulungi nti omuntu tabeera mulamu lwa mulimu oba ssente, wabula lwa mmere. Twesunga ekiseera ekisuubizo kya Katonda kino lwe kinaatuukirira: ‘Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi.’ Mu kiseera kino, bwe ‘tuba n’eby’okulya n’eby’okwambala, tuba bamativu n’ebyo.’ Ebigambo bino ebiri mu Bayibuli bituzzaamu nnyo amaanyi: ‘Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga yagamba nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” N’olwekyo, ka tubeere bagumu tugambe nti: “Yakuwa ye muyambi wange; Siritya. Omuntu ayinza kunkola ki?” ’ ” *
Kyetaagisa okukkiriza okw’amaanyi okusobola ‘okutambulira awamu ne Katonda’ nga Paul n’ab’omu maka ge bwe bakola. (Olubereberye 6:9) Bwe tuba tulina ekizibu ky’eby’enfuna oba singa tukifuna mu biseera eby’omu maaso, tulina bingi bye tuyigira ku ngeri Paul gye yayolekamu okukkiriza n’amagezi agava eri Katonda.
Naye ate bwe kiba nti ebizibu by’amaka bye bituleetera okweraliikirira?
^ lup. 9 Laba Matayo 6:11, 34.
^ lup. 10 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.