Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABAJULIRWA BA YAKUWA BE BAANI?

Omulimu Gwaffe Guyimirizibwawo Gutya?

Omulimu Gwaffe Guyimirizibwawo Gutya?

Buli mwaka tukuba era ne tugaba Bayibuli bukadde na bukadde awamu n’ebitabo ebiginnyonnyola. Tuzimba era ne tuddukanya ofiisi z’amatabi okwetooloola ensi yonna. Ate era tugula era ne tuddaabiriza ebyuma bye tukozesa okukuba ebitabo. Tulina ebizimbe nkumi na nkumi ebirabika obulungi mwe tusinziza ebiyitibwa Ebizimbe by’Obwakabaka (Kingdom Hall). Ssente ezikola ebintu ebyo byonna tuziggya wa?

Ssente zonna eziyimirizaawo omulimu gwaffe ziweebwayo kyeyagalire. (2 Abakkolinso 9:7) Akatabo kano, Omunaala gw’Omukuumi, aka Agusito 1879, kaagamba: “‘Zion’s Watch Tower’ [nga bwe kaali kayitibwa mu kiseera ekyo], tukkiriza nti kalina obuwagizi bwa YAKUWA, n’olwekyo tetulisabiriza bantu ssente okusobola okukafulumyanga.” N’okutuusa leero tukyakolera ku bigambo ebyo.

Omuntu bw’aba ayagala okubaako ssente z’awaayo, aziweereza ku limu ku matabi gaffe oba aziteeka mu kasanduuko akabeera mu Kingdom Hall. Naye tetuwaayo kimu kya kkumi, tetusolooza ssente, era abantu tebasasula ssente okuyingira mu masinzizo gaffe era n’ebitabo byaffe tetubitunda. Tetusasulwa kubuulira, kuyigiriza, oba okuzimba ebizimbe mwe tusinziza. Kiri bwe kityo, olw’okuba Yesu yagamba nti: “Mwaweebwa buwa nammwe muwenga buwa.” (Matayo 10:8) Abo bonna abakola ku ofiisi zaffe ez’amatabi, ne ku kitebe kyaffe ekikulu mu nsi yonna, nga mw’otwalidde n’abo abali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, bannakyewa era tebaweebwa musaala.

“Buli kimu Abajulirwa ba Yakuwa kye bakola bakikola kyeyagalire, era ne ssente ze bakozesa mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira ziweebwayo kyeyagalire; buli muntu yeesalirawo ssente mmeka z’anaawaayo na ddi lw’anaaziwaayo.”​—Kooti ya Bulaaya Ekola ku Ddembe ly’Obuntu, 2011

Ezimu ku ssente eziweebwayo zikozesebwa okuyamba abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayambanga bannaabwe abaabanga bafunye ebizibu. (Abaruumi 15:26) Mu ngeri y’emu, abo ababa bakoseddwa obutyabaga tubayambako okuzimba oba okuddaabiriza ennyumba zaabwe n’ebifo mwe basinziza, tubawa emmere, eby’okwambala, n’eddagala.