EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABAJULIRWA BA YAKUWA BE BAANI?
Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye Bakkiriza?
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti “buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.” (2 Timoseewo 3:16) Bayibuli etuyamba okuyiga ebikwata ku Katonda n’okumanya engeri gye tusobola okufuna essanyu mu bulamu.
Bayibuli egamba nti: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” (Zabbuli 83:18) N’olwekyo tusinza Yakuwa Katonda yekka, era olw’okuba tuli Bajulirwa be, tufuba okubuulira abalala erinnya lye.—Isaaya 43:10-12.
Tuli Bakristaayo era tukkiriza nti Yesu, “Omwana wa Katonda,” * yajja ku nsi era nti ye yali Masiya eyasuubizibwa. (Yokaana 1:34, 41; 4:25, 26) Yesu yafa, n’azuukizibwa era n’agenda mu ggulu. (1 Abakkolinso 15:3, 4) Oluvannyuma yafuuka Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Okubikkulirwa 11:15) Obwakabaka obwo ye gavumenti ejja okulongoosa ensi. (Danyeri 2:44) Bayibuli egamba nti: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—Zabbuli 37:11, 29.
“Bakkiriza nti bwe baba basoma Bayibuli Katonda aba ayogera nabo. Buli lwe bafuna ekizibu beeyambisa Bayibuli okumanya engeri gye bayinza okukigonjoolamu. . . . Bakitwala nti Ekigambo kya Katonda kikyali kiramu.”—Byayogerwa omukulembeze w’eddiini omu Omukatuliki ayitibwa Benjamin Cherayath, mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa Münsterländische Volkszeitung, olw’omu Bugirimaan
Abajulirwa ba Yakuwa tukkiriza nti ne leero, ebyo ebiri mu Bayibuli bya muganyulo eri abantu. (Isaaya 48:17, 18) N’olwekyo, tufuba okubikolerako mu bulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Bayibuli etukubiriza okwewala okwonoona emibiri n’ebirowoozo byaffe, tetunywa sigala era tetukozesa biragalalagala. (2 Abakkolinso 7:1) Ate era, twewala okukola ebintu Bayibuli by’evumirira, gamba ng’okutaamira, ebikolwa eby’obugwenyufu, n’okubba.—1 Abakkolinso 6:9-11.
^ lup. 5 Bayibuli era eyita Yesu ‘Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka’ kubanga ye yasooka okutondebwa era kye kitonde kyokka Katonda kennyini kye yeetondera.—Yokaana 3:18; Abakkolosaayi 1:13-15.