EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ABAJULIRWA BA YAKUWA BE BAANI?
Abajulirwa ba Yakuwa Bantu Ba Ngeri Ki?
Tuli kibiina eky’ensi yonna ekyetongodde era tetuli kiwayi kya ddiini yonna. Wadde ng’ekitebe kyaffe ekikulu kiri mu Amerika, Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi bali mu nsi ndala. Mu butuufu, Abajulirwa ba Yakuwa ng’obukadde munaana babuulira abantu obubaka obuli mu Bayibuli mu nsi ezisukka 230. Ekyo tukikola olw’okuba Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna.”—Matayo 24:14.
Tugondera amateeka ga buli nsi gye tubeeramu, naye tetwenyigira mu bya bufuzi era tetuwagira ntalo. Tukola bwe tutyo olw’okuba Yesu yagamba nti, Abakristaayo “si ba nsi.” (Yokaana 15:19; 17:16) Mu Ssematalo ow’okubiri, Abajulirwa ba Yakuwa baasibibwa mu makomera era baatulugunyizibwa kubanga baagaana okwenyigira mu lutalo olwo. Eyali Bisopu Omugirimaani yawandiika bw’ati ku Bajulirwa ba Yakuwa: “Baba batuufu okugamba nti be bokka abaagaana okubaako oludda lwe bawagira mu by’obufuzi mu kiseera ky’Abanazi.”
“[Abajulirwa ba Yakuwa] balina empisa nnungi nnyo. Abantu ng’abo abateefaako bokka bandituyambye nnyo mu bifo ebya waggulu mu gavumenti, naye tebasobola kukkiriza kukozesebwa mu bifo ng’ebyo. . . . Bagondera ab’obuyinza, naye bakkiriza nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okumalawo ebizibu by’abantu.”—Olupapula lw’Amawulire oluyitibwa Nová Svoboda, olw’omu Czech Republic.
Wadde kiri kityo, tetweyawula ku bantu balala. Yesu bwe yali asabira abagoberezi be, yagamba nti: “Sikusaba kubaggya mu nsi.” (Yokaana 17:15) N’olwekyo, mu bitundu gye tubeera tukola emirimu ng’abantu abalala era abaana baffe tubatwala mu masomero ne basomera wamu n’abaana abalala.