BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU
Nnali Ndowooza nti Nnyumirwa Obulamu mu Bujjuvu
-
NNAZAALIBWA: 1982
-
ENSI: POLAND
-
EBYAFAAYO: NNALI WA FFUJJO ERA NNAKOZESANGA EBIRAGALALAGALA
OBULAMU BWANGE BWE BWALI:
Nnazaalibwa mu Poland, mu kabuga akali okumpi n’ensalo ya Bugirimaani. We twali tubeera waali weetooloddwa faamu n’ebibira, era obulamu bwali bululngi. Bazadde bange bankubirizanga okweyisa obulungi, n’okusoma ennyo nsobole okufuna omulimu omulungi.
Ebizibu byange byatandika bwe nnagenda okusoma eby’amateeka mu yunivasite emu eri mu kibuga Wrocław. Olw’okuba nnali sikyabeera na bazadde bange, nnafuna emikwano egitaali mirungi. Wadde nga mu kusooka nnali mpagira emipiira, bwe nnafuna emikwano emipya, kyayitirira. Ttiimu gye nnawagiranga yali eva mu kibuga Warsaw, era ku wiikendi nnagendanga yonna gye yabanga egenda okuzannyira omupiira. Nga tuli eyo, twanywanga omwenge, twakozesanga ebiragalalagala, era oluusi twalwananga n’abawagizi ba ttiimu endala. Nnali ndowooza nti okukola ebintu ebyo kyandinnyambye obuteeraliikirira. Kyokka nnali nkimanyi nti poliisi bw’etukwata emisomo gyange egy’eby’amateeka gyandifudde.
Nze ne mikwano gyange twagendanga mu biduula, twakolerangayo effujjo, era oluusi twalwanganga. Poliisi yankwata emirundi egiwera, naye nnabeegayiriranga obutantwala mu kkooti, era oluusi nnabawanga enguzi. Nnali ndowooza nti nnyumirwa obulamu mu bujjuvu. Naye muli nnali nkimanyi nti bye nnali nkola tebyali birungi. Buli lwa Ssande nnagendanga mu kkanisa nga ndowooza nti nja kuwulira bulungi.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:
Mu 2004, Abajulirwa ba Yakuwa babiri baakonkona ku luggi lwange, era ne nzikiriza okunjigiriza Bayibuli. Bwe nneeyongera okuyiga kye kitegeeza okuba Omukristaayo, nneeyongera okuwulira obubi olw’ebintu ebibi bye nnakolanga. Nnakiraba nti nnalina okulekera awo okutamiira, okukozesa ebiragalalagala, n’okukolagana n’abantu abatakolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Nnakiraba nti nnalina okuleka ebikolwa eby’obukambwe. Wadde nga nnakiraba nti nnalina okukyusa enneeyisa yange, nnalemererwa okukikola.
Lumu nnalwana n’abasajja munaana. Bankuba ne bandeka nga ngudde mu nkubo nga mbulako katono okufa. Ekyo kyandeetra okulowooza ennyo ku ngeri gye nnali nneeyisaamu. Mu kaseera ako nnasaba nti: “Nzonyiwa Yakuwa obutakolera ku ebyo by’onjigiriza. Nkusuubiza nti okuyiga Bayibuli nga bwe nnali nsuubizza.
bwe mpona, nja kusaba Abajulirwa ba Yakuwa baddemu okunsomesa Bayibuli nsobole okukyusa obulamu bwange.” Bwe nnawona, naddamuMu 2006, nnagenda mu Bungereza nga nnina ekigendererwa eky’okukola ssente ezimala nsobole okuddayo mu Poland nsomerere diguli endala mu by’amateeka. Bwe nneeyongera okuyiga Bayibuli, waliwo ekyawandiikibwa kimu ekyandeetera okukyusa endowooza yange. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ebintu byonna nnabyefiiriza olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange, okusinga ebirala byonna. Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo.” (Abafiripi 3:8) Omutume Pawulo naye yali yasomerera bya mateeka, era yali musajja mukambwe. (Ebikolwa 8:3) Kyokka yakiraba nti okuweereza Katonda n’okufuba okukoppa Yesu, kye kisingayo obulungi mu bulamu. Bwe nneeyongera okufumiitiriza ku mutume Pawulo, nnakiraba nti essanyu erya nnamaddala teriva mu kuba na mulimu mulungi oba okukola ebintu ebibi. Nnali mukakafu nange nnandisobodde okukola enkyukakyuka nga Pawulo bwe yakola. Bwe kityo ne nsalawo mu Bungereza, era eby’okweyongera okusoma ne mbivaako.
Gye nnakoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gye nnakoma okweyongera okumwagala. Nnasanyuka nnyo okukimanya nti Katonda asonyiwa abantu abeenenya mu bwesimbu. (Ebikolwa 2:38) Ate bwe nnasoma 1 Yokaana 4:16, awagamba nti “Katonda kwagala,” nnategeera ensonga lwaki Katonda akyawa ebikolwa eby’obukambwe.
Nnali njagala okubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa
Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye beeyisaamu n’engeri gye bali abasanyufu nabyo byansikiriza. Nnakirabirawo nti bakolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Nnali njagala okubeera omu ku bo. Oluvannyuma lw’okufuba ennyo, nnakola enkyukakyuka mu bulamu bwange, era ne mbatizibwa mu 2008 ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:
Bayibuli yannyamba nnyo mu bulamu bwange. Omuntu eyali ow’effujjo, omutamiivu, akozesa ebiragalalagala, eyali anywa ennyo omwenge, era eyali anyumirwa ennyo eby’amasanyu, kati ndi muweereza wa Katonda anyumirwa ennyo okuyigiriza abalala Bayibuli. Nkyanyumirwa okulaba emipiira, naye kati eby’amasanyu ng’ebyo si bye nkulembeza mu bulamu bwange.
Nnawasa omukyala omulungi ennyo ayitibwa Esther, era tuweerereza wamu Yakuwa. Tufuna essanyu lingi nnyo mu kuyigiriza abantu aboogera olulimi Olupolisi ababeera wano mu bugwanjuba bwa Bungereza. Kati mpulira ng’obulamu bwange bwa ssanyu era bulina ekigendererwa.