Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ddala Abayudaaya abaali mu Yerusaalemi ku Pentekooti baali bavudde “mu mawanga gonna agali wansi w’eggulu”?

Abantu bangi nga bali mu Yerusaalemi ku Pentekooti 33 E.E.

Ng’oggyeeko ebyo Bayibuli by’eyogera mu Ebikolwa by’Abatume 2:5-11, omuwandiisi omuyudaaya ayitibwa Philo eyaliwo mu kiseera ky’abatume yawandiika ebintu ebirala ebikwata ku bantu abaali mu Yerusaalemi ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E.

Ng’ayogera ku abo abaagendanga mu kibuga Yerusaalemi, Philo yawandiika nti: “Abantu nkumu okuva mu bibuga bingi bajjanga ku mbaga, abamu baayitanga ku lukalu, abalala ku mazzi; baavanga ebuvanjuba, ebugwanjuba, ebukiikakkono n’ebukiikaddyo.” Ate era yajuliza n’ebyo ebyali mu bbaluwa kabaka Agulipa I, muzzukulu wa Kerode Omukulu, gye yawandiikira empula wa Rooma ayitibwa Caligula. Mu bbaluwa eyo yayogera bw’ati ku Yerusaalemi: “Ekibuga Ekitukuvu . . . si kibuga kikulu eky’essaza lya Buyudaaya lyokka wabula kibuga kikulu n’eri amasaza amalala kubanga gaafuuka matwale ga Bayudaaya.”

Agulipa era yayogera ku bitundu ebitali bimu ebyalimu amatwale ga Bayudaaya nga muno mwe mwali Mesopotamiya, obukiikakkono bwa Afirika, Asiya Omutono, Buyonaani, n’ebizinga by’ennyanja Meditereniyani. Omwekenneenya ayitibwa Joachim Jeremias yagamba nti: “Wadde nga Agulipa teyayogera butereevu ku kugenda e Yerusaalemi, ekyo kyali mu giraasi kubanga buli Muyudaaya omukulu yalinanga okugendanga e Yerusaalemi ku mbaga.”Ekyamateeka 16:16.

Abantu enkumi n’enkumi abaagendanga e Yerusaalemi ku mbaga z’Abayudaaya baasulanga wa?

Ekimu ku bidiba mwe baanaabiranga ekyazuulibwa mu yerusaalemi

Buli mwaka, mu kibuga Yerusaalemi waabangayo embaga ssatu—Embaga ey’Okuyitako, embaga ya Pentekooti, n’Embaga ey’Ensiisira. Mu kyasa ekyasooka, abantu nkumi na nkumi okuva mu Isirayiri ne mu bitundu ebirala Abayudaaya gye babeeranga, baagendanga e Yerusaalemi. (Lukka 2:41, 42; Ebikolwa 2:1, 5-11) Abantu abo bonna baasulanga wa?

Abamu baasulanga mu maka ga mikwano gyabwe, ate abalala baasulanga mu bisulo by’abagenyi. Bangi baasulanga mu weema mu kibuga oba wa bweru waakyo. Ku mulundi Yesu gwe yasembayo okugenda e Yerusaalemi, yasula mu kibuga Bessaniya ekyali kiriraanyeewo.Matayo 21:17.

Ebizimbe ebyabangamu ebidiba mwe baanaabiranga byazuulibwa okumpi n’awaali yeekaalu. Kirowoozebwa nti mu bizimbe ebyo abantu abaabanga bagenze e Yerusaalemi mwe baasulanga era mwe baanaabiranga nga tebannayingira mu yeekaalu. Ebigambo ebyawandiikibwa ku kimu ku bizimbe bino biraga nti Theodotus, kabona era omukulembeze mu kkuŋŋaaniro ye “yazimba ekkuŋŋaaniro abantu basobole okusomerangamu amateeka, . . . yazimba ebisenge abagenyi mwe baasulanga, era byabangamu n’amazzi.”